bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Matthew 16
Matthew 16
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 17 →
1
Abafalisaayo n'Abasaddukaayo ne bajja eri Yesu, ne bamukema nga bamusaba okubalaga akabonero akava mu ggulu.
2
Naye Yesu n'abaddamu n'abagamba nti, “ Bwe buba akawungeezi, mugamba nti [‘Bunaaba bulungi, kubanga eggulu limyuse.’
3
Ku makya mugamba nti, ‘Wanaabayo omuyaga leero, kubanga eggulu limyuse era libindabinda.’ Mumanyi okunnyonnyola endabika y'eggulu; naye temuyinza kwawula bubonero bwa biro?]
4
Ab'emirembe gino emibi era egy'obwenzi banoonya akabonero; naye tebaliweebwa kabonero, wabula akabonero ka Yona.” Awo n'abaleka, n'agenda.
5
Abayigirizwa bwe batuuka emitala w'eri, baali beerabidde okutwala emigaati.
6
Yesu n'abagamba nti, “Mulabuke mwekuume ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo.”
7
Bo ne bawakana bokka na bokka, nga bagamba nti, “Kubanga tetuleese migaati.”
8
Yesu bwe yamanya kye bagamba, n'ababuuza nti, “Mmwe abalina okukkiriza okutono, kiki ekibawakanya mwekka na mwekka olw'okuba temulina migaati?
9
Temunnaba kutegeera, so temujjukira migaati etaano, egyakkusa abantu enkumi ettaano (5,000), n'ebibbo bwe byali bye mwakuŋŋaanya?
10
Era emigaati omusanvu, egyakkusa abantu enkumi ennya (4,000), n'ebisero bwe byali bye mwakuŋŋaanya?
11
Ekibalobedde ki okutegeera nti sibagambye lwa migaati? Naye mwekuume ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo.”
12
Ne balyoka bategeera nti tagambye kwekuuma kizimbulukusa kya migaati, wabula okwekuuma okuyigiriza kw'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo.
13
Awo, Yesu bwe yajja ku njuyi z'e Kayisaliya ekya Firipo, n'abuuza abayigirizwa be, ng'agamba nti, “Omwana w'omuntu abantu bamuyita batya?”
14
Ne bamuddamu nti, “Abalala bamuyita Yokaana Omubatiza; abalala nti Eriya, abalala nti Yeremiya, oba omu ku bannabbi.”
15
Awo ye n'ababuuza nti, “Naye mmwe mumpita mutya?”
16
Simooni Peetero n'addamu n'agamba nti, “Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.”
17
Yesu n'amuddamu n'amugamba nti, “Olina omukisa, Simooni Ba-Yona! Kubanga omubiri n'omusaayi tebyakubikkulira ekyo, wabula Kitange ali mu ggulu.
18
Nange nkugamba nti Ggwe Peetero, nze ndizimba ekkanisa yange ku lwazi luno, so n'emiryango egy'Emagombe tegirigiyinza.
19
Ndikuwa ebisumuluzo by'okwakabaka obw'omu ggulu, kyonna kyonna ky'olisiba ku nsi kirisibibwa ne mu ggulu, kyonna kyonna ky'olisumulula ku nsi kirisumululwa ne mu ggulu.”
20
Awo n'akuutira abayigirizwa baleme okubuulirako omuntu nti ye Kristo.
21
Okuva olwo, Yesu n'asookera awo okubuulira abayigirizwa be nti kimugwanira okugenda e Yerusaalemi, okubonyaabonyezebwa ennyo abakadde ne bakabona abakulu n'abawandiisi, n'okuttibwa, ne ku lunaku olwokusatu okuzuukizibwa.
22
Awo Peetero n'atwala Yesu ku bbali, n'atanula okumunenya, ng'agamba nti, “Nedda, Mukama wange! Ekyo tekirikubaako n'akatono.”
23
Yesu n'akyuka, n'agamba Peetero nti, “Dda emabega wange, Setaani! Oli nkonge gye ndi; kubanga tolowooza bya Katonda, wabula eby'abantu.”
24
Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti, “Omuntu bw'ayagala okujja emabega wange, yeefiirize yekka, yeetikke omusalaba gwe, angoberere.
25
Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe alibubuza; na buli alibuza obulamu bwe ku lwange alibulaba.
26
Kubanga omuntu kulimugasa kutya okulya ensi yonna, naye ng'afiiriddwa obulamu bwe? Oba omuntu aliwaayo ki okununula obulamu bwe?
27
Kubanga Omwana w'omuntu agenda kujjira mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika be; n'alyoka asasula buli muntu nga bwe yakola.
28
Ddala mbagamba nti Waliwo ku bano abayimiridde wano, abatalirega ku kufa n'akatono, okutuusa lwe baliraba Omwana w'omuntu ng'ajja mu bwakabaka bwe.”
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28