bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Samuel 18
2 Samuel 18
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 19 →
1
Awo Dawudi n'abala abantu abaali naye n'abateekako abakulira olukumi lukumi, n'abakulira ekikumi kikumi.
2
Dawudi n'agaba eggye nga liri mu bibinja bisatu ebyenkanankana. Ekibinja ekimu ne kikulirwa Yowaabu, ekirala ne kikulirwa Abisaayi mutabani wa Zeruyiya, era muganda wa Yowaabu, n'ekirala ne kikulirwa Yittayi Omugitti. Kabaka n'agamba abantu nti: “Nange kennyini nja kugenda wamu nammwe.”
3
Naye abantu ne bagamba nti: “Tojja kugenda, kubanga ffe bwe tunadduka, abalabe tebajja kussaayo mwoyo ku ffe. Wadde ku bantu baffe ne bwe kunaafaako ekimu ekyokubiri, era abalabe tebajja kussaayo mwoyo ku ffe. Naye ggwe wenkana abantu omutwalo mulamba, mu ffe. N'olwekyo kirungi osigale mu kibuga mw'oba osinziira okutuweereza ab'okutudduukirira.”
4
Awo kabaka n'abagamba nti: “Kye musiima kye nnaakola.” N'ayimirira ku mabbali g'omulyango, abantu bonna ne bafuluma nga bali mu bibinja eby'ekikumi kikumi, n'olukumi lukumi.
5
Kabaka n'alagira Yowaabu ne Abisaayi ne Yittayi ng'agamba nti: “Temukola kabi konna ku mulenzi oyo Abusaalomu, mumunkwatira bulungi!” Era abantu bonna ne bawulira nga kabaka alagira abakulu b'eggye bonna, ebikwata ku Abusaalomu.
6
Awo ab'eggye lya Dawudi ne bagenda okulwanyisa Abayisirayeli. Olutalo ne lulwanirwa mu kibira kya Efurayimu.
7
Awo Abayisirayeli ne bawangulirwa eyo abaweereza ba Dawudi. Ku lunaku olwo ne babattamu abantu bangi abaawera emitwalo ebiri.
8
Olutalo ne lubuna ekitundu ekyo kyonna, era abantu abaafiira mu kibira ku lunaku olwo baali bangi okusinga abattibwa mu lutalo.
9
Awo Abusaalomu yali yeebagadde ennyumbu, n'asisinkana abaweereza ba Dawudi nga tategedde. Ennyumbu n'eyita wansi w'amatabi amaziyivu ag'omuvule omunene. Awo omutwe gwe ne guwagamira mu matabi g'omuti ogwo, n'alengejjera mu bbanga, ennyumbu gye yali yeebagadde n'esigala ng'egenda.
10
Awo omu eyalaba, n'abuulira Yowaabu n'amugamba nti: “Ndabye Abusaalomu ng'aleebeetera mu muvule.”
11
Yowaabu n'agamba omusajja eyamubuulira, nti: “Kiki? Omulabye? Kale lwaki tomuttiddeewo n'agwa wansi? Nandibadde nkuwa ebitundu kkumi ebya ffeeza, n'olukoba.”
12
Omusajja n'agamba Yowaabu nti: “Ne bwe nandikutte ku bitundu olukumi ebya ffeeza, sandigolodde mukono gwange kukola kabi ku mutabani wa kabaka, kubanga twawulira nga kabaka akulagira ggwe, ne Abisaayi, ne Yittayi, nti: ‘Mwegendereze, waleme kubaawo akola akabi ku mulenzi oyo Abusaalomu!’
13
Era singa neetulinkirizza ne mmutta, kabaka yandikitegedde, kubanga tewali kimukisibwa, era naawe wennyini wandinneefuulidde.”
14
Awo Yowaabu n'agamba nti: “Sijja kudda awo kumala biseera naawe.” N'akwata obusaale busatu n'abusindirira Abusaalomu mu mutima ng'akyali mulamu, ng'alengejjera mu muvule.
15
Awo abalenzi kkumi abakwasi b'ebyokulwanyisa bya Yowaabu, ne beebungulula Abusaalomu, ne bamukuba, ne bamutta.
16
Yowaabu n'afuuwa eŋŋombe, abantu ne balekera awo okuwondera Abayisirayeli, ne bakomawo, kubanga Yowaabu yabayimiriza.
17
Ne batwala Abusaalomu ne bamusuula mu kinnya ekinene ekyali mu kibira, ne bamutuumako entuumu ennene ennyo ey'amayinja. Awo Abayisirayeli bonna ne badduka buli omu ng'adda mu maka ge.
18
Abusaalomu bwe yali ng'akyali mulamu, yali addidde empagi ng'agyesimbidde mu kiwonvu kya kabaka, kubanga yagamba nti: “Sirina mwana wa bulenzi kwe balijjuukirira erinnya lyange.” Empagi eyo n'agibbulamu erinnya lye, era eyitibwa Kijjukizo kya Abusaalomu n'okutuusa kati.
19
Awo Ahinaazi mutabani wa Zaddooki n'agamba Yowaabu nti: “Ka nziruke ŋŋende ntegeeze kabaka, nga Mukama bw'amuwonyezza abalabe be.”
20
Naye Yowaabu n'amugamba nti: “Totwala mawulire ago olwaleero, oligatwala olulala. Naye olwaleero tojja kutwala mawulire, kubanga mutabani wa kabaka afudde.”
21
Awo Yowaabu n'agamba Omukuusi nti: “Genda obuulire kabaka by'olabye.” Omukuusi bwe yamala okukutama mu maaso ga Yowaabu, n'adduka.
22
Awo Ahimaazi mutabani wa Zaddooki n'addamu okugamba Yowaabu nti: “Ka kibe ki oba ki, nange ka nziruke ngoberere Omukuusi.” Yowaabu n'agamba nti: “Mutabani, oyagalira ki okudduka, nga toofune mpeera olw'amawulire ago?”
23
Yowaabu n'amugamba nti: “Kale dduka.” Ahimaazi n'adduka ng'akutte ekkubo ery'omu lusenyi, n'ayisa Omukuusi.
24
Dawudi yali atudde wansi w'ekisasi ekiri wakati w'emiryango ebiri. Omukuumi n'alinnya waggulu ku kisenge, mu kafo awalengererwa ak'oku wankaaki, n'ayimusa amaaso ge, n'alengera omusajja ajja adduka ng'ali bwomu.
25
Omukuumi n'ayogera n'eddoboozi ery'omwanguka, n'abuulira kabaka. Kabaka n'agamba nti: “Bw'aba ng'ali bwomu, alina amawulire g'aleese amalungi.” Omusajja n'ajja ku misinde, n'asembera kumpi.
26
Awo omukuumi n'alaba omusajja omulala, naye ng'ajja adduka. Omukuumi n'akoowoola omuggazi w'omulyango n'amugamba nti: “Laba waliyo n'omusajja omulala ajja adduka ng'ali bwomu!” Kabaka n'addamu nti: “Ndowooza n'oyo amawulire g'aleese malungi.”
27
Omukuumi n'agamba nti: “Ndaba ng'omusajja akulembedde adduka nga Ahimaazi, mutabani wa Zaddooki.” Kabaka n'agamba nti: “Oyo musajja mulungi, n'amawulire g'aleese malungi.”
28
Awo Ahimaazi n'ayogera n'eddoboozi ery'omwanguka, n'agamba kabaka nti: “Mirembe!” N'avuunamira kabaka ng'omutwe gwe gutuukira ddala ku ttaka, n'agamba nti: “Mukama Katonda wo atenderezebwe, azikirizza abasajja ababadde bakujeemedde, ayi mukama wange kabaka.”
29
Awo kabaka n'abuuza nti: “Omuvubuka Abusaalomu ali bulungi?” Ahimaazi n'addamu nti: “Yowaabu bwe yantumye, nze omuweereza wo, ayi kabaka, nalabye abantu nga bali mu kabuguutano, naye saategedde kyabaddewo.”
30
Awo kabaka n'amugamba nti: “Dda ku mabbali, oyimirire awo.” N'adda ku mabbali, n'ayimirira.
31
Awo n'Omukuusi n'atuuka n'agamba nti: “Mukama wange kabaka, nkuleetedde amawulire. Mukama awooledde eggwanga olwaleero ku abo bonna abaakujeemera.”
32
Kabaka n'abuuza Omukuusi nti: “Omuvubuka Abusaalomu ali bulungi?” Omukuusi n'addamu nti: “Ayi mukama wange, kabaka, abalabe bo, n'abo bonna abakusitukiramu okukukola akabi, babe ng'omuvubuka oyo!”
33
Awo kabaka n'anakuwala nnyo, n'alinnya waggulu mu kisenge ekiri waggulu ku wankaaki, n'akaaba amaziga, era n'agenda ng'akuba ebiwoobe nti: “Woowe, omwana wange Abusaalomu, omwana wange Abusaalomu, omwana wange Abusaalomu! Kale singa nze nfudde mu kifo kyo! Mwana wange Abusaalomu, mwana wange!”
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24