bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Matthew 7
Matthew 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 8 →
1
“Temusalanga musango, nammwe muleme okusalirwa.
2
Kubanga omusango nga bwemugusalira abalala, nammwe bwe gulibasalirwa, era ekigera kye mugereramu, ekyo nammwe kye muligererwamu.
3
Ekikutunuuliza ki akantu akali ku liiso lya muganda wo, naye n'otofaayo ku njaliiro eri ku liiso lyo ggwe?
4
Oba oligamba otya muganda wo nti Leka nkuggyeeko akantu akali ku liiso lyo; sso nga ku liiso lyo kuliko enjaliiro?
5
Munnanfuusi ggwe, sooka oggyeko enjaliiro ku liiso lyo ggwe; olyoke olabe bulungi okuggyako akantu ku liiso lya muganda wo.
6
“Ekintu ekitukuvu temukiwanga mbwa, era temusuulanga luulu zammwe mu maaso ga mbizzi, zireme okuzirinnyirira n'ebigere byazo, ne zikyuka okubaluma.”
7
Musabe, muliweebwa; munoonye, muliraba; mweyanjule, muliggulirwawo;
8
kubanga buli muntu asaba aweebwa; anoonya alaba; n'eyeeyanjula aliggulirwawo.
9
Muntu ki mu mmwe, omwana we bw'alimusaba emmere, alimuwa ejjinja;
10
oba bw'alisaba ekyennyanja, alimuwa omusota?
11
Kale mmwe, ababi, nga bwe mumanyi okuwa abaana bammwe ebintu ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa ebirungi abo abamusaba?
12
Kale byonna bye mwagala abantu okubakolanga mmwe, nammwe bwe mutyo mubibakolenga; kubanga ekyo ge mateeka ne bannabbi.
13
Muyingire mu mulyango omufunda; kubanga omulyango mugazi, n'ekkubo lyangu eridda mu kuzikirira, n'abo abaliyitamu bangi.
14
Kubanga omulyango mufunda n'ekkubo zibu eridda mu bulamu, n'abo abaliraba batono.
15
Mwekuume bannabbi ab'obulimba, abajjira mu byambalo by'endiga gye muli, naye nga munda gy'emisege egisikula.
16
Mulibategeerera ku bibala byabwe. Abantu banoga batya ezabbibu ku busaana, oba ettiini ku mwennyango?
17
Bwe kityo buli muti omulungi gubala ebibala birungi; naye omuti omubi gubala ebibala bibi.
18
Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, so n'omuti omubi teguyinza kubala bibala birungi.
19
Buli muti ogutabala kibala kirungi bagutema bagusuula mu muliro.
20
Kale mulibategeerera ku bibala byabwe.
21
“Si buli muntu aŋŋamba nti, ‘Mukama wange, Mukama wange,’ si ye aliyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu, wabula akola Kitange ali mu ggulu by'ayagala.
22
Bangi abaliŋŋamba ku lunaku luli nti Mukama waffe, Mukama waffe, tetwalagulanga mu linnya lyo, tetwagobanga dayimooni mu linnya lyo, tetwakolanga bya magero bingi mu linnya lyo?
23
Ne ndyoka mbaatulira nti Sibamanyangako mmwe; muve we ndi mmwe mwenna abaakola eby'obujeemu.”
24
Buli muntu awulira ebigambo byange ebyo, n'amala abikola, kyaliva afaananyizibwa n'omusajja ow'amagezi eyazimba enju ye ku lwazi:
25
enkuba n'etonnya, mukoka n'akulukuta, kibuyaga n'akunta, ne bikuba enju eyo; so n'etegwa; kubanga yazimbibwa ku lwazi.
26
Na buli muntu awulira ebigambo byange ebyo n'atabikola, alifaananyizibwa n'omusajja atalina magezi, eyazimba enju ye ku musenyu;
27
enkuba n'etonnya, mukoka n'akulukuta, kibuyaga n'akunta, ne bikuba enju eyo; n'egwa, n'okugwa kwayo kwali kunene.
28
Awo olwatuuka Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, ebibiina ne byewuunya okuyigiriza kwe,
29
kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng'abawandiisi baabwe.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28