bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Samuel 22
2 Samuel 22
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 23 →
1
Awo Dawudi n'ayimbira Mukama oluyimba luno, ku lunaku Mukama lwe yamuwonya Sawulo n'abalabe be abalala bonna. Yagamba nti:
2
Mukama lwe lwazi lwange, ekigo kyange ekigumu era ye andokola.
3
Katonda ge maanyi gange; ye gwe nneesiga. Ye ngabo yange, era ye andokola. Gwe munaala gwange omuwanvu, era ekiddukiro kyange. Omulokozi wange, ggwe omponya abakambwe.
4
Nkoowoola Mukama agwanira okutenderezebwa. Bwe ntyo, nnaawona abalabe bange.
5
Nali neetooloddwa akabi ak'okufa, amayengo ag'okuzikirira ne ganjiikako.
6
Emiguwa egy'emagombe gyanneetooloola, emitego gy'olumbe ne gintaayiza.
7
Mu buyinike bwange nakoowoola Mukama, ne mpita Katonda wange. Yawulira eddoboozi lyange, n'awuliriza okukaaba kwange.
8
Ensi yayuuguuma, n'ekankana. Emisingi gy'eggulu gyajugumira, ne ginyeenyezebwa, kubanga Katonda asunguwadde.
9
Omukka gwanyooka mu nnyindo ze. Omuliro ogwava mu kamwa ke ne gwokya, ne gukoleeza amanda.
10
Yakutamya eggulu n'akka, ekizikiza ekikutte ennyo nga kiri wansi w'ebigere bye.
11
Yeebagala Kerubi n'abuuka, n'alabikira ku biwaawaatiro by'embuyaga.
12
Yeebikka ekizikiza, ebire ebikutte, ebijjudde amazzi, ne bimwetooloola.
13
Amanda ag'omuliro ne gava mu kumyansa.
14
Mukama yabwatukira mu ggulu, eddoboozi ly'Atenkanika ne liwulirwa.
15
Yalasa obusaale n'abasaasaanya, yaweereza okumyansa, n'abagoba.
16
Mukama bwe yakayuka era bwe yafuuwa omukka ogw'omu nnyindo ze, entobo y'ennyanja n'erabika, n'emisingi gy'ensi ne gyeyerula.
17
Mukama yasinziira waggulu n'ankwata, n'anzigya mu mazzi amangi.
18
Yamponya abalabe bange ab'amaanyi, n'abo abankyawa, abansinza amaanyi.
19
Bannumba nga ndi mu buzibu, naye Mukama ye yankuuma.
20
Yantuusa mu kifo ekigazi n'amponya, kubanga yanjagala.
21
Mukama yampa empeera, kubanga nali mwenkanya. Yansasula kubanga nakola ebirungi.
22
Nawulira amateeka ga Mukama, ne siva ku Katonda wange nga nkola ekibi.
23
Nakwata ebiragiro bye byonna, era sivanga ku mateeka ge.
24
Era saalina musango mu maaso ge, nneekuuma ne sikola kibi.
25
Mukama kyavudde ampa empeera, kubanga ndi mwenkanya, era sirina musango mu maaso ge.
26
Oli wa kisa eri ab'ekisa, oli wa mazima eri ab'amazima.
27
Oli mulongoofu eri abalongoofu, naye oli mukambwe eri ababi.
28
Olokola abo ababonyaabonyezebwa, naye otunuulira abeekulumbaza, obatoowaze.
29
Ayi Mukama ggwe ompa ekitangaala, n'ongobako ekizikiza.
30
Ggwe onnyamba okulumba eggye. Ayi Katonda wange, ggwe ompa amaanyi okubuuka ekigo.
31
Katonda ono, ebikolwa bye byatuukirira, ebyo by'asuubiza byesigibwa. Ye ataasa bonna abamwesiga.
32
Mukama ye Katonda yekka; Katonda waffe, ye yekka atutaasa.
33
Katonda kye kigo kyange ekigumu, ye andagirira ekkubo eritaliimu kabi.
34
Ebigere byange abinyweza okutambula ng'ennangaazi. Ankuumira waggulu ku bifo ebigulumivu.
35
Anjigiriza okulwana, ne nsobola okuleega omutego ogw'ekikomo.
36
Ayi Mukama, onkuuma era ondokola, era obukkakkamu bwo bungulumizza.
37
Wagaziya ekkubo mwe ntambulira, ebigere byange ne bitaseerera.
38
Nawondera abalabe bange ne mbazikiriza, era saakyuka nga tebannasaanyizibwawo.
39
Mbazikirizza ne mbafumitira ddala, ne batayinza kuyimuka. Bagudde wansi w'ebigere byange.
40
Wampa amaanyi okulwana olutalo, n'owangula abannumba.
41
Waleetera abalabe bange okunziruka, abo abankyawa ne mbazikiriza.
42
Baanoonya ow'okubayamba, ne wataba abawonya. Baakoowoola Mukama, kyokka n'atabaddamu.
43
Ne mbasekulasekula ne bafuuka ng'enfuufu. Nabalinnyirira ng'ebisooto eby'omu nguudo, ne mbasaasaanya.
44
Omponyezza okwegugunga kw'abantu bange, n'onfuula omufuzi w'amawanga. Abantu be simanyanga, balimpeereza.
45
Ab'amawanga amalala balinjeemulukukira. Oluliwulira ebigambo byange, baliŋŋondera.
46
Baliggwaamu amaanyi, era baliva mu bifo byabwe bye beekwekamu, ne bajja nga bakankana.
47
Mukama mulamu! Oyo antaasa, atenderezebwe! Era Katonda andokola, agulumizibwe!
48
Ye Katonda awoolera eggwanga ku lwange, n'awangula amawanga ngafuge.
49
Anzigya mu mikono gy'abalabe bange. Weewaawo, ayi Mukama, ongulumiza okusinga abannumba, omponya abantu abajjudde obukambwe.
50
Kyennaava nkutenda mu mawanga, ayi Mukama, ne nnyimba okukutendereza.
51
Katonda gw'awadde obwakabaka, amuwa obuwanguzi obw'amaanyi. Akwatirwa ekisa omusiige we Dawudi, n'ezzadde lye emirembe gyonna.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24