bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Matthew 15
Matthew 15
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 16 →
1
Awo Abafalisaayo n'abawandiisi abaava mu Yerusaalemi, ne bajja eri Yesu ne bagamba nti,
2
“Abayigirizwa bo kiki ekiboonoonyesa obulombolombo bwe twaweebwa abakadde? Kubanga tebanaaba mu ngalo nga bagenda okulya emmere.”
3
Yesu n'abaddamu n'abagamba nti, “Nammwe kiki ekiboonoonyesa etteeka lya Katonda olw'obulombolombo bwe mwaweebwa?
4
Kubanga Katonda yagamba nti, ‘Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko,’ nate nti, ‘Avumanga kitaawe oba nnyina, bamuttanga bussi.’
5
Naye mmwe mugamba nti, ‘Buli aligamba kitaawe oba nnyina nti Kyonna kye nnandikuwadde okukugasa, nkiwadde Katonda,
6
alireka okusaamu ekitiibwa kitaawe.’ Bw'emutyo mwadibya ekigambo kya Katonda olw'obulombolombo bwammwe bwe mwaweebwa.”
7
“Bannanfuusi mmwe, Isaaya yayogera bulungi ebya Katonda ebibakwatako ng'agamba nti,”
8
“‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa;’” “‘Naye omutima gwabwe gundi wala.’ ”
9
“‘Naye bansinziza bwereere,’” “Bayigiriza amateeka g'abantu obuntu nga bye by'okukwata.”
10
Awo Yesu n'ayita ekibiina ky'abantu, n'abagamba nti, “Muwulire, era mutegeere;
11
ekiyingira mu kamwa si kye kyonoona omuntu; naye ekiva mu kamwa, ekyo kye kyonoona omuntu.”
12
Awo abayigirizwa ne bajja w'ali, ne bamugamba nti, “Omanyi ng'Abafalisaayo baanyiize, bwe baawulidde ekigambo ekyo?”
13
Naye Yesu n'abaddamu n'abagamba nti, “Buli kisimbe Kitange ow'omu ggulu ky'ataasimba, kirisimbulwa.
14
Mubaleke; be basaale abatalaba. Naye omuzibe w'amaaso bw'akulembera muzibe munne, bombi baligwa mu bunnya.”
15
Peetero n'addamu n'amugamba nti, “Tunnyonnyole amakulu g'olugero olwo.”
16
Yesu n'agamba nti, “Era nammwe temunnaba kuba na magezi?
17
Temutegeera nti buli ekiyingira mu kamwa kigenda mu lubuto, mwe kiva ne kisuulibwa mu kiyigo?
18
Naye ebifuluma mu kamwa, biva mu mutima; n'ebyo bye byonoona omuntu.
19
Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obussi, obwenzi, obukaba, obubbi, okuwaayiriza, n'okuvuma.
20
Ebyo bye byonoona omuntu; naye okulya nga tanaabye mu ngalo tekwonoona muntu.”
21
Yesu n'avaayo, n'agenda ku njuyi z'e Ttuulo n'e Sidoni.
22
Kale, laba, omukazi Omukanani n'ava mu kitundu ekyo, n'ajja gy'ali n'ayogerera waggulu ng'agamba nti, “Onsaasire, Mukama wange, omwana wa Dawudi; muwala wange alwadde nnyo dayimooni.”
23
Naye Yesu n'atamuddamu kigambo. Abayigirizwa be ne bajja ne bamwegayirira, nga bagamba nti, “Musiibule; kubanga ajja atuleekaanira.”
24
Yesu n'addamu n'agamba nti, “Saatumibwa walala wonna okuggyako eri endiga ezaabula ez'omu nnyumba ya Isiraeri.”
25
Naye omukazi n'ajja, n'amusinza, ng'agamba nti, “Mukama wange, nnyamba.”
26
Yesu n'addamu n'agamba nti, “Si kirungi okuddira emmere y'abaana n'ogisuulira obubwa.”
27
Naye omukazi n'agamba nti, “Weewaawo, Mukama wange, naye n'obubwa bulya ku bukunkumuka obugwa okuva ku mmeeza ya bakama baabwo.”
28
Yesu n'alyoka addamu n'amugamba nti, “Ggwe omukazi, okukkiriza kwo kunene! Kibeere gy'oli nga bw'oyagala.” Muwala we n'awona okuva mu kiseera ekyo.
29
Yesu n'avaayo, n'ajja ku lubalama lw'ennyanja y'e Ggaliraaya; n'alinnya ku lusozi, n'atuula okwo.
30
Ebibiina bingi ne bijja gy'ali, nga birina abawenyera, n'abazibe b'amaaso, ne bakasiru, n'abalema, n'abalala bangi, ne babassa awali ebigere bye; n'abawonya,
31
ekibiina n'okwewuunya ne beewuunya, bwe baalaba bakasiru nga boogera, abalema nga balamu, abawenyera nga batambula, n'abazibe b'amaaso nga balaba; ne bagulumiza Katonda wa Isiraeri.
32
Yesu n'ayita abayigirizwa be, n'abagamba nti, “Nsaasira abantu, kubanga leero baakamala nange ennaku ssatu nga tebalina kya kulya, n'okubasiibula nga balina enjala sikyagala, mpozzi banaazirikira mu kkubo.”
33
Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Tunaggya wa emigaati emingi bwe giti mu ddungu, egiyinza okukkusa ekibiina ekinene ekyenkana wano?”
34
Yesu n'abagamba nti, “Mulina emigaati emeka?” Ne bamuddamu nti, “Musanvu, n'ebyennyanja bitono si bingi.”
35
Awo Yesu n'alagira ekibiina okutuula wansi;
36
n'atoola emigaati omusanvu n'ebyennyanja; ne yeebaza n'abimenyamu n'awa abayigirizwa, n'abayigirizwa ne bagabira ebibiina.
37
Bonna ne balya, ne bakkuta: ne bakuŋŋaanya obukunkumuka obwasigalawo, ne bujjuza ebisero musanvu.
38
N'abo abaalya baali abasajja enkumi nnya (4,000), nga tossizaako bakazi n'abaana.
39
N'asiibula ebibiina, n'asaabala mu lyato, n'ajja mu kitundu ky'e Magadani.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28