bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Samuel 16
2 Samuel 16
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 17 →
1
Dawudi bwe yali ng'ayisizza katono entikko y'olusozi, n'asisinkana Ziba omuweereza wa Mefiboseti, ng'alina endogoyi bbiri eziriko amatandiiko, nga zeetisse emigaati ebikumi bibiri, n'ebirimba kikumi eby'emizabbibu emikalu, n'ebirala kikumi eby'ebibala eby'omu kyeya, n'ensawo y'omwenge ey'eddiba.
2
Awo kabaka n'abuuza Ziba nti: “Bino oleese byaki?” Ziba n'amuddamu nti: “Endogoyi za ba mu nnyumba yo, ayi kabaka, okwebagalanga. Emigaati n'ebibala eby'omu kyeya bya balenzi bo okulya, n'omwenge gwa kunywebwa abanaaba bakooyedde eyo mu ddungu.”
3
Kabaka n'abuuza nti: “Ye, muzzukulu wa mukama wo ali ludda wa?” Ziba n'agamba kabaka nti: “Asigaddeyo mu Yerusaalemu, kubanga agamba nti: ‘Kaakano Abayisirayeli bananziriza obwakabaka bwa jjajjange.’ ”
4
Awo kabaka n'agamba Ziba nti: “Byonna ebibadde ebya Mefiboseti, kaakano bibyo.” Ziba n'agamba nti: “Businze, Ssaabasajja! Neeyongere okuganja, mu maaso go, mukama wange.”
5
Kabaka Dawudi bwe yatuuka e Bahurimu, n'evaayo omusajja erinnya lye Simeeyi mutabani wa Gera asibuka mu nnyumba ya Sawulo, n'ajja ng'ayogera ebivuma.
6
N'akasuukirira Dawudi amayinja wamu n'abaweereza be bonna, n'abantu bonna, n'abasajja bonna ab'amaanyi abaali babugiriza Dawudi erudda n'erudda.
7
Awo Simeeyi n'ayogera ng'avuma Dawudi nti: “Genda, genda, musajja ggwe omutemu era ataliimu nsa!
8
Mukama awooledde eggwanga ku ggwe olw'okutta ab'ennyumba ya Sawulo, gwe wanyagako obwakabaka bwe. Obwakabaka Mukama kyavudde abuwa Abusaalomu mutabani wo. Laba kaakano otuuse okuzikirira, kubanga oli mutemu!”
9
Awo Abisaayi mutabani wa Zeruyiya, n'agamba kabaka nti: “Embwa eno enfu lwaki ekuvuma, mukama wange kabaka? Nzikiriza ŋŋende mmutemeko omutwe.”
10
Kabaka n'agamba Abisaayi nti: “Mundeke mmwe batabani ba Zeruyiya! Bw'aba ng'avuma, nga Mukama ye amugambye nti: ‘Vuma Dawudi,’ ani anaagamba nti: ‘Lwaki okoze bw'otyo?’ ”
11
Dawudi n'agamba Abisaayi n'abaweereza be bonna nti: “Kaakano, oba mutabani wange nze kennyini gwe nneezaalira ye ayagala okunzita, kale alabisa Omubenyamiini oyo? Mumuleke avume, kubanga Mukama ye amulagidde.
12
Oboolyawo Mukama anaatunuulira ekibi ekinkoleddwako, n'ansasulamu ekirungi olw'okuvumibwa olwaleero.”
13
Awo Dawudi ne basajja be ne beeyongera okutambula nga bayita mu kkubo. Simeeyi n'abagoberera ng'agenda akiiba olusozi ng'ayogera ebivuma, era ng'abakasuukirira amayinja, era ng'afuumuula n'enfuufu.
14
Kabaka n'abantu bonna abaali naye ne batuuka nga bakooye, ne bawummulirako eyo.
15
Abusaalomu n'abantu bonna Abayisirayeli ne bayingira Yerusaalemu, nga Abusaalomu ali wamu ne Ahitofeeli.
16
Husaayi Omwaruki, mukwano gwa Dawudi, n'ajja eri Abusaalomu. Husaayi oyo n'agamba Abusaalomu nti: “Wangaala, ayi kabaka, wangaala, ayi kabaka.”
17
Abusaalomu n'abuuza Husaayi nti: “Kuno kwe kwagala kw'oyagalamu mukwano gwo? Lwaki tewagenda ne mukwano gwo Dawudi?”
18
Husaayi n'agamba Abusaalomu nti: “Nedda, nze nnaabeeranga w'oyo Mukama n'abantu bano n'Abayisirayeli bonna gwe balonze, era ye gwe nnaabeeranga naye.
19
Era n'ekirala, ani gwe nnaaweereza bwe siweereza mutabani wa mukama wange? Nga bwe naweerezanga kitaawo, era bwe ntyo naawe bwe nnaakuweerezanga.”
20
Awo Abusaalomu n'agamba Ahitofeeli nti: “Tuwe amagezi, ki kye tuba tukola?”
21
Ahitofeeli n'agamba Abusaalomu nti: “Genda weebake ne baka kitaawo be yaleka okukuuma olubiri. Awo buli muntu ali mu Yisirayeli anaakiwulira, anaamanya nti kitaawo akutamiddwa, era bonna abali naawe, baneeyongera amaanyi.”
22
Awo ne bamusimbira weema waggulu ku nnyumba ya kabaka, Abusaalomu n'ayingiramu ng'abantu bonna balaba, ne yeebaka ne baka kitaawe.
23
Mu biro ebyo amagezi Ahitofeeli ge yawanga, gakkirizibwanga ng'ago omuntu g'aba yeebuuzizza ku Katonda, era Dawudi ne Abusaalomu bwe batyo bwe baagasiimanga.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24