bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Samuel 19
2 Samuel 19
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 20 →
1
Ne babuulira Yowaabu nti: “Kabaka ali eri akaaba amaziga ng'akungubagira Abusaalomu.”
2
Ku lunaku olwo abantu bonna abaali basanyuka olw'obuwanguzi ne bakungubaga, kubanga baawulira ku olwo nti kabaka akungubagira mutabani we.
3
Ku lunaku olwo abantu ne badda mu kibuga nga bebbirira bwebbirizi, ng'abantu abebbirira olw'ensonyi nga badduse okuva mu lutalo.
4
Kabaka ne yeebikka ku maaso n'atema omulanga ng'agamba nti: “Woowe, mwana wange Abusaalomu! Woowe, Abusaalomu, mwana wange, mutabani wange!”
5
Awo Yowaabu n'ayingira mu lubiri lwa kabaka, n'agamba kabaka nti: “Olwaleero abaweereza bo abawonyezza obulamu bwo n'obwa batabani bo, n'obwa bawala bo, n'obwa bakazi bo n'obw'abazaana bo, obamazeemu amaanyi,
6
kubanga oyagala abakukyawa, n'okyawa abo abakwagala. Olwaleero olagidde ddala lwatu nti abakulu mu ggye lyo n'abaweereza bo, tobalabamu mugaso. Olwaleero ntegedde nti singa Abusaalomu abadde mulamu, ffe ffenna nga tufudde, wandisanyuse nnyo.
7
Kale nno situka ogende oyogere bulungi n'abaweereza bo, kubanga ndayira Mukama nga bw'otoogendeyo, tewaabe n'omu asigala naawe ekiro kino. Ekyo kijja kukuviiramu akabi akasinga ke wali olabye okuva mu buvubuka bwo n'okutuusa kati.”
8
Awo kabaka n'asituka n'agenda atuula mu mulyango. Ne babuulira abantu nti: “Kabaka wuuli atudde mu mulyango.” Abantu bonna ne bajja awali kabaka. Mu kiseera ekyo Abayisirayeli baali badduse nga buli omu azzeeyo ewuwe.
9
Awo abantu bonna ne bawakana mu Bika bya Yisirayeli byonna nga bagamba nti: “Kabaka yatuwonya abalabe baffe, n'atuwonya Abafilistiya. Kale kaakano adduse Abusaalomu n'ava mu nsi ye.
10
Ne Abusaalomu gwe twafukako omuzigo okutufuga, afiiridde mu lutalo. Kale temuliiko kye mwogera ku kya kukomyawo kabaka?”
11
Awo kabaka Dawudi n'atumira Zaddooki ne Abiyataari bakabona ng'agamba nti: Mugambe abakulembeze mu Kika kya Yuda nti: “Lwaki mmwe munaasembayo okuwagira kabaka okudda mu lubiri lwe? Ebigambo Abayisirayeli bonna bye bagambye, bimaze okutuuka ku kabaka mu nnyumba ye.
12
Mmwe baganda bange ab'omusaayi gwange ddala. Kale lwaki mmwe munaasembayo okuwagira kabaka okudda mu lubiri lwe?”
13
Era mugambe Amasa nti: “Ggwe ow'omusaayi gwange ddala, bw'otoobe mukulu wa ggye lyange mu kifo kya Yowaabu okuva kati, Katonda ankube anzite.”
14
Bw'atyo kabaka n'agonza emitima gy'ab'omu Kika kya Yuda bonna, ne bassa kimu, ne bamutumira nga bagamba nti: “Komawo ggwe, n'abaweereza bo bonna.”
15
Awo kabaka n'akomawo, n'atuuka ku Mugga Yorudaani. Ab'omu Kika kya Yuda ne bajja e Gilugaali, nga bagenda okusisinkana kabaka n'okumusomosa Yorudaani.
16
Awo Simeeyi mutabani wa Gera Omubenyamiini ow'e Bahurimu, n'ayanguwa n'aserengeta wamu n'ab'omu Kika kya Yuda okusisinkana kabaka Dawudi.
17
N'ajja n'abasajja lukumi Ababenyamiini. Ne Ziba omuweereza w'omu nnyumba ya Sawulo ne batabani be kkumi na bataano, n'abaweereza be amakumi abiri, ne baserengeta ku Yorudaani nga kabaka abalaba.
18
Ne basomoka omugga okuwerekera ab'omu nnyumba ya kabaka, n'okukola buli ky'asiima. Kabaka bwe yali ng'agenda okusomoka Yorudaani, Simeeyi mutabani wa Gera n'avuunama mu maaso ge.
19
N'amugamba nti: “Mukama wange, oleme kunvunaana musango, wadde okujjukira ekyo ekitasaana nze omuweereza wo kye nakola, mukama wange kabaka lwe wava mu Yerusaalemu. Era ayi kabaka, oleme kukisiba ku mwoyo,
20
kubanga nze omuweereza wo, mmanyi nga nayonoona. Era olwaleero kyenvudde nzija, nga nze nsoose ab'ennyumba ya Yosefu bonna okuserengeta okusisinkana mukama wange kabaka.”
21
Awo Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'addamu nti: “Simeeyi tasaana kuttibwa olw'ekyo? Yavuma oyo Mukama gwe yafukako omuzigo.”
22
Dawudi n'agamba nti: “Mumbeeredde ki mmwe batabani ba Zeruyiya? Mwagala kundeetako bulabe olwaleero? Mu Yisirayeli tewali anattibwa olwaleero, kubanga mmanyi ng'olwaleero nze kabaka mu Yisirayeli.”
23
Awo kabaka n'agamba Simeeyi nti: “Tojja kufa.” Kabaka n'amulayirira.
24
Awo Mefiboseti muzzukulu wa Sawulo n'aserengeta okusisinkana kabaka. Yali tanaabanga bigere, newaakubadde okumwa ebirevu, wadde okwoza engoye ze okuva ku lunaku kabaka lwe yagenderako, okutuusa ku lunaku lwe yakomawo emirembe.
25
Awo Mefiboseti bwe yatuuka e Yerusaalemu okusisinkana kabaka, kabaka n'amugamba nti: “Mefiboseti, lwaki tewagenda nange?”
26
N'addamu nti: “Mukama wange, ayi kabaka, nga nze omuweereza wo bwe ndi omulema, nagamba nti: ‘Nnaateeka amatandiiko ku ndogoyi yange ngyebagale ŋŋende ne kabaka.’ Kyokka omuweereza wange n'annimba.
27
Era yampaayiriza gy'oli, nze omuddu wo, ayi mukama wange kabaka. Naye mukama wange kabaka, ali nga malayika wa Katonda. Kale kola ekyo ky'olaba nga kirungi.
28
Ab'omu nnyumba ya kitange baali ba kuttirwa mu maaso go, mukama wange kabaka. Naye n'ontuuza nze omuweereza wo, mu abo abaliira ku lujjuliro lwo. Kale nnina nsonga ki kwe nsinziira okukusaba ekisingawo?”
29
Awo kabaka n'amugamba nti: “Ne bw'otooyongere kwogera bingi bwe bityo, nze ŋŋambye nti ettaka muligabane ggwe ne Ziba.”
30
Mefiboseti n'agamba kabaka nti: “Ye k'abitwale byonna, kasita ggwe mukama wange kabaka okomyewo mirembe mu lubiri lwo.”
31
Awo Baruzillayi Omugileyaadi n'ava e Rogeliimu n'aserengeta ku mugga Yorudaani, n'agusomoka ng'ali wamu ne kabaka gwe yawerekera okumutuusa emitala.
32
Baruzillayi oyo yali musajja mukadde nnyo, ng'aweza emyaka kinaana. Yali mugagga nnyo era ye yawanga kabaka ebyokulya ebbanga lyonna kabaka lye yamala e Mahanayimu.
33
Awo kabaka n'agamba Baruzillayi nti: “Jjangu tugende ffenna, tuliirenga wamu e Yerusaalemu.”
34
Baruzillayi n'agamba kabaka nti: “Emyaka egy'obulamu nkyasigazizzaayo emeka, ndyoke ŋŋende naawe kabaka e Yerusaalemu?
35
Kaakano mpeza emyaka kinaana. Nnyinza okwawula ekisanyusa n'ekitasanyusa? Nze omuweereza wo, nnyinza okuwoomerwa bye ndya oba bye nnywa? Nkyayinza okuwuliriza amaloboozi g'abasajja n'abakazi abayimba? Kale mukama wange kabaka, lwaki nze omuweereza wo, nnyongera ku buzito bw'olina?
36
Nze omuweereza wo, mpozzi ka nkuwerekereko katono, nkusomose omugga Yorudaani. Naye ayi kabaka, ompeera ki empeera eyenkanidde awo?
37
Nkwegayiridde nzikiriza nze omuweereza wo, nzireyo, nfiire mu kibuga ky'ewaffe, awali entaana ya kitange n'eya mmange. Naye omuweereza wo Kimamu wuuno. Ono ye aba agenda naawe mukama wange kabaka, omukolere kyonna ky'osiima.”
38
Kabaka n'addamu nti: “Kimamu ajja kugenda nange, era ndimukolera kyonna ky'osiima. Era naawe kyonna ky'oyagala nkukolere, nja kukikukolera.”
39
Abantu bonna ne basomoka omugga Yorudaani, ne kabaka n'asomoka. Kabaka n'anywegera Baruzillayi, n'amusabira omukisa. Baruzillayi n'addayo mu maka ge.
40
Awo kabaka bwe yasomoka, n'agenda e Gilugaali, ng'awerekerwako abantu bonna ab'omu Kika kya Yuda n'ekitundu eky'Abayisirayeli. Era ne Kimamu yali naye.
41
Abayisirayeli bonna ne bajja eri kabaka ne bamugamba nti: “Baganda baffe ab'omu Kika kya Yuda, lwaki baakututte mu bubba, ne bakusomosa Yorudaani, ggwe n'ab'omu nnyumba yo, ne basajja bo bonna ayi kabaka Dawudi?”
42
Awo ab'omu Kika kya Yuda bonna ne baddamu Abayisirayeli nti: “Kubanga kabaka wa kika kyaffe. Kale lwaki ekyo kibasunguwaza? Tulina ekintu n'ekimu ekya kabaka kye tulidde? Oba waliwo ekirabo ky'atuwadde?”
43
Abayisirayeli nabo ne baddamu ab'omu Kika kya Yuda nti: “Obwannannyini bwe tulina ku kabaka bwa mirundi kkumi. Era Dawudi waffe, n'okusinga bw'ali owammwe. Kale lwaki mwatunyoomye? Si ffe twasooka okuleeta ekirowoozo eky'okukomyawo kabaka waffe?” Naye ab'omu Kika kya Yuda bye baayogera, ne bisinga amaanyi eby'Abayisirayeli.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24