bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Matthew 14
Matthew 14
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 15 →
1
Mu biro ebyo Kerode owessaza n'awulira ettutumu lya Yesu,
2
n'agamba abaddu be nti, “Oyo ye Yokaana Omubatiza; azuukidde mu bafu; era eby'amaanyi bino kyebiva bikolera mu ye.”
3
Kubanga Kerode yali akutte Yokaana, n'amusiba, n'amuteeka mu kkomera olwa Kerodiya, mukazi wa Firipo muganda we.
4
Kubanga Yokaana yagamba Kerode nti, “Kya muzizo ggwe okufuula Kerodiya mukazi wo.”
5
Kerode bwe yali ayagala okumutta, naye n'atya abantu, kubanga baamulowooza nga ye nnabbi.
6
Bwe lwatuuka olunaku olw'okujjukirirako amazaalibwa ga Kerode, muwala wa Kerodiya n'azina mu maaso gaabwe, n'asanyusa Kerode.
7
Awo Kerode n'asuubiza n'ekirayiro okumuwa kyonna kyonna ky'anaasaba.
8
Ng'apikirizibwa nnyina, omuwala, n'agamba nti, “Mpeera wano ku lutiba omutwe gwa Yokaana Omubatiza.”
9
Kabaka n'anakuwala nnyo; naye olw'ebirayiro bye, n'olw'abo abaali batudde nga balya naye, n'alagira okugumuwa;
10
n'atuma, mu kkomera ne batemako Yokaana omutwe.
11
Ne baleeta omutwe gwa Yokaana ku lutiba, ne baguwa omuwala; naye n'agutwalira nnyina.
12
Abayigirizwa ba Yokaana ne bajja, ne batwala omulambo gwe, ne bamuziika; ne bagenda ne babuulira Yesu.
13
Awo, Yesu bwe yawulira ebyo, n'aviirayo mu lyato, n'agenda kyama mu kifo eky'eddungu; ebibiina by'abantu bwe byawulira, ne biva mu bibuga ne bimugoberera nga biyita ku lukalu.
14
Yesu bwe yava mu lyato, n'alaba ekibiina kinene eky'abantu, n'abasaasira, n'awonya abalwadde baabwe.
15
Obudde bwe bwawungeera, abayigirizwa ne bajja w'ali, ne bamugamba nti, “Wano ddungu, ate n'obudde buyise nnyo; siibula abantu, bagende mu bibuga, beegulire emmere.”
16
Naye Yesu n'abagamba nti, “Tewali kubeetaagisa kugenda; mmwe mubawe eby'okulya.”
17
Ne bamugamba nti, “Tetulina kintu wano okuggyako emigaati etaano, n'ebyennyanja bibiri.”
18
Yesu n'agamba nti, “Mubindeetere wano.”
19
N'alagira ebibiina okutuula ku muddo; n'atoola emigaati etaano n'ebyennyanja bibiri, n'atunula waggulu mu ggulu, ne yeebaza, n'amenyamu emigaati n'agiwa abayigirizwa be, abayigirizwa ne bagigabira ebibiina.
20
Bonna ne balya, ne bakkuta, ne bakuŋŋaanya obukunkumuka obwasigalawo, ne bajjuza ebibbo kkumi na bibiri.
21
N'abo abaalya baali abasajja ng'enkumi ttaano (5,000), nga tossizako bakazi n'abaana.
22
Amangwago Yesu n'awaliriza abayigirizwa be okusaabala, bamukulembere okugenda emitala w'eri, ye amale okusiibula ebibiina.
23
Bwe yamala okusiibula ebibiina, n'alinnya ku lusozi yekka okusaba; obudde ne buwungeera, nga Yesu aliyo bw'omu.
24
Naye eryato lyali limaze okutuuka mu buziba, nga lyesunda n'amayengo, kubanga omuyaga gwali gubafuluma mu maaso.
25
Awo ekiro mu kisisimuka ekyokuna Yesu n'ajja gyebali, ng'atambulira ku nnyanja.
26
Abayigirizwa bwe baamulaba ng'atambulira ku nnyanja, ne bakwatibwa ensisi, ne bagamba nti, “Dayimooni!” Ne baleekaana olw'okutya.
27
Amangwago Yesu n'ayogera nabo, n'agamba nti, “Muddemu omwoyo, nze nzuuno; temutya.”
28
Peetero n'amuddamu n'agamba nti, “Mukama wange, oba nga ggwe wuuyo, ndagira nzije gy'oli nga ntambulira ku mazzi.”
29
Yesu n'agamba nti, “Jjangu.” Peetero n'ava mu lyato, n'atambulira ku mazzi, okugenda eri Yesu.
30
Naye, bwe yalaba omuyaga, n'atya, n'atandika okukka mu mazzi nga asaanawo, n'akaaba, n'agamba nti, “Mukama wange, ndokola.”
31
Amangwago Yesu n'agolola omukono, n'amukwata, n'amugamba nti, “Ggwe alina okukkiriza okutono, kiki ekikubuusizzabuusizza?”
32
Bombi bwe baalinnya mu lyato, omuyaga ne guggwaawo.
33
N'abo abaali mu lyato ne bamusinza, nga bagamba nti, “Mazima oli Mwana wa Katonda.”
34
Bwe baamala okuwunguka, ne batuuka ku lukalu olw'e Genesaleeti.
35
Abantu baayo bwe baamumanya, ne batuma mu nsi eyo yonna eriraanyeewo, ne bamuleetera bonna abalwadde;
36
ne bamwegayirira bakomeko bukomi ku lukugiro lw'ekyambalo kye; bonna abaakomako ne bawonyezebwa ddala.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28