bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Samuel 6
2 Samuel 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 7 →
1
Awo Dawudi n'akuŋŋaanya wamu nate abasajja bonna abaalondebwa mu Yisirayeli, abawerera ddala emitwalo esatu.
2
N'abakulembera okugenda e Baale eky'omu kitundu kya Yuda okuggyayo Ssanduuko ya Katonda ey'Endagaano, eyitibwa erinnya lya Mukama Nnannyinimagye atuula ku ntebe y'obwakabaka waggulu wa Bakerubi.
3
Ssanduuko ya Katonda ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadabu eyali ku lusozi, ne bagiteeka ku kigaali ekiggya. Batabani ba Abinadabu, Wuzza ne Ahiyo, ne bavuga ekigaali ekiggya
4
ekiriko Ssanduuko ya Mukama, nga Ahiyo akulembeddemu.
5
Dawudi n'Abayisirayeli bonna ne bazina mu maaso ga Mukama nga bakuba ebivuga eby'emiti emiberosi ebya buli ngeri, n'ennanga n'entongooli, n'eŋŋoma n'ebitaasa n'ensaasi.
6
Awo bwe baatuuka mu gguuliro lya Nakoni, Wuzza n'agolola omukono gwe n'akwata Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano, kubanga ente zaabulako katono okugisuula wansi.
7
Mukama n'asunguwalira Wuzza, n'amuttirawo, kubanga yeeyitiriza n'akwata ku Ssanduuko Ey'Endagaano. Wuzza n'afiira awo awali Ssanduuko ya Katonda.
8
Dawudi n'anyiiga kubanga Mukama yabonereza Wuzza n'obusungu. Okuva olwo ekifo ekyo ne kiyitibwa Perezuzza.
9
Ku lunaku olwo Dawudi n'atya Mukama, n'agamba nti: “Nnaatwala ntya Ssanduuko ya Mukama ey'Endagaano?”
10
Dawudi n'agaana okutwala Ssanduuko ya Mukama mu kibuga kye wabula, n'agikyamya n'agiyingiza mu nnyumba ya Obededomu Omugitti.
11
Ssanduuko ya Mukama n'emala emyezi esatu mu nnyumba ya Obededomu, Mukama n'awa omukisa Obededomu Omugitti n'ab'omu nnyumba ye bonna.
12
Awo ne babuulira kabaka Dawudi nti: “Mukama awadde omukisa ab'omu nnyumba ya Obededomu n'ebibye byonna olw'Essanduuko ya Katonda.” Dawudi n'agenda n'aggyayo Ssanduuko ya Mukama ey'Endagaano mu nnyumba ya Obededomu, n'agitwala mu kibuga kye ng'asanyuka.
13
Abaasitula Essanduuko ya Mukama bwe baali batambuddeko ebigere nga mukaaga, Dawudi n'atambira eri Mukama ente ennume n'ennyana ensava.
14
Dawudi n'azina n'amaanyi ge gonna mu maaso ga Mukama nga yeesibye efodi enjeru.
15
Dawudi n'Abayisirayeli bonna ne batwala Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama mu Yerusaalemu, nga baleekaana olw'essanyu era nga bafuuwa amakondeere.
16
Awo olwatuuka Essanduuko ya Mukama bwe yali ng'eyingira mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo n'alingiza mu ddirisa n'alaba kabaka Dawudi ng'abuuka ng'azinira mu maaso ga Mukama. N'amunyooma mu mutima gwe.
17
Ne bayingiza Essanduuko ya Mukama, ne bagiteeka mu kifo kyayo, wakati mu weema Dawudi gye yali agisimbidde. Dawudi n'awaayo eri Mukama ebitambiro ebyokebwa n'ebiweebwayo eby'okutabagana.
18
Bwe yamala okuwaayo ebitambiro, n'awa abantu omukisa mu linnya lya Mukama Nnannyinimagye.
19
N'agabula abantu bonna ebyokulya. Buli musajja n'omukazi ow'omu Yisirayeli n'afuna omugaati, n'omugabo gw'ennyama, n'ekitole eky'ebibala by'emizabbibu ebikaze. Awo buli muntu n'addayo ewuwe.
20
Awo Dawudi bwe yaddayo ewuwe okusabira ab'omu nnyumba ye omukisa, Mikali n'afuluma okumusisinkana n'agamba nti: “Kabaka wa Yisirayeli ng'abadde wa kitiibwa olwaleero! Okweyisa ng'omusajja omugwenyufu bwe yeeyisa, n'atambula nga yeeyambudde mu maaso g'abazaana b'abaweereza be!”
21
Dawudi n'addamu Mikali nti: “Mbadde nzinira mu maaso ga Mukama eyannonda n'ansukkulumya ku kitaawo n'ab'ennyumba ye yonna, okuba omukulembeze w'abantu be Abayisirayeli. Era kyennaavanga nzinira mu maaso ga Mukama,
22
ne nneeyongera okwemalamu ekitiibwa n'okusingawo, mbe anyoomebwa mu maaso gange, naye abazaana abo b'oyogeddeko balinzisaamu ekitiibwa.”
23
Mikali, muwala wa Sawulo n'atazaala mwana n'omu obulamu bwe bwonna.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24