bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Matthew 9
Matthew 9
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 10 →
1
Awo Yesu n'asaabala mu lyato, n'awunguka, n'atuuka mu kibuga ky'ewaabwe.
2
Awo ne bamuleetera omulwadde eyali akoozimbye, ng'agalamizibbwa ku kitanda; naye Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n'agamba oyo eyali akoozimbye nti, “Mwana wange, guma omwoyo, ebibi byo bikusonyiyiddwa.”
3
Kale, laba, abawandiisi abalala ne boogera mu myoyo gyabwe nti, “Ono avvoola Katonda.”
4
Naye Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n'agamba nti, “Kiki ekibalowoozesa obubi mu mitima gyammwe?
5
Kubanga ekyangu kiruwa, okugamba nti, ‘Ebibi byo bikusonyiyiddwa,’ oba okugamba nti, ‘Golokoka otambule?’
6
Naye mutegeere ng'Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okuggyako ebibi,” n'agamba oyo eyali akoozimbye nti, “Yimirira, ositule ekitanda kyo, oddeyo mu nnyumba yo.”
7
N'ayimirira, n'addayo ewuwe.
8
Naye ebibiina bwe byalaba ne bitya, ne bigulumiza Katonda, eyawa abantu obuyinza obwenkanidde awo.
9
Yesu bwe yavaayo n'alaba omuntu, ayitibwa Matayo, ng'atudde mu ggwoolezo; n'amugamba nti, “Yita nange.” N'asituka, n'amugoberera.
10
Awo olwatuuka, Yesu bwe yali ng'atudde mu nju ng'alya, laba, abawooza bangi ne bajja, n'abantu ababi bangi, ne batuula wamu ne Yesu n'abayigirizwa.
11
Abafalisaayo bwe baalaba ekyo, ne bagamba abayigirizwa be nti, “Omuyigiriza wammwe kiki ekimuliisa n'abawooza n'abantu ababi?”
12
Naye Yesu bwe yawulira, n'agamba nti, “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde.
13
Naye mugende muyige amakulu g'ekigambo kino nti, ‘Njagala kisa, so si ssaddaaka,’ kubanga sajja kuyita batuukirivu, wabula abantu ababi.”
14
Awo abayigirizwa ba Yokaana, ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti, “Kiki ekitusiibya ffe n'Abafalisaayo emirundi emingi, naye abayigirizwa bo nga tebasiiba?”
15
Yesu n'abaddamu nti, “Abaana ab'omu mbaga ey'obugole bayinza batya okunakuwala awasizza omugole ng'akyali nabo? Naye ennaku zigenda okujja awasizza omugole lw'alibaggibwako, ne balyoka basiiba.
16
Tewali muntu atunga kiwero ekiggya mu kyambalo ekikadde; kubanga ekyo ekitungibwamu kiyuza ekyambalo, n'ekituli kyeyongera okugaziwa.
17
So tebateeka mwenge musu mu nsawo za maliba enkadde; kubanga bwe bakola bwe batyo, ensawo ez'amaliba ziyulika, n'omwenge guyiika, n'ensawo ez'amaliba zifaafaagana; naye bateeka omwenge omusu mu nsawo ez'amaliba empya, byombi birama.”
18
Bwe yali ng'akyabagamba ebigambo ebyo, ne wajja omwami omu, n'amusinza n'agamba nti, “Muwala wange kaakano afudde; naye jjangu omuteekeko emikono, anaalamuka.”
19
Yesu n'asituka n'amugoberera, wamu n'abayigirizwa be.
20
Awo omukazi eyali alwalidde ekikulukuto ky'omusaayi emyaka kkumi n'ebiri (12), n'ajja emabega wa Yesu, n'akoma ku lukugiro lw'ekyambalo kye;
21
kubanga yayogera mu mwoyo gwe nti, “Bwe nnaakoma obukomi ku kyambalo kye nnaawona.”
22
Naye Yesu bwe yakyuka n'amulaba, n'agamba nti, “Mwana wange, guma omwoyo; okukkiriza kwo kukuwonyezza.” Omukazi n'awona okuva mu kiseera ekyo.
23
Yesu bwe yatuuka mu nju y'omwami oyo, n'alaba abafuuwa endere, n'ekibiina nga bakuba ebiwoobe,
24
n'agamba nti, “Muveewo, kubanga omuwala tafudde, wabula yeebase bwe basi.” Ne bamusekerera nnyo.
25
Naye ekibiina bwe kyamala okugobebwawo, n'ayingira, n'amukwata ku mukono; omuwala n'agolokoka.
26
Ebigambo ebyo ne bibuna mu nsi eyo yonna.
27
Naye Yesu bwe yavaayo, abazibe b'amaaso babiri ne bamugoberera, nga boogerera waggulu nga bagamba nti, “Tusaasire, ggwe omwana wa Dawudi.”
28
Bwe yatuuka mu nju, abazibe b'amaaso ne bajja gy'ali; Yesu n'ababuuza nti, “Mukkirizza nga nnyinza okukola kino?” Ne bamuddamu nti. “Weewaawo, Mukama waffe.”
29
N'alyoka akwata ku maaso gaabwe ng'agamba nti, “Nga bwe mukkirizza kibeere gye muli bwe kityo.”
30
Amaaso gaabwe ne gazibuka. Yesu n'abakuutira ng'agamba nti, “Mulabe tewaba muntu n'omu amanya.”
31
Naye bo ne bafuluma, ne babunya ebigambo bya Yesu mu nsi eyo yonna.
32
Awo bwe baali bafuluma ne bamuleetera kasiru, ng'aliko dayimooni.
33
Yesu n'amugobako dayimooni, kasiru n'ayogera; ebibiina ne byewuunya, ne bigamba nti, “Edda n'edda tewalabikanga ekiri nga kino mu Isiraeri.”
34
Naye Abafalisaayo ne bagamba nti, “Agoba dayimooni nga akozesa buyinza bwa mukulu wa dayimooni.”
35
Yesu n'ayitayita mu bibuga byonna, n'embuga zonna, ng'ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, ng'abuulira enjiri ey'obwakabaka, ng'awonya endwadde zonna n'obunafu bwonna.
36
Naye bwe yalaba ebibiina, n'abisaasira, kubanga baali bakooye nnyo nga basaasaanye, ng'endiga ezitalina musumba.
37
N'alyoka agamba abayigirizwa be nti, “Eby'okukungula bye bingi, naye abakozi be batono.
38
Kale musabe Omwami w'eby'okukungula, asindike abakozi mu by'okukungula bye.”
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28