bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Matthew 4
Matthew 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 5 →
1
Awo Yesu n'atwalibwa Omwoyo mu ddungu okukemebwa Setaani.
2
Bwe yamala okusiiba ennaku ana (40), emisana n'ekiro, enjala n'eryoka emuluma.
3
Omukemi n'ajja n'amugamba nti, “Oba oli Mwana wa Katonda, gamba amayinja gano gafuuke emmere.”
4
Naye Yesu n'addamu n'agamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Omuntu tabanga mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.’ ”
5
Awo Setaani n'atwala Yesu mu kibuga ekitukuvu; n'amuteeka ku kitikkiro kya Yeekaalu,
6
n'amugamba nti, “Oba oli Mwana wa Katonda, buuka ogwe wansi; kubanga kyawandiikibwa nti,” “ ‘Alikulagiririza bamalayika be, Balikuwanirira mu mikono gyabwe, Oleme okwesittala ekigere kyo ku jjinja.’ ”
7
Yesu n'amugamba nti, “Kyawandiikibwa nate nti, ‘tokemanga Mukama Katonda wo.’ ”
8
Ate Setaani n'amutwala ku lusozi oluwanvu ennyo, n'amulaga ensi za bakabaka bonna abali mu nsi, n'ekitiibwa kyazo;
9
n'amugamba nti, “Ebyo byonna nnaabikuwa bw'onoovuunama n'onsinza.”
10
Awo Yesu n'amugamba nti, “Vaawo genda, Setaani! kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Osinzanga Mukama Katonda wo, era gw'oweerezanga yekka.’ ”
11
Awo Setaani n'amuleka; laba, bamalayika ne bajja, ne bamuweereza.
12
Awo Yesu bwe yawulira nga Yokaana akwatiddwa n'addayo e Ggaliraaya;
13
ng'avudde e Nazaaleesi, n'ajja, n'abeera e Kaperunawumu, ekiri ku nnyanja, mu nsi ya Zebbulooni ne Nafutaali,
14
bw'ekityo ekigambo kituukirire nnabbi Isaaya kye yayogera, ng'agamba nti,
15
“Ensi ya Zebbulooni n'ensi ya Nafutaali, Eyoolekedde ennyanja, emitala wa Yoludaani, Ggaliraaya ey'abamawanga amalala,
16
Abantu abaali batuula mu kizikiza, Balabye omusana mungi, N'abo abaali batuula mu nsi y'okufa ne mu kisiikirize kyakwo, Omusana gubaakidde.”
17
Yesu n'asookera awo okubuulira n'okugamba abantu nti, “Mwenenye; kubanga obwakabaka obw'omu ggulu bunaatera okutuuka.”
18
Awo Yesu bwe yali ng'atambula ku lubalama lw'ennyanja y'e Ggaliraaya, n'alaba ab'oluganda babiri, Simooni gwe bayita Peetero, ne Andereya muganda we, nga basuula obutimba mu nnyanja, kubanga baali bavubi.
19
N'abagamba nti, “Mujje, muyite nange, nange ndibafuula abavubi b'abantu.”
20
Amangwago ne baleka awo obutimba bwabwe, ne bamugoberera.
21
N'atambulako katono mu maaso n'alaba ab'oluganda babiri abalala, Yakobo omwana wa Zebbedaayo, ne Yokaana muganda we, nga bali mu lyato wamu ne kitaabwe Zebbedaayo, nga bayunga obutimba bwabwe; n'abo Yesu n'abayita.
22
Amangwago ne baleka awo eryato ne kitaabwe, ne bamugoberera.
23
Yesu n'abuna Ggaliraaya yonna, ng'ayigiririza mu makuŋŋaaniro gaabwe, era ng'abuulira enjiri ey'obwakabaka, era ng'awonya endwadde zonna n'obunafu bwonna mu bantu.
24
Ebigambo bye ne bibuna Obusuuli bwonna, ne bamuleetera bonna abaali balwadde, abaali bakwatidwa endwadde ezitali zimu, n'ebibonyoobonyo, n'ab'emizimu, n'ab'ensimbu, n'abaali bakoozimbye; bonna n'abawonya.
25
Ebibiina by'abantu bangi, ne bamugoberera nga bava e Ggaliraaya n'e Dekapoli n'e Yerusaalemi n'e Buyudaaya n'emitala wa Yoludaani.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28