bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Samuel 15
2 Samuel 15
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 16 →
1
Ebyo bwe byaggwa, Abusaalomu ne yeetegekera ekigaali n'embalaasi, n'abasajja amakumi ataano abamukuuma.
2
Abusaalomu n'azuukukanga mu makya n'ayimiriranga ku kkubo awali omulyango oguyingira mu kibuga. Awo omuntu bwe yajjanga ng'alina ensonga gy'ayagala kabaka amumalire, Abusaalomu ng'amuyita n'amubuuza nti: “Oli wa mu kibuga ki?” Omuntu oyo n'amuddamu nti: “Nze omuweereza wo ndi wa mu Kika gundi ekya Yisirayeli.”
3
Abusaalomu ng'amugamba nti: “Laba, ensonga yo nnungi era ntuufu, naye tewali muntu n'omu kabaka gw'asigidde kugiwulira.”
4
Abusaalomu n'ayongerangako nti: “Singa nali mulamuzi mu nsi muno, buli muntu eyandizzenga gye ndi ng'alina ensonga yonna oba omusango, nandimusaliddenga mu mazima.”
5
Awo omuntu, bwe yasemberanga awali Abusaalomu okumuvuunamira, nga Abusaalomu agolola omukono gwe ng'amukwatako era ng'amunywegera.
6
Abusaalomu n'akolanga bw'atyo ku buli Muyisirayeli eyajjanga ewa kabaka okumumalira ensonga, Abusaalomu n'alimbalimba bw'atyo abantu ba Yisirayeli.
7
Bwe waayitawo emyaka ena, Abusaalomu n'agamba kabaka nti: “Nkwegayiridde, nzikiriza ŋŋende e Heburooni ntuukirize obweyamo bwange bwe neeyama eri Mukama.
8
Bwe nali mu Gesuri eky'omu Aramu, neeyama nti: ‘Singa Mukama alinkomyawo mu Yerusaalemu, ndimusinziriza mu Heburooni.’ ”
9
Kabaka n'agamba nti: “Genda mirembe.” Abusaalomu n'asituka n'agenda mu Heburooni.
10
Awo n'atuma mu bubba ababaka mu Bika byonna ebya Yisirayeli ng'agamba nti: “Bwe munaawulira eddoboozi ly'amakondeere, ne mulyoka mugamba nti: ‘Abusaalomu ye kabaka mu Heburooni!’ ”
11
Era Abusaalomu okuva e Yerusaalemu, yagenda n'abasajja ebikumi bibiri be yayita babe abagenyi be, abaagenda mu mutima omulungi, nga tebalina kye bamanyi ku ntegeka ye.
12
Awo Abusaalomu bwe yali ng'awaayo ekitambiro, n'atumya Ahitofeeli Omugiilo omuwi w'amagezi owa Dawudi, ave mu kibuga kye e Giilo, ajje. Okwekoba ne kuba kwa maanyi, abeekoba ne Abusaalomu ne bagenda nga beeyongera obungi.
13
Awo omubaka n'ajja eri Dawudi n'agamba nti: “Abayisirayeli baawuguse, bagoberedde Abusaalomu.”
14
Awo Dawudi n'agamba abaweereza be bonna abaali naye mu Yerusaalemu nti: “Tusituke, tudduke. Bwe tutadduke, tewaabeewo n'omu ku ffe anaawona Abusaalomu. Mwanguwe okugenda, sikulwa ng'atutuukako amangu, n'atukolako akabi, n'atta ab'omu kibuga bonna.”
15
Awo abaweereza ba kabaka ne bawera mu maaso ge, nga bagamba nti: “Ayi Ssaabasajja, ffe abaweereza bo tweteeseteese okukola kyonna mukama waffe kabaka ky'onooyagala.”
16
Kabaka n'afuluma, n'ab'omu maka ge bonna ne bamugoberera. Wabula n'alekawo abakazi kkumi okukuuma olubiri.
17
Awo kabaka n'afuluma, abantu bonna ne bamugoberera, n'ayimirira ku nnyumba esembayo.
18
Abaweereza be ne bamuyitako ku mabbali. N'abakuumi be bonna Abakereti n'Abapeleti, era n'Abagitti bonna abasajja olukaaga, abaamugoberera okuva e Gaati, ne bayita mu maaso ge.
19
Awo kabaka Dawudi n'agamba Yittayi Omugitti nti: “Lwaki naawe ogenda naffe? Ddayo obeere ne kabaka omuggya, kubanga oli mugwira era omunoonyi w'obubudamo, eyaleka amaka go.
20
Waakamala wano ekiseera kitono, kale kaakano nnaakubungeesa ntya wamu naffe, nga simanyi na gye nnyinza kugenda? Ddayo, ozzeeyo ne baganda bo, mwagalanenga era mubeerenga beesigwa.”
21
Yittayi n'ayanukula kabaka, n'agamba nti: “Mukama nga bw'ali omulamu, buli gy'onoogenda nange gye nnaagenda, ne bwe kinaaba nga kyetaagisa kufa.”
22
Awo Dawudi n'agamba Yittayi nti: “Kale genda, yitawo!” Yittayi Omugitti n'ayitawo ne basajja be bonna, n'abantu abalala bonna be yali nabo.
23
Abantu bonna ne bakuba ebiwoobe nga kabaka ne be yali nabo bonna bagenda. Kabaka n'abantu bonna be yali nabo ne basomoka akagga Kidurooni, ne bagenda mu ddungu.
24
Awo kabona Zaddooki naye n'ajja n'Abaleevi bonna, nga basitudde Essanduuko ya Katonda ey'Endagaano. Ne Abiyataari n'agenda. Essanduuko ya Katonda ne bagiwummuza wansi, okutuusa abantu bonna lwe baamala okuva mu kibuga.
25
Awo kabaka n'agamba Zaddooki nti: “Essanduuko ya Katonda gizzeeyo mu kibuga. Mukama bw'aliba ankwatiddwa ekisa, alinkomyawo ne ngiraba era n'ekifo kye mw'abeera.
26
Kyokka bw'aligamba nti: ‘Sikusiima,’ kale nzuuno, nzikirizza ankoleko nga bw'ayagala.”
27
Kabaka era n'agamba Zaddooki kabona nti: “Oli mulabi? Situka oddeyo mirembe mu kibuga, wamu ne mutabani wo Ahimaazi, ne Yonataani mutabani wa Abiyataari.
28
Nze nja kusigala nga nnindira ku kagga we basomokera okugenda mu ddungu, okutuusa lwe munantumira ne mubaako kye muntegeeza.”
29
Awo Zaddooki ne Abiyataari ne batwala Essanduuko ya Katonda ne bagizzaayo mu Yerusaalemu, era ne basigala eyo.
30
Awo Dawudi n'agenda ng'akaaba n'ayambuka ku lusozi olw'emiti emizayiti, nga yeebisse ku mutwe era nga tayambadde ngatto. N'abaali naye bonna, ne bagenda nga bakaaba ne bambuka, nga beebisse ku mitwe gyabwe.
31
Ne wabaawo eyabuulira Dawudi nti: Ahitofeeli ye omu ku beekobye ne Abusaalomu. Dawudi n'agamba nti: “Ayi Mukama nkwegayiridde, faafaaganya amagezi ga Ahitofeeli g'awa.”
32
Awo Dawudi bwe yatuuka ku ntikko y'olusozi we baasinziza Katonda, Husaayi Omwaruki n'ajja okumusisinkana ng'ayuzizza ekyambalo kye era nga yeesize ettaka mu mutwe.
33
Dawudi n'amugamba nti: “Bw'onoogenda nange, ojja kunkaluubiriza.
34
Naye bw'onoddayo mu kibuga, n'ogamba Abusaalomu nti: ‘Nze nja kuba muweereza wo, ayi kabaka, nga bwe nabanga omuweereza wa kitaawo mu biseera eby'edda, era bwe ntyo bwe nnaaba omuweereza wo kaakano’ onoolemesa amagezi Ahitofeeli g'awa.
35
Bakabona Zaddooki ne Abiyataari bajja kubeerayo wamu naawe. Kale babuulirenga byonna by'onoobanga owulidde mu lubiri lwa kabaka.
36
Eyo gye bali, balinayo batabani baabwe bombi: Ahimaazi mutabani wa Zaddooki ne Yonataani mutabani wa Abiyataari. Era abo be munantumiranga okuntegeeza buli kye munaawuliranga.”
37
Awo Husaayi mukwano gwa Dawudi n'addayo mu kibuga Yerusaalemu, ne bakituukiramu kumu ne Abusaalomu.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24