bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Samuel 11
2 Samuel 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 12 →
1
Mu biseera eby'omwaka bakabaka mwe batabaalira, Dawudi n'asindika Yowaabu n'abaweereza be, n'Abayisirayeli bonna, ne bazikiriza Abammoni era ne bazingiza ekibuga Rabba. Kyokka ye Dawudi n'asigala mu Yerusaalemu.
2
Lwali lumu olwegguloggulo, kabaka Dawudi n'agolokoka n'ava ku kitanda kye, n'atambulatambula waggulu ku nnyumba ye. Ng'ali eyo, n'alengera omukazi ng'anaaba. Omukazi yali mulungi nnyo.
3
Awo Dawudi n'atuma ababaka babuulirize ebimufaako. Ne wabaawo amugamba nti: “Oyo ye Batuseba, muwala wa Eliyaamu, era muka Wuriya Omuhiiti.”
4
Awo Dawudi n'atuma ababaka bamunone, omukazi n'ajja gy'ali ne yeebaka naye. Omukazi yali yaakava mu nsonga z'abakyala eza buli mwezi. Awo omukazi n'addayo ewuwe.
5
Omukazi n'aba olubuto n'atuma, babuulire Dawudi, ng'agamba nti: “Ndi lubuto.”
6
Awo Dawudi n'atumira Yowaabu nti: “Mpeereza Wuriya Omuhiiti.” Yowaabu n'aweereza Wuriya eri Dawudi.
7
Awo Wuriya bwe yatuuka eri Dawudi, Dawudi n'amubuuza nga Yowaabu n'abantu be bwe bali, era n'olutalo nga bwe luli.
8
Awo Dawudi n'agamba Wuriya nti: “Kale genda ewuwo, owummuleko.” Wuriya n'ava mu lubiri lwa kabaka. Kabaka n'amugobereza ekirabo.
9
Kyokka Wuriya ewuwe teyagendayo, yasula ku mulyango gwa lubiri wamu n'abaweereza bonna aba mukama we.
10
Awo Dawudi bwe baamubuulira nti: “Wuriya ewuwe teyagenzeeyo, ye kwe kubuuza Wuriya nti: ‘Tewavudde mu lugendo? Lwaki tewazzeeyo wuwo?’ ”
11
Wuriya n'agamba Dawudi nti: “Essanduuko ey'Endagaano, n'abasajja aba Yisirayeli n'aba Yuda basula mu nsiisira, ne mukama wange Yowaabu n'abaweereza be basiisidde ku ttale mu bbanga. Kale nnyinza ntya nze okugenda ewange ne ndya, ne nnywa, ne neebaka ne mukazi wange? Ndayidde ggwe, n'obulamu bwo, siyinza kukola kintu ekyo.”
12
Awo Dawudi n'agamba Wuriya nti: “Yosa olwaleero enkya nja kukusindika oddeyo.” Wuriya n'abeera mu Yerusaalemu olunaku olwo n'olwaddirira.
13
Awo Dawudi n'amuyita n'alya era n'anywa naye, n'amutamiiza. Kyokka n'ekiro ekyo Wuriya ewuwe teyagendayo. Yasula ku kitanda kye wamu n'abaweereza ba mukama we.
14
Enkeera mu makya Dawudi n'awandiikira Yowaabu ebbaluwa, n'agiwa Wuriya agitwale.
15
N'awandiika mu bbaluwa eyo bw'ati: “Teeka Wuriya ku mwanjo awali okulwana okw'amaanyi ennyo, omwabulire, bamufumite, afe.”
16
Awo Yowaabu bwe yekkaanya ekibuga, n'ateeka Wuriya mu kifo we yamanya nti abalabe we basinga amaanyi.
17
Awo abasajja ab'omu kibuga ne bafuluma ne balwanyisa Yowaabu. Ne batta abamu ku baweereza ba Dawudi, Wuriya Omuhiiti naye ne bamuttiramu.
18
Awo Yowaabu n'atuma, n'abuulira Dawudi amawulire gonna agafa ku lutalo,
19
n'akuutira gwe yatuma ng'agamba nti: “Bw'onoomala okubuulira kabaka amawulire gonna agafa ku lutalo,
20
kabaka n'asunguwala, n'akubuuza nti: ‘Lwaki mwasemberera nnyo ekibuga okulwana? Temwamanya nga bajja kulasa nga basinziira ku bisenge?
21
Ani eyatta Abimeleki mutabani wa Yerubbesiti? Omukazi teyamusuulako olubengo ng'asinziira ku kisenge n'afiira e Tebezi? Lwaki mwasemberera okumpi n'ekisenge?’ Onoddamu nti: ‘N'omuweereza wo Wuriya Omuhiiti naye afudde.’ ”
22
Omubaka n'agenda. N'ajja n'ategeeza Dawudi byonna Yowaabu bye yamutuma.
23
Omubaka n'agamba Dawudi nti: “Abalabe baatusinza amaanyi ne bafuluma ekibuga okutulwanyisa mu ttale, naye ne tubazzaayo okutuuka ku mulyango gw'ekibuga.
24
Abasajja ab'obusaale ne balasa abaweereza bo, nga basinziira ku kisenge, era abamu ku baweereza bo, ayi kabaka, bafudde. N'omuweereza wo Wuriya Omuhiiti naye afudde.”
25
Awo Dawudi n'agamba omubaka nti: “Bw'oti bw'oba ogamba Yowaabu nti: ‘Ekyo kireme kukuterebula, kubanga tewali ayinza kumanya oyo anaafiira mu lutalo. Kale nno weeyongere okulumba ekibuga n'amaanyi, okiwambe.’ Era naawe mugumye omwoyo.”
26
Awo muka Wuriya bwe yawulira nga bba afudde, n'amukungubagira.
27
Ekiseera eky'okukungubaga bwe kyaggwaako, Dawudi n'amutumya n'amuleeta mu nnyumba ye, n'aba mukazi we era n'amuzaalira omwana ow'obulenzi. Kyokka ekintu ekyo Dawudi kye yakola, ne kinyiiza Mukama.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24