bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Samuel 5
2 Samuel 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 6 →
1
Awo ab'omu Bika bya Yisirayeli byonna ne bajja eri Dawudi mu Heburooni ne bamugamba nti: “Tuli baaluganda era ba musaayi gumu naawe.
2
Mu biro eby'edda Sawulo nga ye kabaka waffe, ggwe wakulemberanga Abayisirayeli mu ntabaalo. Mukama n'akugamba nti: ‘Ggwe onookulemberanga abantu bange Abayisirayeli, era ggwe onoobanga omufuzi wa Yisirayeli.’ ”
3
Awo abakulembeze ba Yisirayeli bonna ne bajja mu Heburooni eri kabaka. Dawudi n'akolerayo nabo endagaano mu maaso ga Mukama, ne bamufukako omuzigo, n'afuuka kabaka wa Yisirayeli.
4
Dawudi we yafuukira kabaka wa Yisirayeli, yali aweza emyaka amakumi asatu, n'afuga Yisirayeli emyaka amakumi ana.
5
Mu Heburooni n'afugirayo Yuda emyaka musanvu n'emyezi mukaaga, ate mu Yerusaalemu n'afugirayo Yisirayeli yonna ne Yuda emyaka amakumi asatu mu esatu.
6
Awo kabaka ne basajja be ne bagenda e Yerusaalemu okulwanyisa Abayebusi abatuuze baayo. Abayebusi abo ne balowooza nti Dawudi tayinza kuwangula n'ayingira kibuga ekyo. Kyebaava bamugamba nti: “Toliyingira mu kibuga kino kubanga ne bamuzibe n'abalema basobola okukuziyiza.”
7
Kyokka Dawudi n'awamba ekigo ky'e Siyooni, ne kifuuka Ekibuga kya Dawudi.
8
Ku lunaku olwo Dawudi n'agamba basajja be nti: “Buli ayagala okutta Abayebusi, ayambukire mu mukutu gw'amazzi atte bamuzibe n'abalema abo Dawudi b'akyawa.” Kyebava bagamba nti: “Bamuzibe n'abalema tebayinza kuyingira mu nnyumba ya Mukama.”
9
Dawudi bwe yamala okuwamba ekigo, n'akibeeramu era n'akituuma erinnya: “Ekibuga kya Dawudi.” N'azimba mu kifo ekyo okwetoolooza, ng'atandikira mu kifo ekyajjuzibwamu ettaka olw'okwerinda, ekiyitibwa Millo, n'okudda munda.
10
Dawudi ne yeeyongeranga okuba omukulu, kubanga Mukama Katonda Nnannyinimagye yali wamu naye.
11
Awo Hiraamu kabaka w'e Tiiro n'atumira Dawudi ababaka, n'amuweereza emiti egy'emivule, n'ababazzi, n'abazimbi b'amayinja bazimbire Dawudi olubiri.
12
Awo Dawudi n'ategeera nga Mukama amunywezezza okuba kabaka wa Yisirayeli, era ng'agulumizizza obwakabaka bwe ku lw'abantu be Abayisirayeli.
13
Awo Dawudi bwe yamala okuva mu Heburooni n'abeerera ddala mu Yerusaalemu, ne yeeyongera okuwasa abakazi. N'azaala abaana abalala bangi ab'obulenzi n'ab'obuwala.
14
Gano ge mannya g'abaana, be yazaalira mu Yerusaalemu: Sammuwa, ne Sobabu, ne Natani, ne Solomooni, ne
15
Yibari, ne Elisuuwa, ne Nefegi, ne Yafiya
16
ne Elisaama ne Eliyaada ne Elifeleti.
17
Abafilistiya bwe baawulira nti Dawudi afukiddwako omuzigo abeere kabaka wa Yisirayeli, bonna ne bagenda bamuyigge. Dawudi bwe yakiwulira, ne yeekweka mu mpuku.
18
Abafilistiya ne batuuka mu kiwonvu ky'e Refayiimu ne bakibuna kyonna.
19
Awo Dawudi n'abuuza Mukama nti: “Ŋŋende nnumbe Abafilistiya? Ononsobozesa okubawangula?” Mukama n'addamu nti: “Genda. Ddala nja kukusobozesa okubawangula.”
20
Awo Dawudi n'agenda e Baali-Peraziimu n'awangulirayo Abafilistiya, n'agamba nti: “Mukama amenye abalabe bange, ng'omujjuzo gw'amazzi bwe gumenya embibiro.” Ekifo ekyo kyekiva kiyitibwa Baali-Peraziimu.
21
Abafilistiya bwe badduka, baalekayo ebifaananyi byabwe ebisinzibwa, Dawudi ne basajja be ne babitwala.
22
Awo Abafilistiya ne bakomawo nate ne babuna mu kiwonvu kye Refayiimu.
23
Era Dawudi n'addamu okubuuza Mukama. Mukama n'amuddamu nti: “Tobalumbira wano. Weetooloole odde emabega waabwe, obalumbe ng'osinziira mu maaso g'emitugunda.
24
Awo bw'onoowulira enswagiro ku masanso g'emitugunda, n'olyoka obalumba kubanga nze Mukama nnaaba nkukulembeddemu okuwangula eggye ly'Abafilistiya.”
25
Dawudi n'akola nga Mukama bwe yamulagira, n'agenda ng'atta Abafilistiya okuva e Geba okutuuka e Gezeri.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24