bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Samuel 13
2 Samuel 13
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 14 →
1
Abusaalomu mutabani wa Dawudi, yalina mwannyina omulungi ennyo erinnya lye Tamari. Bwe waayitawo ebbanga, Amunooni, nga naye mutabani wa Dawudi, ne yeegomba Tamari.
2
Amunooni n'anyolwa, n'okulwala n'alwala olw'okwagala ennyo mwannyina Tamari. Kubanga Tamari yali tannamanya musajja, Amunooni n'alaba nga kizibu okumufuna.
3
Kyokka Amunooni yalina mukwano gwe erinnya lye Yonadaabu, mutabani wa Simeeya, muganda wa Dawudi. Yonadaabu oyo yali musajja mugerengetanya nnyo.
4
N'agamba Amunooni nti: “Omulangira, lwaki weeyongera okukogga buli lunaku? Tombuulira?” Amunooni n'amugamba nti: “Neegomba Tamari, mwannyina muganda wange Abusaalomu.”
5
Yonadaabu n'amugamba nti: “Galamira ku kitanda kyo, weefuule omulwadde, kitaawo bw'anajja okukulaba omugambe nti: ‘Nkwegayiridde, kkiriza mwannyinaze Tamari ajje ampe akokulya, nkalye, era akateekereteekere mu maaso gange, nkalabe, ye yennyini akampe nkalye.’ ”
6
Amunooni n'agalamira ku kitanda kye, ne yeefuula omulwadde. Kabaka bwe yajja okumulaba, Amunooni n'amugamba nti: “Nkwegayiridde, kkiriza mwannyinaze Tamari ajje anteekereteekere obugaati bubiri mu maaso gange, ye yennyini abumpe mbulye.”
7
Awo Dawudi n'atumira Tamari eka ng'agamba nti: “Genda mu nnyumba ya mwannyoko Amunooni, omuteekereteekereyo akokulya.”
8
Tamari n'agenda mu nnyumba mwannyina Amunooni mwe yali ng'agalamidde. N'addira obutta, n'abukanda, n'akolamu emigaati, nga Amunooni amutaddeko abiri, n'agifumba.
9
N'akwata kye yagifumbiramu, n'agimujjulira. Kyokka Amunooni n'agaana okulya era n'agamba nti: “Gobawo bonna bave we ndi!” Bonna ne bava w'ali.
10
Amunooni n'agamba Tamari nti: “Leeta ebyokulya mu kisenge obimpeere eno.” Tamari emigaati gy'afumbye, n'agitwala mu kisenge eri Amunooni mwannyina.
11
Awo bwe yagimusembereza alye, n'amukwata, n'amugamba nti: “Mwannyinaze jjangu weebake nange.”
12
Tamari n'amuddamu nti: “Nedda mwannyinaze, tonkwata, kubanga ekintu nga kino tekikolebwa mu Yisirayeli. Tokola kintu kino eky'obugwenyufu.
13
Kale nze ndiraga wa nga mmaze okuwemuka bwe nti? Oliba omu ku bagwenyufu ab'omu Yisirayeli. Kale nno nkwegayiridde, ekyo kyogere ne kabaka, tajja kukunnyima.”
14
Naye Amunooni n'atamuwuliriza, era kubanga yamusinza amaanyi, n'amukwata lwa mpaka, ne yeebaka naye.
15
Awo Amunooni n'akyawa Tamari ebitakyayika. Engeri gye yamukyawamu yasinga okwegomba kwe yamwegombamu. Amunooni n'amugamba nti: “Situka ogende!”
16
Naye Tamari n'amuddamu nti: “Nedda, eky'okunsindiikiriza kibi nnyo n'okusinga ky'osoose okukola.”
17
Naye Amunooni n'atamuwuliriza. N'ayita omuweereza we n'amugamba nti: “Omukazi ono muggye mu maaso gange omufulumye ebweru omuggalireyo.”
18
Tamari yali ayambadde ekyambalo eky'amabala amangi, kubanga abambejja abatannamanya musajja bwe batyo bwe baayambalanga. Awo omuweereza wa Amunooni n'afulumya Tamari, n'amusibira ebweru.
19
Tamari n'ateeka evvu mu mutwe gwe, n'ayuza ekyambalo kye eky'amabala amangi kye yali ayambadde, ne yeetikka emikono gye ku mutwe, n'agenda ng'akaaba.
20
Abusaalomu mwannyina n'amubuuza nti: “Amunooni mwannyoko abadde naawe? Wabula kaakano sirika, mwannyinaze, oyo mwannyoko, era kino kireme kukunakuwaza nnyo.” Tamari n'abeera mu nnyumba ya Abusaalomu mwannyina, kyokka ng'asigadde mu bbanga.
21
Kabaka Dawudi bwe yawulira ebyo byonna, n'asunguwala nnyo.
22
Abusaalomu n'akyawa Amunooni kubanga yali akutte Tamari mwannyina, kyokka Abusaalomu n'atayogera na Amunooni kigambo na kimu, newaakubadde ekirungi, wadde ekibi.
23
Nga wayiseewo emyaka ebiri, Abusaalomu yalina abasala ebyoya by'endiga ze e Baalihazori okumpi ne Efurayimu, n'ayita abalangira bonna babeereyo.
24
Era Abusaalomu n'agenda eri kabaka n'amugamba nti: “Mukama wange, nnina abasala ebyoya by'endiga. Nkusaba ojje n'abaweereza bo mugende wamu nange.”
25
Kabaka n'agamba Abusaalomu nti: “Nedda, mwana wange, tetujja kugenda ffenna tuleme kukuzitoowerera.” Abusaalomu n'amwetayirira, kyokka Kabaka Dawudi n'agaana okugenda, wabula n'amusabira omukisa.
26
Abusaalomu n'amugamba nti: “Kale nno nkwegayiridde kkiriza muganda wange Amunooni, agende naffe.” Kabaka n'amubuuza nti: “Lwaki agenda naawe?”
27
Kyokka Abusaalomu n'amwetayirira okutuusa lwe yakkiriza Amunooni n'abalangira abalala bonna okugenda naye.
28
Awo Abusaalomu n'alagira abaweereza be nti: “Mutunuulire Amunooni, bwe mumulaba ng'atamidde omwenge, era ne mbagamba nti: ‘Mukube Amunooni mumutte,’ temutya kubanga nze nnaaba mbalagidde. Mugume mube bazira.”
29
Abaweereza ne bakola nga Abusaalomu bwe yabalagira, ne batta Amunooni. Abalangira bonna abaasigalawo ne basituka ne beebagala ennyumbu zaabwe ne badduka.
30
Baba bakyali mu kkubo, olugambo ne lutuuka ku Dawudi nga lugamba nti: “Abusaalomu asse abalangira bonna, obutalekaawo n'omu!”
31
Awo kabaka n'asituka n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, n'agalamira ku ttaka. Abaweereza abaali naye nabo ne bayuza ebyambalo byabwe.
32
Yonadaabu, mutabani wa Simeeya muganda wa Dawudi n'agamba nti: “Mukama wange, leka kulowooza nti basse abaana bo bonna ab'obulenzi, ayi kabaka. Amunooni yekka ye afudde, kubanga Abusaalomu yalabika ng'amaliridde okumutta, okuviira ddala ku lunaku lwe yakwata mwannyina Tamari.
33
Kale nno mukama wange kabaka, eky'okugamba nti batabani bo bonna bafudde lema na kukirowoozaako. Amunooni yekka ye afudde.”
34
Abusaalomu n'adduka. Omuserikale eyali ku gw'okukuuma bwe yayimusa amaaso, n'alengera abantu bangi nga bajja, nga bakutte ekkubo ery'oku lusozi emabega we.
35
Awo Yonadaabu n'agamba kabaka nti: “Ssaabasajja, batabani bo baabo bajja. Nga nze omuweereza wo bwe nnaakamala okwogera, bwe kityo bwe kiri.”
36
Nga kyajje amale okwogera ebyo, abalangira ne batuuka, ne batema emiranga, ne bakaaba amaziga. Era ne kabaka n'abaweereza be bonna, ne bakaaba nnyo amaziga.
37
Abusaalomu n'addukira ewa kabaka w'e Gesuri, gwe bayita Talumayi mutabani wa Ammihudi. Dawudi n'akungubagira mutabani we Amunooni buli lunaku.
38
Abusaalomu bwe yadduka n'agenda e Gesuri, yabeerayo okumala emyaka esatu.
39
Kabaka bwe yamala okukungubagira Amunooni, n'alumirwa mutabani we Abusaalomu.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
Recommended Reading
Commentary
2 Samuel Commentaries
→
Devotional
2 Samuel Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→