bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Matthew 24
Matthew 24
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 25 →
1
Yesu n'afuluma mu Yeekaalu; awo bwe yali ng'atambula, abayigirizwa be ne bajja okumulaga amazimba ga Yeekaalu.
2
Naye n'abaddamu n'abagamba nti, “Temulaba bino byonna? Mazima mbagamba nti Tewalisigala wano jjinja eriri kungulu ku jjinja linnaalyo, eritalisuulibwa wansi.”
3
Yesu bwe yali ng'atudde ku lusozi olwa Zeyituuni, abayigirizwa ne bajja gy'ali kyama, ne bagamba nti, “Tubuulire bino we biribeererawo n'akabonero akaliraga okujja kwo bwe kaliba, era n'ak'emirembe gino okuggwaawo?”
4
Yesu n'abaddamu nti, “Mulabe omuntu yenna tabakyamyanga.
5
Kubanga bangi abalijja mu linnya lyange, nga bagamba nti, ‘Nze Kristo;’ balikyamya bangi.
6
Muliwulira entalo n'ettutumu ly'entalo; mulabe temweraliikiriranga; kubanga tebirirema kubaawo; naye enkomerero ng'ekyali.
7
Kubanga eggwanga liritabaala eggwanga ne kabaka alitabaala kabaka, walibaawo enjala n'ebikankano mu bifo ebitali bimu.
8
Naye ebyo byonna okubaawo ye ntandikwa y'okulumwa ng'okw'omukazi agenda okuzaala.
9
Mmwe balibakwata ne babawaayo mubonyebonyezebwe, balibatta; nammwe mulikyayibwa amawanga gonna okubalanga erinnya lyange.
10
Mu biro ebyo bangi abalyesittala, baliwaŋŋanayo, balikyawagana.
11
Ne bannabbi bangi ab'obulimba balijja, balikyamya bangi.
12
Era kubanga obujeemu buliyinga obungi, okwagala kw'abasinga obungi kuliwola.
13
Naye agumiikiriza okutuuka ku nkomerero, ye alirokolebwa.
14
n'Enjiri eno ey'obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba obujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n'eryoka etuuka.”
15
“Kale bwe muliraba eky'omuzizo ekizikiriza, Danyeri nnabbi kye yayogerako, nga kiyimiridde mu kifo ekitukuvu, oyo asoma bino ategeere,
16
olwo abaliba mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi;
17
aliba waggulu ku nju takkanga kuggyamu bintu ebiri mu nju ye;
18
aliba mu lusuku taddanga nate kutwala kyambalo kye.
19
Naye ziribasanga abali embuto n'abayonsa mu nnaku ezo!
20
Nammwe musabe Katonda ekiseera kyammwe eky'okuddukiramu kireme okuba mu biro eby'obutiti, newakubadde ku ssabbiiti.
21
Kubanga mu biro ebyo waliba ekibonyoobonyo ekinene, era tekibangawo kasookedde ensi ebaawo okutuusa leero, era tekiribaawo nate.
22
Ennaku ezo singa tezaasalibwako, tewandirokose buli alina omubiri; naye olw'abalonde ennaku ezo zirisalibwako.
23
Mu biro ebyo omuntu bw'abagambanga nti, ‘Laba, Kristo ali wano!’ oba nti, ‘Wano!’ temukkirizanga.
24
Kubanga walijja bakristo ab'obulimba, ne bannabbi ab'obulimba, n'abo balikola obubonero obukulu n'eby'amagero; n'okukyamya bakyamye n'abalonde, oba nga kiyinzika.
25
Laba, mbalabudde.
26
Kale bwe babagambanga nti, ‘Laba, ali mu ddungu;’ temufulumanga, ‘laba, ali mu bisenge munda;’ temukkirizanga.
27
Kubanga ng'okumyansa bwe kuva ebuvanjuba, ne kulabikira ebugwanjuba; bwe kutyo bwe kuliba okujja kw'Omwana w'omuntu.
28
Awaba omulambo wonna, awo ensega we zikuŋŋaanira.”
29
Naye amangu ago, oluvannyuma lw'ekibonyoobonyo eky'omu nnaku ezo enjuba erikwata ekizikiza, n'omwezi gulirekerawo okwaka, n'emmunyeenye zirigwa okuva mu ggulu, n'amaanyi ag'omu ggulu galinyeenyezebwa;
30
olwo akabonero ak'Omwana w'omuntu kalirabika ku ggulu, n'ebika byonna eby'ensi birikuba ebiwoobe, biriraba Omwana w'omuntu ng'ajjira ku bire eby'oku ggulu n'amaanyi n'ekitiibwa ekinene.
31
Era alituma bamalayika be n'eddoboozi ddene ery'ekkondeere, nabo balikuŋŋaanya abalonde be okuva mu mpewo ennya, era n'okuva ku nkomerero y'eggulu emu n'okutuusa ku nkomerero yaalyo endala.
32
Okuva ku muti omutiini muguyigireko bino; ettabi lyagwo bwe ligejja, amalagala ne gatojjera, mutegeera ng'obudde bw'ekyeya bunaatera okutuuka;
33
bwe mutyo nammwe, mu ngeri y'emu bwe mulabanga ebigambo ebyo byonna, mutegeere nti ali kumpi, ali awo ku luggi.
34
Mazima mbagamba nti emirembe gino tegiriggwaawo, okutuusa ebyo byonna lwe biribeerawo.
35
Eggulu n'ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggweerawo ddala.
36
Naye eby'olunaku luli n'ekiseera, tewali abimanyi, newakubadde bamalayika ab'omu ggulu, newakubadde Omwana, wabula Kitange yekka.
37
Naye nga bwe kyali mu nnaku za Nuuwa, bwe kityo bwe kiriba mu kujja kw'Omwana w'omuntu.
38
Kuba nga bwe baali ku nnaku ezo ezaasooka nga amataba tegannabaawo, baali nga balya nga banywa, nga bawasa era nga bawayiza, okutuuka ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato,
39
ne batamanya okutuusa amataba lwe gajja, ne gabasaanyaawo bonna; bwe kutyo bwe kuliba okujja kw'Omwana w'omuntu.
40
Mu biro ebyo abasajja babiri (2), baliba mu kyalo; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa.
41
Abakazi babiri (2) baliba nga basa ku lubengo; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa.
42
Kale mutunule; kubanga temumanyi lunaku bwe luli Mukama wammwe lw'alijjirako.
43
Naye kino mukitegeere nti Alina enju ye singa amanya ekisisimuka bwe kiri omubbi ky'anajjiramu, yanditunudde, teyandirese nnyumba ye kusimibwa.
44
Mukale nammwe mweteeketeeke; kubanga Omwana w'omuntu alijjira mu kiseera kye mutamusuubiriramu.
45
“Kale aluwa nate omuddu oyo omwesigwa ow'amagezi, mukama we gwe yasigira ab'omu nju ye, okubawanga emmere yaabwe mu kiseera kyayo?
46
Omuddu oyo alina omukisa, mukama we bw'alijja gw'alisanga ng'akola bw'atyo.
47
Mazima mbagamba nti alimusigira ebintu bye byonna.
48
Naye omuddu oyo omubi bw'aligamba mu mutima gwe nti Mukama wange aludde;
49
era bw'alisooka okukuba baddu banne, n'okulya n'okunywera awamu n'abatamiivu;
50
mukama w'omuddu oyo alijjira ku lunaku lw'atamusuubirirako, ne mu kiseera ky'atamanyi,
51
alimutemamu ebitundu bibiri, alimuwa omugabo gwe awamu ne bannanfuusi, omwo mwe muliba okukaaba n'okulumwa obujiji.”
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28