bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Samuel 9
2 Samuel 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 10 →
1
Awo Dawudi n'abuuza nti: “Mu nnyumba ya Sawulo waliwo omuntu eyasigalawo, mmukolere eby'ekisa ku lwa Yonataani?”
2
Waaliwo omuweereza ow'omu nnyumba ya Sawulo erinnya lye Ziba, ne bamuyita okugenda eri Dawudi. Kabaka n'amubuuza nti: “Ggwe Ziba?” N'amuddamu nti: “Nze wuuyo omuweereza wo.”
3
Kabaka n'amubuuza nti: “Waliwo omuntu eyasigalawo mu nnyumba ya Sawulo, mmulage ekisa kya Katonda?” Ziba n'addamu kabaka nti: “Wakyaliyo mutabani wa Yonataani eyalemala amagulu.”
4
Kabaka n'amubuuza nti: “Ali ludda wa?” Ziba n'amuddamu nti: “Ali mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeeli ow'omu Lodebari.”
5
Awo kabaka Dawudi n'atumya Mefiboseti, ne bamuleeta nga bamuggya mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeeli ow'e Lodebari.
6
Awo Mefiboseti mutabani wa Yonataani era muzzukulu wa Sawulo, n'ajja eri Dawudi, n'avuunama ku ttaka ne yeeyanza. Dawudi n'amugamba nti:
7
“Totya. Nja kukukolera eby'ekisa ku lwa kitaawo Yonataani. Ndikuddiza ettaka lyonna erya jjajjaawo Sawulo, era onooliiranga wamu nange ku lujjuliro.”
8
Mefiboseti ne yeeyanza, n'agamba nti: “Nze ani omuweereza wo, nze ani gw'olowoozaako, nze ali ng'embwa efudde!”
9
Awo kabaka n'ayita Ziba omuweereza wa Sawulo, n'amugamba nti: “Ebintu byonna ebyali ebya Sawulo n'ab'omu nnyumba ye, mbiwadde muzzukulu wa mukama wo oyo Sawulo.
10
Ggwe, ne batabani bo, n'abaweereza bo, munaalimiranga ab'omu nnyumba ya mukama wo oyo ennimiro, mubatwalirenga bye mukungudde, bafune bye balya. Kyokka ye Mefiboseti yennyini, anaaliiranga wamu nange ku lujjuliro.” Ziba yalina batabani be kkumi na bataano, n'abaweereza amakumi abiri.
11
Ziba n'agamba kabaka nti: “Mukama wange nja kukola byonna by'ondagidde.” Awo kabaka n'agamba nti: “Mefiboseti, anaaliiranga ku lujjuliro lwange, ng'omu ku batabani ba kabaka.”
12
Mefiboseti yalina mutabani we omuto erinnya lye Mikka. Era abo bonna abaabeeranga mu nnyumba ya Ziba, ne bafuuka baweereza ba Mefiboseti.
13
Awo Mefiboseti eyali alwadde amagulu gombi, n'abeera mu Yerusaalemu, n'aliiranga ku lujjuliro lwa kabaka.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24