bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Samuel 20
2 Samuel 20
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 21 →
1
Waaliwo omusajja ataliimu nsa, erinnya lye Seeba, mutabani wa Bikuri ow'omu Kika kya Benyamiini. Awo Seeba n'afuuwa ekkondeere, n'agamba nti: “Ffe tetulina mugabo mu Dawudi, wadde obusika mu mutabani wa Yesse. Abayisirayeli, buli muntu adde ewaabwe.”
2
Awo Abayisirayeli bonna ne baabulira Dawudi, ne bagoberera Seeba mutabani wa Bikuri. Kyokka ab'omu Kika kya Yuda ne banywerera ku kabaka waabwe, ne bagenda naye okuva ku Yorudaani okutuuka mu Yerusaalemu.
3
Awo Dawudi bwe yatuuka mu lubiri lwe e Yerusaalemu, abakazi ekkumi, abazaana be, be yali alese okululabirira n'abaggyayo n'abateeka mu nnyumba ey'okubakuumiramu. N'abawanga bye beetaaga, wabula n'atabayisanga nga bakazi be. Ne baggalirwa obulamu bwabwe bwonna, nga bali nga bannamwandu.
4
Awo kabaka n'agamba Amasa nti: “Mpitira ab'omu Kika kya Yuda, bakuŋŋaane mu nnaku ssatu, era naawe obeerewo wano.”
5
Amasa n'agenda okuyita ab'omu Kika kya Yuda, wabula n'asussa mu nnaku ze baamuwa.
6
Awo Dawudi n'agamba Abisaayi nti: “Seeba mutabani wa Bikuri ajja kutukolako akabi n'okusinga Abusaalomu. Kale twala abaweereza ba mukama wo, omuwondere, sikulwa ng'asanga ebibuga ebiriko ebigo ebigumu, n'ayingira omwo n'atubulako.”
7
Awo abasajja ba Yowaabu, Abakereti n'Abapeleti, n'abasajja abalala bonna ab'amaanyi, ne bava mu Yerusaalemu ne bagenda ne Abisaayi okuwondera Seeba mutabani wa Bikuri.
8
Bwe baatuuka ku jjinja eddene eriri e Gibiyoni, Amasa n'ajja okubasisinkana. Yowaabu yali ayambadde ebyambalo bye eby'entalo ng'asibye mu kiwato kye olukoba, nga kuliko n'ekitala mu kiraato kyakyo. Bwe yavaayo n'ajja, ne kisowokamu ne kigwa.
9
Yowaabu n'agamba Amasa nti: “Oli mirembe, muganda wange?” Yowaabu n'akwata Amasa ku kirevu n'omukono gwe ogwa ddyo okumunywegera.
10
Naye Amasa n'atassaayo mwoyo ku kitala, Yowaabu kye yali akutte. Awo Yowaabu n'akifumisa Amasa mu lubuto, ebyenda ne biyiika wansi, n'atamufumita gwakubiri. Amasa n'afa. Awo Yowaabu ne muganda we Abisaayi ne bawondera Seeba mutabani wa Bikuri.
11
Awo omu ku basajja ba Yowaabu n'ayimirira kumpi ne Amasa n'agamba nti: “Ayagala Yowaabu, era n'oyo ali ku ludda lwa Dawudi, agoberere Yowaabu!”
12
Amasa yali agalamidde nga yeekulukuunya mu musaayi gwe wakati mu luguudo. Buli eyayitangawo n'amulaba, ng'ayimirira. Omusajja wa Yowaabu bwe yalaba ng'abantu bonna bayimirira, n'aggya Amasa mu luguudo, n'amutwala mu nsiko, n'amubikkako ekyambalo.
13
Amasa bwe yamala okuggyibwa mu luguudo, abantu bonna ne bagenda ne Yowaabu okuwondera Seeba mutabani wa Bikuri.
14
Awo Seeba n'ayita mu bika byonna ebya Yisirayeli, n'atuuka mu Abeli ne mu Betimaaka. Awo Abaaberi bonna ne bakuŋŋaana, nabo ne bamugoberera.
15
Abasajja bonna abaali ne Yowaabu ne bajja ne bamuzingiza mu Abeli eky'e Betimaaka, ne batuuma entuumu y'ettaka ne bagyenkanya n'ekigo obugulumivu okukyetooloola. Ne baggunda ekisenge kigwe wansi.
16
Awo omukazi omugezi n'asinziira mu kibuga, n'akoowoola nti: “Muwulire, muwulire! Mbeegayiridde muŋŋambire Yowaabu asembere wano njogere naye.”
17
Awo Yowaabu n'amusemberera. Omukazi n'abuuza nti: “Ggwe Yowaabu?” Yowaabu n'amuddamu nti: “Nze wuuyo.” Omukazi n'amugamba nti: “Nkusaba owulirize bye nkugamba nze omuweereza wo.” Yowaabu n'amuddamu nti: “Mpuliriza.”
18
Awo omukazi n'agamba nti: “Ab'edda baagambanga nti: ‘Tugende twebuuze mu Abeli.’ Era baamalirangayo ebibasobedde.
19
Nze ndi omu ku abo abaagala emirembe era abeesigwa mu Yisirayeli. Oyagala okuzikiriza ekibuga ekizadde mu Yisirayeli? Lwaki oyagala okusaanyaawo abantu ba Mukama?”
20
Awo Yowaabu n'addamu nti: “Kikafuuwe, kikafuuwe, nze okusaanyaawo oba okuzikiriza.
21
Ekyo si bwe kiri wabula waliwo omusajja erinnya lye Seeba, mutabani wa Bikuri, ow'omu nsi ey'ensozi eya Efurayimu ajeemedde Kabaka Dawudi. Kale mumuweeyo oyo yekka, olwo nja kuleka ekibuga.” Omukazi n'agamba Yowaabu nti: “Tujja kukukasukira omutwe gwe nga tugubuusa ekisenge.”
22
Awo omukazi n'agenda eri abantu bonna n'abawa amagezi. Ne batemako omutwe gwa Seeba mutabani wa Bikuri, ne bagukasuka eri Yowaabu. Awo Yowaabu n'afuuwa ekkondeere, basajja be ne baamuka ekibuga, buli omu n'adda ewuwe. Ne Yowaabu n'addayo e Yerusaalemu eri kabaka.
23
Awo Yowaabu ye yali omuduumizi w'eggye lyonna erya Yisirayeli, Benaaya mutabani wa Yehoyaada ye yali omuduumizi w'abakuumi ba Dawudi;
24
Adolaamu ye yali omusolooza w'omusolo, Yehosafaati mutabani wa Ahiluudi ye yawandiikanga ebigwawo.
25
Seva ye yali omuwandiisi, ne Zaddooki ne Abiyataari be baali bakabona.
26
Yira Omuyayiri naye yali kabona wa Dawudi.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
Recommended Reading
Commentary
2 Samuel Commentaries
→
Devotional
2 Samuel Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→