bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Matthew 25
Matthew 25
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 26 →
1
“Mu biro ebyo obwakabaka obw'omu ggulu bulifaananyizibwa n'abawala ekkumi (10), abaakwata ettabaaza zaabwe, ne bagenda okwaniriza awasa omugole.
2
Naye bannaabwe abataano (5) baali basirusiru, n'abataano (5) be baalina amagezi.
3
Kubanga abasirusiru, bwe baatwala ettabaaza zaabwe, ne bateetwalira mafuta;
4
naye abalina amagezi ne batwala amafuta mu macupa gaabwe wamu n'ettabaaza zaabwe.
5
Awasa omugole bwe yalwayo, bonna ne babongoota ne beebaka.
6
Naye ekiro mu ttumbi ne waba oluyoogaano nti, ‘Laba, awasa omugole ajja! Mufulume okumusisinkana.’
7
Abawala bonna ekkumi (10) ne balyoka bagolokoka, ne balongoosa ettabaaza zaabwe.
8
Abasirusiru ne bagamba abalina amagezi nti, ‘Mutuwe ku mafuta gammwe; kubanga ettabaaza zaffe ziggweerera.’
9
Naye abaalina amagezi ne baddamu, ne babagamba nti, ‘mpozzi tegaatumale fenna nammwe: waakiri mugende eri abatunda, mwegulireyo.’
10
Abawala abasirusiru bwe baali bagenda okugula amafuta, awasa omugole n'atuuka; abo abaali beeteeseteese ne bayingira naye mu mbaga ey'obugole; oluggi ne luggalwawo.
11
Oluvannyuma abawala bali abasirusiru nabo ne bajja, ne bagamba nti, ‘Mukama waffe, mukama waffe, tuggulirewo.’
12
Naye Ye n'addamu n'agamba nti, ‘Mazima mbagamba nti sibamanyi.’
13
Kale mutunule, kubanga temumanyi lunaku newakubadde ekiseera.”
14
“Obwakabaka obw'omuggulu bufaananako ng'omuntu eyali agenda okutambula mu nsi endala, n'ayita abaddu be, n'abalekera ebintu bye.
15
N'awa omu ettalanta ttaano, omulala bbiri, omulala emu buli muntu ng'obusobozi bwe bwe bwali; n'agenda.
16
Amangwago oli eyaweebwa ettalanta ettaano n'agenda n'azisuubuzisa n'aviisaamu ettalanta ttaano endala.
17
Bw'atyo n'oli eyaweebwa ettalanta ebbiri, n'aviisaamu bbiri endala.
18
Naye oli eyaweebwa emu n'agenda n'asima ekinnya mu ttaka, n'akwekamu effeeza ya mukama we.
19
Awo nga wayiseewo ebbanga ggwanvu, mukama w'abaddu abo n'akomawo, n'abala nabo omuwendo.
20
Omuddu eyaweebwa ettalanta ettaano n'ajja n'aleeta ettalanta ettaano endala, n'agamba nti, ‘Mukama wange, wandekera ettalanta ttaano; laba, n'aviisaamu ettalanta ttaano endala.’
21
Mukama we n'amugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi mwesigwa; wali mwesigwa mu bitono, ndikusigira ebingi, yingira mu ssanyu lya mukama wo.’
22
N'oli eyaweebwa ettalanta ebbiri n'ajja n'agamba nti, ‘Mukama wange, wandekera ettalanta bbiri; laba, n'aviisaamu ettalanta bbiri endala.’
23
Mukama we n'amugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi mwesigwa; wali mwesigwa mu bitono, ndikusigira ebingi, yingira mu ssanyu lya mukama wo.’
24
N'oli eyaweebwa ettalanta emu n'ajja n'agamba nti, ‘Mukama wange, nakumanya ng'oli muntu mukakanyavu ng'okungulira gy'otaasigira, ng'okuŋŋaanyiza gy'otaayiyira;
25
ne ntya, ne ŋŋenda, ne ngikweka mu ttaka ettalanta yo, laba, eyiyo yino.’
26
Naye mukama we n'addamu n'amugamba nti, ‘Oli muddu mubi mugayaavu! wamanya nti nkungulira gye ssaasigira, nkuŋŋaanyiza gye ssaayiyira;
27
kale kyakugwanira okugiwa abasuubuzi effeeza yange, nange bwe nnandizze nandiweereddwa eyange n'amagoba gaamu.
28
Kale mumuggyeeko ettalanta, mugiwe oli alina ettalanta ekkumi (10).
29
Kubanga buli muntu alina aliweebwa, era aliba na bingi; naye atalina, aliggibwako na kiri kyali nakyo.
30
N'omuddu oyo ataliiko ky'agasa mumusuule mu kizikiza eky'ebweru; mwe muliba okukaaba n'okulumwa obujiji.’ ”
31
“Naye Omwana w'omuntu bw'alijjira mu kitiibwa kye, ne bamalayika bonna nga bali naye, awo alituula ku ntebe ey'ekitiibwa kye.
32
Amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge; naye alibaawulamu ng'omusumba bw'ayawula endiga n'embuzi,
33
endiga aliziteeka ku mukono gwe ogwa ddyo, naye embuzi ku mukono ogwa kkono.
34
Awo Kabaka aligamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti, ‘Mujje, mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutonda ensi;
35
kubanga nnalina enjala ne mumpa eky'okulya, nnalina ennyonta ne munnywesa, nnali mugenyi ne munsuza;
36
nnali bwereere ne munnyambaza, nnali mulwadde ne munnambula, nnali musibe mu kkomera, ne mujja mundaba.’
37
Awo abatuukirivu balimuddamu nga bagamba nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olina enjala ne tukuliisa? Oba ng'olina ennyonta ne tukunywesa?
38
Era twakulaba ddi ng'oli mugenyi ne tukusuza? Oba ng'oli bwereere ne tukwambaza?
39
Era twakulaba ddi ng'oli mulwadde, oba ng'oli mu kkomera, ne tujja tukulaba?’
40
Ne Kabaka aliddamu alibagamba nti, ‘Mazima mbagamba nti Nga bwe mwakola omu ku abo baganda bange abasinga obuto, mwakikola nze.’
41
Awo alibagamba n'abo abali ku mukono gwe ogwa kkono nti, ‘Muveewo we ndi, mmwe abaakolimirwa, mugende mu muliro ogutaggwaawo ogwateekerwateekerwa Setaani ne bamalayika be;
42
kubanga nnalina enjala, temwampa kya kulya; nnalina ennyonta, temwannywesa,
43
nnali mugenyi, temwansuza, nnali bwereere, temwannyambaza, mulwadde, ne mu kkomera, temwannambula.’
44
Awo nabo baliddamu, nga bagamba nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olina enjala, oba ng'olina ennyonta, oba mugenyi, oba bwereere, oba mulwadde, oba mu kkomera, ne tutakuyamba?’
45
Awo alibaddamu, ng'agamba nti, ‘Mazima mbagamba nti Nga bwe mutaakikolera omu ku abo abasinga obuto, temwakikolera nze.’
46
Olwo abo baligenda ne baweebwa ekibonerezo ekitaggwaawo; naye abatuukirivu baligenda mu bulamu obutaggwaawo.”
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 26 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28