bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Samuel 23
2 Samuel 23
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 24 →
1
Bino bye bigambo bya Dawudi ebyasembayo, kwe kwogera kwa Dawudi mutabani wa Yesse, kwe kwogera kw'omusajja Katonda gwe yagulumiza. Katonda wa Yakobo yamufukako omuzigo. Ye muyimbi ow'eggono owa Zabbuli za Yisirayeli.
2
Mwoyo wa Mukama ayogerera mu nze; ekigambo kye kiri ku lulimi lwange.
3
Katonda wa Yisirayeli yayogera, omukuumi wa Yisirayeli yaŋŋamba nti: “Oyo afugisa abantu amazima, afuga ng'atya Katonda,
4
ali ng'akasana k'oku makya ak'enjuba ng'evaayo akaaka ku ggulu okutali bire; ne katangalijja ku muddo enkuba ng'ekedde.”
5
Era bwe lityo ezzadde lyange bwe liri ne Katonda, kubanga yakola nange endagaano ey'olubeerera, eteredde mu byonna era enkakafu. Byonna eby'okunnyamba era ne bye neegomba ajja kubituukiriza.
6
Naye abatatya Katonda bonna, baliba ng'amaggwa agasindiikirizibwa, agatayinza kukwatibwa na ngalo.
7
Naye omuntu agakwasaako kyuma na lunyago lwa ffumu, ne gookerwa awo, obutasigalawo na limu.
8
Gano ge mannya g'abasajja ab'amaanyi Dawudi be yalina: asooka ye Yosebu Basseebeti ow'e Takemoni, omukulu w'Abasatu. Yali ayitibwa Adino Omwezeni kubanga yalwana n'abasajja lunaana, n'abatta lumu.
9
Owookubiri ku basatu abo ab'amaanyi ye Eleyazaari, mutabani wa Dodo, Dodo mutabani wa Ahohi. Yali ne Dawudi bwe baasoomooza Abafilistiya abaali bakuŋŋaanidde eyo okulwana, Abayisirayeli bonna ne badduka.
10
Naye ye n'asituka n'atta Abafilistiya, okutuusa omukono gwe lwe gwakoowa era ne gusannyalalira ku kitala. Mukama n'awa obuwanguzi obw'amaanyi ku lunaku olwo, Abayisirayeli ne bakomawo awali Eleyazaari, lwa kunyaga bunyazi.
11
Amuddirira ye Samma mutabani wa Agee Omuharari. Awo Abafilistiya baali bakuŋŋaanidde e Lehi awali omusiri ogujjudde ebijanjaalo, Abayisirayeli ne badduka Abafilistiya abo.
12
Kyokka ye Samma n'ayimirira wakati mu musiri, n'agukuuma, n'atta Abafilistiya. Mukama n'awa Yisirayeli obuwanguzi obw'amaanyi.
13
Awo abasatu ku bakulu amakumi asatu, ne baserengeta ne bajja eri Dawudi mu mpuku y'e Adullamu, mu kiseera eky'amakungula ng'ekibinja ky'Abafilistiya kisiisidde mu kiwonvu ky'e Refayiimu.
14
Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo ekigumu, n'ekibinja ky'Abafilistiya nga kiri Betilehemu.
15
Dawudi n'alumwa nnyo ennyonta, n'agamba nti: “Kale singa wabaddewo andeetera ku mazzi ag'okunywa agava mu luzzi olw'e Betilehemu, oluli ku wankaaki!”
16
Awo abasajja abasatu ab'amaanyi ne bawaguza mu lusiisira lw'Abafilistiya, ne basena amazzi mu luzzi olw'e Betilehemu, oluli ku wankaaki, ne bagaleetera Dawudi. Kyokka n'atakkiriza kuganywako, wabula n'agayiwa ku ttaka ng'ekiweebwayo eri Mukama.
17
N'agamba nti: “Kikafuuwe, ayi Mukama, nze okunywa amazzi gano, kubanga kiri ng'okunywa omusaayi gw'abasajja bano abawaddeyo obulamu bwabwe okugakima!” Kyeyava agaana okuganywako. Ebyo abasajja abasatu ab'amaanyi bye baakola.
18
Ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, era mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w'abasajja amakumi asatu ab'amaanyi. Yagalula effumu lye okulwana n'abasajja ebikumi bisatu n'abafumita n'abatta, n'aba n'erinnya mu makumi asatu.
19
Bw'atyo n'aba nga ye asinga ekitiibwa mu bo, era n'afuuka omukulembeze waabwe, wabula n'ataba mututumufu nga bali abasatu.
20
Benaaya mutabani wa Yehoyaada ow'e Kabuzeeli naye yali musajja muzira. Yakola ebikolwa eby'amaanyi. Yatta abasajja Abamowaabu babiri ab'amaanyi ng'empologoma, era olumu mu biseera eby'omuzira yakka mu bunnya n'atta empologoma.
21
Era yatta omusajja Omumisiri eyali ow'ekiwago, eyalina effumu. Benaaya yagenda gy'ali ng'alina muggo, n'asika effumu ly'Omumisiri n'alimufumisa, n'amutta.
22
Ebyo Benaaya mutabani wa Yehoyaada bye yakola, n'aba n'erinnya mu abo amakumi asatu.
23
Yasinga ekitiibwa abo amakumi asatu, kyokka teyali mututumufu nga bali abasatu. Dawudi n'amufuula omukulu w'abakuumi be. Abalala ku basajja amakumi asatu be bano:
24
Asaheeli muganda wa Yowaabu, Eluhanani, mutabani wa Dodo ow'e Betilehemu, Samma Omuharodi,
25
Elika Omuharodi,
26
Helezi Omupaluti, Yira mutabani wa Yikkesi Omutekowa,
27
Abiyezeeri Omwanetooti ne Mebunnayi Omuhusati;
28
Zalumoni Omwahohi, Maharaayi Omunetofa,
29
Helebu mutabani wa Baana Omunetofa, Yittayi mutabani wa Ribayi ow'e Gibeya eky'Ababenyamiini, Benaaya Omupiratoni;
30
Hiddayi ow'oku bugga bw'e Gaasi,
31
Abiyaluboni Omwarubati, Azumaveti Omubaruhumi,
32
Eliyaaba Omusaalubooni; batabani ba Yaseni: Yonataani,
33
Samma Omuharari, Ahiyaamu mutabani wa Sarari Omuharari,
34
Elifeleti mutabani wa Ahasubayi ow'e Maaka, Eliyaamu mutabani wa Ahitofeeli ow'e Giilo,
35
Heziro ow'e Karumeeli, Paarayi Omwarubi,
36
Yigali mutabani wa Natani ow'e Zoba, Bani Omugaadi,
37
Zeleki Omwammoni, Naharayi Omubeeroti eyakwatanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya;
38
Yira Omuyituri, Garebu Omuhiiti,
39
ne Wuriya Omuhiiti. Bonna awamu baali amakumi asatu mu musanvu.
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24