bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Matthew 8
Matthew 8
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 9 →
1
Yesu bwe yava ku lusozi, ebibiina by'abantu ne bimugoberera.
2
Kale, laba, omugenge n'amusemberera n'amusinza, n'agamba nti. “Mukama wange, bw'oyagala, oyinza okunnongoosa.”
3
Yesu n'agolola omukono, n'amukwatako, ng'agamba nti, “Njagala; longooka.” Amangu ago ebigenge bye ne birongooka.
4
Yesu n'amugamba nti, “Laba tobuulirako muntu n'omu; naye genda weerage eri kabona, omutwalire ekitone Musa kye yalagira, kibeere omujulirwa gyebali.”
5
Yesu bwe yayingira mu Kaperunawumu, omwami w'ekitongole Omuruumi n'ajja gy'ali, n'amwegayirira,
6
ng'agamba nti, “Mukama wange, mulenzi wange agalamidde mu nnyumba akoozimbye, abonaabona kitalo.”
7
Yesu n'amugamba nti, “Najja ne mmuwonya.”
8
Omwami w'ekitongole Omuruumi n'addamu n'agamba nti, “Mukama wange, sisaanira ggwe okuyingira wansi w'akasolya kange: naye yogera kigambo bugambo, mulenzi wange anaawona.
9
Kubanga nange ndi muntu mutwalibwa, nga nnina basserikale be ntwala; bwe ŋŋamba oyo nti, ‘Genda,’ agenda, n'omulala nti, ‘Jjangu,’ ajja; n'omuddu wange nti, ‘Kola bwoti,’ bw'akola.”
10
Naye Yesu bwe yawulira, ne yeewuunya, n'agamba abaayita naye nti, “Ddala mbagamba nti Sinnalaba kukkiriza kunene nga kuno, newakubadde mu Isiraeri.
11
Nange mbagamba nti Bangi abaliva ebuvanjuba n'ebugwanjuba, abalituula awamu ne Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo, mu bwakabaka obw'omu ggulu,
12
naye abaana b'obwakabaka baligoberwa mu kizikiza eky'ebweru; ye eriba okukaaba n'okulumwa obujiji.”
13
Yesu n'agamba omwami w'ekitongole Omuruumi nti, “Kale genda; nga bw'okkirizza, kibeere gy'oli bwe kityo.” Omulenzi n'awonerawo mu kiseera ekyo.
14
Yesu bwe yayingira mu nnyumba ya Peetero, n'alaba nnyazaala wa Peetero ng'agalamidde alwadde omusujja.
15
N'amukwata ku mukono, omusujja ne gumuwonako; n'agolokoka, n'amuweereza.
16
Obudde bwali buwungedde, ne bamuleetera bangi abakwatiddwa dayimooni; n'agoba dayimooni n'ekigambo n'awonya bonna abaali balwadde.
17
Ekigambo kituukirire ekyayogerwa nnabbi Isaaya, ng'agamba nti, “Ye yennyini yatwala obunafu bwaffe, ne yeetikka endwadde zaffe.”
18
Awo Yesu bwe yalaba nga ebibiina bingi nga bimwetoolodde, n'alagira bagende emitala w'eri.
19
Omuwandiisi omu n'ajja, n'amugamba nti, “Omuyigiriza, nnaayitanga naawe buli gy'onoogendanga yonna.”
20
Yesu n'amugamba nti, “Ebibe birina obunnya, n'ennyonyi ez'omu bbanga zirina ebisu; naye Omwana w'omuntu talina w'assa mutwe gwe.”
21
Omuyigirizwa we omulala n'amugamba nti, “ Mukama wange, sooka ondeke ŋŋende nziike kitange.”
22
Naye Yesu n'amugamba nti, “Yita nange; leka abafu baziike abafu baabwe.”
23
Awo Yesu n'asaabala mu lyato, abayigirizwa be ne bamugoberera.
24
Omuyaga ogw'amaanyi ne gukunta ku nnyanja, amayengo ne gakuba eryato; naye Yesu yali yeebase.
25
Abayigirizwa be ne bajja gy'ali ne bamuzuukusa, nga bagamba nti, “ Mukama waffe, tulokole; tufa.”
26
Yesu n'abagamba nti, “Kiki ekibatiisa, mmwe abalina okukkiriza okutono?” N'alyoka agolokoka, n'alagira omuyaga n'amayengo okukkakkana, ennyanja n'eteeka nnyo.
27
Abantu ne beewuunya, ne bagamba nti, “Muntu ki ono, empewo n'ennyanja okumuwulira?”
28
Awo Yesu bwe yatuuka emitala w'ennyanja mu nsi y'Abagadaleni, abantu babiri abaaliko dayimooni, ne bamusisinkana nga bava mu ntaana, baali bakambwe nnyo, nga tewali na muntu ayinza okuyita mu kkubo eryo.
29
Laba, ne boogerera waggulu ne bagamba nti, “Otuvunaana ki, ggwe Omwana wa Katonda? Ozze wano kutubonyaabonya ng'entuuko zaffe tezinnaba kutuuka?”
30
Waaliwo walako okuva ne we baali ekisibo ky'embizzi nnyingi nga zirya.
31
Dayimooni ne gimwegayirira ne gigamba nti, “Bw'oba otugoba, ku bantu bano tusindike mu kisibo ky'embizzi.”
32
N'agigamba nti, “Mugende.” Ne gibavaako, ne gigenda mu mbizzi; kale, laba ekisibo kyonna ne kifubutuka ne kiserengetera ku bbangabanga, ne kyesuula mu nnyanja, ne zifiira mu mazzi.
33
N'abaali balunda embizzi ne badduka, ne bagenda mu kibuga, ne bababuulira byonna, n'ebikwata ku bali ababaddeko dayimooni.
34
Laba, ekyalo kyonna ne kijja okusisinkana Yesu; bwe baamulaba, ne bamwegayirira okuva mu kitundu kyabwe.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28