bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Samuel 10
2 Samuel 10
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 11 →
1
Awo Kabaka Nahasi ow'Abammoni n'afa, mutabani we Hanuni n'amusikira ku bwakabaka.
2
Dawudi n'agamba nti “Ŋŋenda okulaga Hanuni mutabani wa Nahasi ekisa nga kitaawe bwe yandaga ekisa.” Dawudi n'amutumira abaweereza be okumukubagiza olw'okufiirwa kitaawe. Abaweereza ba Dawudi ne batuuka mu nsi y'Abammoni.
3
Kyokka abakulembeze b'omu Ammoni ne bagamba mukama waabwe Hanuni nti: “Olowooza Dawudi okukutumira abaweereza bakukubagize, ddala aba assaamu kitaawo kitiibwa? Dawudi asindise bakessi bakette ekibuga era bakiwambe.”
4
Hanuni n'akwata abaweereza ba Dawudi, buli omu n'amumwako ekirevu oludda olumu, n'abasalira ebyambalo byabwe wakati okukoma mu biwato byabwe, n'abasiibula.
5
Dawudi ekyo bwe baakimubuulira, n'abatumira abantu okubasisinkana, kubanga abasajja abo baali bakwatiddwa nnyo ensonyi okudda ewaabwe. Kabaka n'agamba nti: “Musigale e Yeriko okutuusa ebirevu byammwe nga bimaze okukula, mulyoke mukomewo.”
6
Awo Abammoni ne balaba nga beekyayisizza Dawudi. Kyebaava batumira Abasiriya ab'e Betirehobu n'e Zoba, okubagulirira babawe abaserikale emitwalo ebiri ab'ebigere, ne Kabaka Maaka aleete abasajja lukumi, n'ab'e Tobu baleete abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri.
7
Dawudi bwe yakiwulira, n'aweereza Yowaabu n'eggye lyonna ery'abasajja ab'amaanyi.
8
Abammoni ne bafuluma ne beeteekerateekera olutalo ku mulyango gw'ekibuga kyabwe ekikulu. Ate bo Abasiriya abaava e Zoba n'e Rehobu, n'abasajja abaava e Tobu n'aba Maaka, ne baba bokka mu kitundu eky'ettale.
9
Yowaabu bwe yalaba ng'abalabe bajja kumulumba nga bafuluma mu maaso n'emabega we, n'alonda mu basajja ba Yisirayeli abasinga obuzira, n'abategeka okwolekera Abasiriya.
10
Basajja be abaasigalawo n'abakwasa muganda we Abisaayi, n'abategeka okwolekera Abammoni.
11
Yowaabu n'agamba Abisaayi nti: “Abasiriya bwe banansinza amaanyi onojja n'onnyamba, naawe Abammoni bwe banaakusinza amaanyi, najja ne nkuyamba.
12
Ddamu amaanyi, tulwane masajja ku lw'abantu baffe n'ebibuga bya Katonda waffe. Mukama akole nga bw'asiima.”
13
Yowaabu ne basajja be ne basembera okulwanyisa Abassiriya, Abasiriya ne badduka.
14
Abammoni bwe baalaba ng'Abassiriya badduse, nabo ne badduka Abisaayi, ne bayingira mu kibuga. Awo Yowaabu n'alyoka ava ku kulwanyisa Abammoni, n'agenda e Yerusaalemu.
15
Abasiriya bwe baalaba nga bawanguddwa Abayisirayeli, ne beekuŋŋaanya wamu.
16
Kabaka Hadadezeri n'atumya era n'aggyayo Abasiriya abaali ebuvanjuba w'Omugga Ewufuraate, ne bajja mu Eramu nga bakulembeddwamu Sobaki omuduumizi w'eggye lya Hadadezeri.
17
Dawudi bwe baamubuulira, n'akuŋŋaanya eggye lya Yisirayeli lyonna, n'asomoka Omugga Yorudaani, n'ajja mu Eramu. Abasiriya ne beetegeka okwolekera Dawudi ne bamulwanyisa.
18
Abasiriya ne badduka Abayisirayeli. Dawudi ne basajja be ne batta Abasiriya lusanvu abavuzi b'amagaali, n'abasajja emitwalo ena abeebagala embalaasi, n'afumita Sobaki omuduumizi w'eggye lyabwe, n'afiira mu ddwaniro.
19
Bakabaka bonna abaaweerezanga Hadadezeri bwe baalaba nga bawanguddwa Abayisirayeli, ne bakola endagaano ey'emirembe n'Abayisirayeli, ne bafuuka baweereza baabwe. Awo Abasiriya ne batya okuyamba Abammoni omulundi omulala.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24