bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Samuel 1
2 Samuel 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 2 →
1
Awo Sawulo ng'amaze okufa, Dawudi n'akomawo e Zikulagi ng'amaze okutta Abameleki, era n'abeera eyo okumala ennaku bbiri.
2
Ku lunaku olwokusatu omusajja n'atuuka, ng'ava mu lusiisira lwa Sawulo. Olw'okulaga obunakuwavu, yali ayuzizza ebyambalo bye era nga yeesiize ettaka mu mutwe. N'agenda eri Dawudi, n'avuunama ng'amussaamu ekitiibwa.
3
Dawudi n'amubuuza nti: “Ova wa?” N'addamu nti: “Nziruse mu lusiisira lw'Abayisirayeli.”
4
Dawudi n'amugamba nti: “Mbuulira bwe byabadde.” N'amugamba nti: “Eggye lyaffe lidduse mu lutalo era abantu baffe bangi battiddwa. Sawulo ne mutabani we Yonataani bafudde.”
5
Dawudi n'abuuza omulenzi eyamubuulira nti: “Omanyi otya nga Sawulo ne mutabani we Yonataani bafudde?”
6
Omulenzi n'amuddamu nti: “Nabadde ku lusozi Gilubowa ne ndaba Sawulo nga yeewaniridde ku ffumu lye. Era ne ndaba ab'amagaali n'abeebagadde embalaasi, nga bamufumbiikiriza.
7
Awo bwe yakyuse n'andaba, n'ampita, ne mpitaba nti: ‘Wangi ssebo.’
8
N'ambuuza nti: ‘Ggwe ani?’ Ne mmuddamu nti: ‘Ndi Mwamaleki.’
9
N'alyoka andagira nti: ‘Jjangu wano onzite! Ntuukiddwako ebisago bya maanyi, sijja kuwona.’
10
Awo ne ŋŋenda w'ali ne mmutta, kubanga nategeeredde ddala nti bw'anaagwa taaleme kufa. Ne mmuggyako engule ku mutwe n'ekikomo ku mukono, era ssebo biibino mbireese gy'oli.”
11
Awo Dawudi n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, ne basajja be bonna ne bakola bwe batyo.
12
Ne bakungubaga, ne bakaaba amaziga, ne batalya mmere olunaku lwonna, olw'okubeera Sawulo ne mutabani we Yonataani, n'olw'abantu ba Mukama Abayisirayeli kubanga battibwa mu lutalo.
13
Dawudi n'abuuza omuvubuka eyamuleetera amawulire ago nti: “Ggwe oli wa wa?” N'amuddamu nti: “Ndi mwana wa Mwamaleki omutuuze.”
14
Dawudi n'amubuuza nti: “Oyinza otya obutatya kuzikiriza oyo Mukama gwe yafukako omuzigo?”
15
Awo Dawudi n'ayita omu ku balenzi, n'amugamba nti: “Mutte!” Omuvubuka n'akuba Omwamaleki, n'amutta.
16
Dawudi n'agamba Omwamaleki nti: “Kino ggwe okyereetedde, era weesalidde wekka omusango ng'ogamba nti: ‘Nze nzise oyo Mukama gwe yafukako omuzigo.’ ”
17
Awo Dawudi n'akungubagira Sawulo ne mutabani we Yonataani mu luyimba olw'okukungubaga.
18
N'alagira oluyimba olwo oluyitibwa Omutego luyigirizibwe abantu b'omu Buyudaaya, era luwandiikiddwa mu kitabo kya Yasari.
19
“Abakuweesa ekitiibwa, ggwe Yisirayeli battiddwa ku busozi bwo! Abazira baffe bagudde!
20
Temukibuulirako b'e Gaati, era temukirangirira mu nguudo z'e Asukelooni, sikulwa ng'abakazi Abafilistiya, bawala b'abatali bakomole, basanyuka ne bajaguza.
21
“Mmwe ensozi ze Gilubowa, muleme kutonnyebwangako nkuba wadde omusulo, wadde okubaako ennimiro ezikungulwa, kubanga engabo z'abazira, ku mmwe kwe zisuuliddwa, n'engabo ya Sawulo tekyafukibwako muzigo.
22
Akasaale ka Yonataani n'ekitala kya Sawulo byali tebitya wa maanyi, nga tebitaliza mulabe.
23
“Sawulo ne Yonataani abaayagalana mu bulamu, tebaayawukana mu kufa. Banguwa okusinga empungu, ba maanyi okukira empologoma.
24
“Abakazi Abayisirayeli mukungubagire Sawulo! Yabambaza engoye ennungi, n'abawunda ne zaabu.
25
“Abalwanyi abazira bagudde battiddwa mu lutalo! Yonataani agalamidde gy'attiddwa mu nsozi.
26
“Nkukaabira Yonataani muganda wange! Nga twali baamukwano nnyo. Okwagala kwe wanjagalamu kwali kwa kitalo nga kusinga okw'abakazi.
27
“Abalwanyi ab'amaanyi bagudde. Ebyokulwanyisa byabwe bigudde awo ttayo.”
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
Recommended Reading
Commentary
2 Samuel Commentaries
→
Devotional
2 Samuel Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→