bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Samuel 17
2 Samuel 17
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 18 →
1
Awo Ahitofeeli n'agamba Abusaalomu nti: “Ka nnonde abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri, nsituke mpondere Dawudi ekiro kino,
2
mmutuukeko ng'akyali mukoowu era ng'aweddemu amaanyi, mmukube entiisa, n'abantu bonna abali naye badduke, nzite kabaka yekka.
3
Awo ndyoke nkomyewo abantu bonna gy'oli, ng'omukazi bw'akomawo ewa bba. Gwe weetaaga okutta, ali omu, abantu bonna balyoke babe n'emirembe.”
4
Awo Abusaalomu n'abakulembeze ba Yisirayeli bonna ne basiima amagezi Ahitofeeli ge yabawa.
5
Awo Abusaalomu n'agamba nti: “Kale yita Husaayi Omwaruki naye tuwulire ky'agamba.”
6
Husaayi bwe yajja eri Abusaalomu, Abusaalomu n'amugamba nti: “Ahitofeeli atugambye bw'ati ne bw'ati. Tukole nga bw'agambye? Oba nga si kyo, ggwe otuwa magezi ki?”
7
Husaayi n'agamba Abusaalomu nti: “Amagezi Ahitofeeli g'akuwadde ku mulundi guno, si malungi.”
8
Husaayi era n'agamba nti: “Omanyi bulungi nga kitaawo ne basajja be bazira nnamige, ba maanyi era bakambwe ng'eddubu enyagiddwako abaana baayo ku ttale. N'ekirala, kitaawo mumanyirivu mu by'entalo, tajja kusula na bantu.
9
Era kaakano yeekwese mu bunnya oba awantu awalala. Bwe wanaabaawo abafa mu lulumba olusooka, abanaakiwulira bajja kugamba nti abagoberezi ba Abusaalomu battiddwa nnyo.
10
Awo nno n'omusajja omuzira era alina omutima ng'ogw'empologoma, ajja kuggweeramu ddala amaanyi kubanga Yisirayeli yonna emanyi nti kitaawo musajja wa maanyi, era nga n'abo abali naye basajja bazira.
11
N'olwekyo amagezi ge mpa ge gano: kuŋŋaanya Abayisirayeli bonna okuva e Daani okutuuka e Beruseba babe bangi ng'omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja, naawe wennyini ogende nabo mu lutalo.
12
Tujja kumuzuula wonna w'anaabeera, tumugweko ng'omusulo bwe gugwa ku ttaka. Era ye ne basajja be, tubatte obutalekaawo n'omu.
13
Bw'anaddukira mu kibuga, Abayisirayeli bonna bajja kuleeta emiguwa mu kibuga ekyo, ekibuga ekyo tukiwalule okukituusa mu kiwonvu, waleme kusigalayo jjinja na limu.”
14
Awo Abusaalomu n'Abayisirayeli bonna ne bagamba nti: “Amagezi ga Husaayi Omwaruki gasinze aga Ahitofeeli,” kubanga Mukama yali asazeewo amagezi amalungi Ahitofeeli ge yawa galeme kugobererwa, Mukama alyoke aleete akabi ku Abusaalomu.
15
Awo Husaayi n'abuulira bakabona Zaddooki ne Abiyataari amagezi g'awadde Abusaalomu n'abakulembeze ba Yisirayeli bonna, era n'amagezi Ahitofeeli ge yali abawadde.
16
Husaayi n'abagamba nti: “Kale nno mutumire mangu Dawudi, aleme kusula ku nsomoko ey'omu ddungu, wabula asomoke mangu, ye kabaka n'abantu be bonna abali naye baleme kumalibwawo.”
17
Awo Yonataani ne Ahimaazi ne balindiranga ku Luzzi Enirogeli, kubanga baali beewala okulabibwa mu kibuga. Omuzaana n'agendanga n'abalambula, bo ne bagenda babuulira kabaka Dawudi.
18
Naye lwali lumu ne wabaawo omulenzi eyabalaba, n'abuulira Abusaalomu. Awo bombi ne bagenda mangu, ne batuuka ku nnyumba y'omusajja e Bahurimu. Omusajja ono yalina oluzzi mu luggya lwe, ne bakka omwo.
19
Muk'omusajja oyo n'addira ekibikka ku luzzi, n'alubikkako, n'ayanjalirako eŋŋaano ensekule, nga tewali ayinza kubaako ky'ateebereza.
20
Awo abaweereza ba Abusaalomu ne bajja ku nnyumba ne babuuza omukazi nti: “Ahimaazi ne Yonataani bali ludda wa?” Omukazi n'abaddamu nti: “Basomose akagga.” Awo bwe baanoonya ne batabalaba, ne baddayo e Yerusaalemu.
21
Awo nga bamaze okugenda, Ahimaazi ne Yonataani ne bavaayo mu luzzi ne bagenda, ne babuulira Dawudi. Ne bamugamba nti: “Musituke musomoke mangu amazzi, kubanga Ahitofeeli abasalidde amagezi okubalwanyisa.”
22
Dawudi n'abantu bonna abaali naye, ne basituka ne basomoka Yorudaani. Emmambya okugenda okusala nga bonna bamaze okusomoka Yorudaani.
23
Ahitofeeli bwe yalaba ng'amagezi ge tebagagoberedde, n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n'addayo eka mu kibuga ky'ewaabwe, n'atereeza eby'omu maka ge, ne yeetuga, n'afa. Ne bamuziika ku kiggya kya kitaawe.
24
Dawudi n'atuuka e Mahanayimu. Ne Abusaalomu n'asomoka Yorudaani ng'ali n'Abayisirayeli bonna.
25
Abusaalomu yali alonze Amasa okukulembera eggye mu kifo kya Yowaabu. Amasa yali mutabani wa Yitura Omuyisirayeli, eyali awasizza Abigayili muwala wa Nahasi, era muganda wa Zeruyiya nnyina Yowaabu.
26
Abayisirayeli ne Abusaalomu ne basiisira mu kitundu ky'e Gileyaadi.
27
Dawudi bwe yatuuka e Mahanayimu, Sobi mutabani wa Nahasi ow'e Rabba mu nsi ya Ammoni, ne Makiri mutabani wa Ammiyeeli ow'e Lodebari, ne Baruzillayi ow'e Rogeliimu eky'omu Gileyaadi,
28
ne baleeta ebitanda, n'ebibya n'entamu, n'eŋŋaano, ne bbaale, n'obuwunga, n'eŋŋaano ensiike, n'ebijanjaalo, n'empindi, ne mpokya omusiike,
29
n'omubisi gw'enjuki, n'amata aga bbongo, n'endiga, n'omuzigo, gw'ente ogukuze. Ebyo byonna ne babireetera Dawudi n'abantu abali naye, balye, kubanga baagamba nti: “Abantu balumiddwa enjala n'ennyonta, era bakooyedde mu ddungu.”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24