bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Samuel 4
2 Samuel 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 5 →
1
Awo Yisiboseti mutabani wa Sawulo bwe yawulira nti Abuneeri bamuttidde mu Heburooni, n'atya nnyo, n'abantu b'omu Yisirayeli bonna ne beeraliikirira.
2
Yisiboseti yalina abakungu be babiri, abaakuliranga entabaalo, ng'omu erinnya lye Baana, n'owookubiri nga ye Rekabu, batabani ba Rimmoni Omubeeroti, ow'omu Kika kya Benyamiini. (Beeroti kibalibwa mu kitundu kya Benyamiini.
3
Abatuuze abaasooka okukibeeramu baali baddukidde mu Gittayiimu, gye babeera n'okutuusa kati).
4
Yonataani mutabani wa Sawulo yalina mutabani we eyalemala amagulu, erinnya lye Mefiboseti. Omwana oyo yalina emyaka etaano egy'obukulu Sawulo ne Yonataani we baafiira. Omuntu bwe yava e Yezireeli n'abika Sawulo ne Yonataani, omulezi w'omwana oyo Mefiboseti n'amusitula n'adduka. Naye olw'okuba yali mu bwangu, omwana yamusimattukako n'agwa n'alemala.
5
Awo Rekabu ne Baana batabani ba Rimmoni Omubeeroti ne bagenda, ne batuuka mu nnyumba ya Yisiboseti ku ssaawa nga mukaaga ez'omu ttuntu, ne basanga nga Yisiboseti awumuddeko.
6
Ne bayingira mu nnyumba nga beefudde abaagala okukimayo eŋŋaano, ne bamufumita olubuto. Awo Rekabu ne muganda we Baana ne badduka.
7
Baayingira mu nnyumba nga Yisiboseti yeebase ku kitanda mu kisenge mw'asula, ne bamufumita, ne bamutta. Ne bamutemako omutwe, ne bagutwala. Ne batambula ekiro kyonna, nga bayita mu kiwonvu kya Yorudaani.
8
Omutwe gwa Yisiboseti ne bagutwalira Dawudi mu Heburooni, ne bamugamba nti: “Omutwe gwa Yisiboseti mutabani w'omulabe wo Sawulo, eyali agezaako okukutta, guuguno! Olwaleero Mukama awooledde eggwanga ku lulwo ku Sawulo ne ku zzadde lye.”
9
Dawudi n'abaddamu nti: “Ndayira Mukama omulamu eyampisa mu bizibu byonna!
10
Omubaka eyajja e Zikulagi okumbuulira okufa kwa Sawulo, yalowooza nti yali ambuulira mawulire malungi, kyokka namukwata ne ndagira attibwe. Eyo ye mpeera gye namuwa olw'amawulire ge ago!
11
Kale kinaaba kitya ku bantu ababi, abatta omuntu atalina musango, gwe basanze mu nnyumba ye nga yeebase? Siisingewo nnyo okubavunaana mmwe olw'okutta Yisiboseti, ne mbasaanyaawo ku nsi kuno?”
12
Dawudi n'alagira balenzi be, ne batta Rekabu ne Baana, ne babatemako emikono n'ebigere, ne babiwanika ku mabbali g'ekidiba ky'omu Heburooni. Ne batwala omutwe gwa Yisiboseti, ne baguziika ku biggya bya Abuneeri mu Heburooni.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24