bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Samuel 21
2 Samuel 21
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 22 →
1
Awo ku mulembe gwa Dawudi waaliwo enjala nnyingi okumala emyaka esatu egiddiriŋŋana. Dawudi n'agenda ne yeebuuza ku Mukama. Mukama n'agamba nti: “Lwa Sawulo n'ab'omu nnyumba ye abalina omusango gw'obutemu, kubanga Sawulo yatta Abagibiyoni.”
2
Kabaka n'ayita Abagibiyoni n'abaako ky'abagamba. Abagibiyoni abo, tebaali Bayisirayeli, wabula Baamori abaasigalawo. Newaakubadde ng'Abayisirayeli baali babalayiridde obutabatta, kyokka Sawulo olw'okulumirwa Abayisirayeli n'ab'omu Kika kya Yuda n'ayagala okubatta.
3
Dawudi n'agamba Abagibiyoni nti: “Kiki kye mba mbakolera? Era mutango ki gwe mba mbawa mulyoke musabire abantu ba Katonda omukisa?”
4
Abagibiyoni ne bamuddamu nti: “Tetwagala ffeeza wadde zaabu okuva ku Sawulo wadde ku b'omu nnyumba ye. Era tetwagala muntu n'omu attibwe mu Yisirayeli ku lwaffe.” Dawudi n'abagamba nti: “Kye munaagamba, kye nnaabakolera.”
5
Ne bagamba kabaka nti: “Omusajja eyayagala okutuzikiriza n'atusalira amagezi okutusaanyaawo ng'ayagala ekifo kye tubeeramu kireme kuba mu nsi ya Yisirayeli,
6
wabeewo abasajja musanvu ku bazzukulu be, batuweebwe tugende tubawanike mu maaso ga Mukama e Gibeya, ekibuga kya Sawulo eyalondebwa Mukama.” Kabaka n'abaddamu nti: “Nja kubabawa mmwe.”
7
Kyokka kabaka n'ataliza Mefiboseti mutabani wa Yonataani omwana wa Sawulo, olw'omukago Dawudi ne Yonataani mutabani wa Sawulo gwe batta nga balayira Mukama.
8
Wabula kabaka n'aggyayo Arumoni ne Mefiboseti batabani ba Rizupa muwala wa Aya, Rizupa oyo be yazaalira Sawulo. N'aggyayo n'abaana ab'obulenzi bataano, aba Mikali muwala wa Sawulo, Mikali oyo be yazaalira Adriyeri mutabani wa Baruzillayi ow'e Mehola.
9
N'abawaayo eri Abagibiyoni, ne babawanika mu maaso ga Mukama ku lusozi. Bonna omusanvu ne bafiira wamu. Battibwa mu nnaku z'amakungula ezisooka, we batandikira okukungula bbaale.
10
Awo Rizupa, muwala wa Aya, n'atwala ekikutiya, n'akyeyalira ku lwazi, okuva ku ntandikwa y'amakungula, okutuusa enkuba lwe yatandika okutonnya n'ekuba emirambo egyo. Emisana n'ekiro n'atakkiriza binyonyi wadde ebisolo okugirya.
11
Ne babuulira Dawudi ebyo Rizupa muwala wa Aya era nnamwandu wa Sawulo bye yakola.
12
Dawudi n'agenda n'aggyayo amagumba ga Sawulo n'aga Yonataani mutabani we, ku bantu b'e Yabesigileyaadi abaali bagabbye mu luguudo olw'e Betisaani, Abafilistiya gye baabawanika ku lunaku lwe babattirako e Gilubowa.
13
Bw'atyo n'aggyayo amagumba ga Sawulo n'aga Yonataani mutabani we. Ne bakuŋŋaanya n'ag'abo abaawanikibwa.
14
Amagumba ga Sawulo n'aga Yonataani mutabani we, ne bagaziika mu nsi ya Benyamiini mu Zela, ku kiggya kya Kiisi kitaawe wa Sawulo. Ne bakola byonna kabaka bye yalagira. Ebyo bwe byaggwa, Katonda n'akkiriza bye basabira ensi yaabwe.
15
Awo Abafilistiya ne baddamu okulwana n'Abayisirayeli. Dawudi n'aserengeta n'abaweereza be, ne balwana n'Abafilistiya. Dawudi n'akoowa nnyo.
16
Awo Yisubibenobu, omu ku bazzukulu b'omusajja omuwagguufu, ng'alina effumu ery'ekikomo erizitowa kilo nga ssatu n'ekitundu, era nga yeesibye ekitala ekiggya, n'ayagala okutta Dawudi.
17
Kyokka Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'adduukirira Dawudi, n'afumita Omufilistiya oyo, n'amutta. Awo abasajja ba Dawudi ne bamulayirira nti: “Tokyaddamu kugenda naffe mu lutalo, oleme okuzikiza ettaala ya Yisirayeli.”
18
Ebyo bwe byaggwa, ne wabaawo olutalo nate n'Abafilistiya e Gobu. Awo Sibbekaayi ow'e Huusa n'atta Safu, omu ku bazzukulu b'omusajja omuwagguufu.
19
Era ne wabaawo olutalo olulala n'Abafilistiya e Gobu. Eluhanani mutabani wa Yaale-oregimu ow'e Betilehemu n'atta Goliyaati Omugitti. Olunyago lw'effumu lya Goliyaati oyo lwali luli ng'omuti ogulukirwako engoye.
20
Era ne wabaawo olutalo olulala e Gaati, nga mulimu omusajja omuwagguufu eyalina engalo mukaaga ku buli kibatu, n'obugere mukaaga ku buli kigere, byonna wamu amakumi abiri mu bina. Era naye yali muzzukulu wa musajja omuwagguufu.
21
Awo bwe yasoomoza Abayisirayeli, Yonataani mutabani wa Simeeya muganda wa Dawudi, n'amutta.
22
Abo abana baali bazzukulu ba musajja omuwagguufu ow'e Gaati. Ne battibwa Dawudi n'abaweereza be.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
Recommended Reading
Commentary
2 Samuel Commentaries
→
Devotional
2 Samuel Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→