bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Matthew 20
Matthew 20
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 21 →
1
“Kubanga obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana omuntu alina ennyumba ye, eyakeera enkya okupakasa abalimi balime mu lusuku lwe olw'emizabbibu.
2
Bwe yamala okulagaana n'abalimi okubasasula eddinaali emu olunaku, n'abasindika mu lusuku lwe olw'emizabbibu.
3
N'afuluma ku ssaawa nga ssatu, n'alaba abalala nga bayimiridde mu katale nga tebaliiko kye bakola;
4
nabo n'abagamba nti, Nammwe mugende mukole mu lusuku olw'emizabbibu, nange nnaabasasula ekinaabasanira.” Ne bagenda.
5
N'afuluma nate essaawa nga ziri mukaaga, era ne ku ssaawa mwenda, n'akola bw'atyo.
6
Era n'afuluma ku ssaawa nga ziri kkumi n'emu, n'asanga abalala nga bayimiridde; n'abagamba nti, “Kiki ekibayimiriza wano obudde okuziba nga temuliiko kye mukola?”
7
“Ne bamuddamu nti, ‘Kubanga tewali muntu eyatupakasizza.’ N'abagamba nti, ‘Nammwe mugende mukole mu lusuku olw'emizabbibu.’
8
Obudde bwe bwawungeera, nnannyini lusuku olw'emizabbibu n'agamba omusajja we alabirira abakozi nti, ‘Bayite abalimi, obawe empeera, ng'osookera ku b'oluvannyuma, okutuusa ku b'olubereberye.’
9
Abo abaapangisibwa ku ssaawa ekkumi n'emu bwe bajja, ne baweebwa buli muntu eddinaali emu.
10
Abo abaasooka okupangisibwa bwe bajja, ne balowooza nti banaaweebwa okusingawo; naye nabo ne baweebwa buli muntu eddinaali emu.
11
Bwe baagiweebwa, ne beemulugunyiza nnannyini lusuku,
12
nga bagamba nti, ‘Bano ab'oluvannyuma bakoledde essaawa emu yokka, naye n'obenkanya naffe, abaateganye okuva enkya nga n'essana litwokya?’
13
Naye ye n'addamu n'agamba omu ku abo nti, ‘Munnange, sikukoze bubi; tewalagaanye nange eddinaali emu?
14
Twala eyiyo, ogende; njagala okuwa ono eyazze oluvannyuma nga bwe mpadde ggwe.
15
Siyinza kukola byange nga bwe njagala? Oba okwatiddwa obuggya olw'obugabi bwange?’
16
Bwe batyo ab'oluvannyuma baliba ab'olubereberye, n'ab'olubereberye baliba ab'oluvannyuma.”
17
Yesu bwe yali ng'ayambuka okugenda e Yerusaalemi, n'atwala abayigirizwa ekkumi n'ababiri kyama (12), n'abagambira mu kkubo nti,
18
“Laba, twambuka tugenda e Yerusaalemi; n'Omwana w'omuntu aliweebwayo mu bakabona abakulu n'abawandiisi; nabo balimusalira omusango okumutta,
19
era balimuwaayo mu b'amawanga okumuduulira, n'okumukuba, n'okumukomerera, kyokka alizuukizibwa ku lunaku olwokusatu.”
20
Awo nnyina w'abaana ba Zebbedaayo n'ajja gy'ali, n'abaana be, n'amusinza, n'abaako ky'amusaba.
21
Yesu n'amugamba nti, “Oyagala ki?” N'amuddamu nti, “Lagira abaana bange bano bombi batuule, omu ku mukono gwo ogwa ddyo, n'omulala ku mukono gwo ogwa kkono, mu bwakabaka bwo.”
22
Naye Yesu n'addamu n'agamba nti, “Temumanyi kye musaba. Muyinza okunywa ku kikompe nze kye ŋŋenda okunywako?” Ne bamugamba nti, “Tuyinza.”
23
Yesu n'abagamba nti, “Ku kikompe kyange mulinywerako ddala; naye eky'okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo, ne ku mukono ogwa kkono, si nze nkugaba, wabula kiweebwa abo Kitange be yakuterekera.”
24
Na bali ekkumi (10) bwe baawulira, ne banyiigira ab'oluganda ababiri.
25
Naye Yesu n'abayita bonna gy'ali, n'agamba nti, “Mumanyi ng'abafuzi b'amawanga babafuga, era abakulu baabwe babatwala n'amaanyi.
26
Naye tekiibenga bwe kityo mu mmwe; naye buli ayagala okuba omukulu mu mmwe anaabanga muweereza wammwe;
27
na buli ayagala okuba ow'olubereberye mu mmwe anaabanga muddu wammwe;
28
nga Omwana w'omuntu bw'atajja kuweerezebwa, wabula okuweereza, n'okuwaayo obulamu bwe okuba ekinunulo eky'abangi.”
29
Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali nga bafuluma mu Yeriko, ekibiina ekinene ne kimugoberera.
30
Laba, abazibe b'amaaso babiri abaali batudde ku mabbali g'ekkubo, bwe baawulira nti Yesu ayitawo, ne boogerera waggulu, nga bagamba nti, “Mukama waffe, omwana wa Dawudi, tusaasire.”
31
Ekibiina ne kibaboggolera, nga kibagamba okusirika; naye bo ne beeyongera okwogerera waggulu, nga bagamba nti, “Mukama waffe, omwana wa Dawudi, tusaasire.”
32
Awo Yesu n'ayimirira, n'abayita, n'agamba nti, “Mwagala mbakolere ki?”
33
Ne bamugamba nti, “Mukama waffe, amaaso gaffe gazibuke.”
34
Yesu n'abakwatirwa ekisa, n'akwata ku maaso gaabwe, amangwago ne balaba, ne bamugoberera.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28