bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Samuel 3
2 Samuel 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 4 →
1
Awo abawagira ab'ennyumba ya Sawulo ne balwanagananga n'abawagizi ba Dawudi okumala ekiseera kiwanvu. Dawudi ne yeeyongeranga okuba n'amaanyi, naye abalabe be ne beeyongeranga okunafuwa.
2
Bano be batabani ba Dawudi be yazaalira mu Heburooni: Omubereberye ye Amunooni, nnyina nga ye Ahinowamu Omuyezireeli.
3
Owookubiri ye Kileyaabu, nnyina nga ye Abigayili, nnamwandu wa Nabali Omukarumeeli. Owookusatu ye Abusaalomu, nnyina nga ye Maaka, muwala wa kabaka Talumayi ow'omu Gesuri.
4
Owookuna ye Adoniya, nnyina nga ye Haggiti. Ow'okutaano ye Sefatiya, nnyina nga ye Abitaali.
5
N'ow'omukaaga ye Yitireyaamu, nnyina nga ye Egula muka Dawudi. Abo be baazaalirwa Dawudi e Heburooni.
6
Awo olwatuuka, abawagira ennyumba ya Sawulo nga bakyalwanagana n'abawagizi ba Dawudi, Abuneeri ne yeeyongera okuba ow'amaanyi mu b'oludda lwa Sawulo.
7
Sawulo yalina omukazi erinnya lye Rizupa, muwala wa Aya. Awo Yisiboseti n'agamba Abuneeri nti: “Lwaki otwala muka kitange?”
8
Ebyo Yisiboseti bye yayogera ne bisunguwaza nnyo Abuneeri, era n'amukayukira ng'agamba nti: “Olowooza ndi muweereza wa ludda lwa Yuda? Okutuusa kati mbadde mpagira ab'oludda lwa Sawulo kitaawo, baganda be ne mikwano gye, ne sikuwaayo mu mikono gya Dawudi, naye n'onvunaana omusango ogwekuusa ku mukazi oyo!
9
Nze Abuneeri, Katonda ankube era anzite bwe sirituukiriza ekyo Mukama kye yalayirira Dawudi
10
nti aliggya obwakabaka ku b'ennyumba ya Sawulo, n'afuula Dawudi kabaka wa Yisirayeli ne Yuda, okuva ku Daani okutuuka e Beruseba!”
11
Yisiboseti n'atayinza kwanukula Abuneeri kigambo kirala kubanga yamutya.
12
Amangwago Abuneeri n'atuma ababaka eri Dawudi okumugamba nti: “Ani nnannyini nsi? Nze ŋŋamba nti: ‘Kola endagaano nange, nja kukuyamba okuzza Yisirayeli yonna ku ludda lwo.’ ”
13
Dawudi n'amuddamu nti: “Kale, nja kulagaana naawe, singa onokkiriza okundeetera Mikali muwala wa Sawulo ng'ojja okundaba.”
14
Awo Dawudi n'atuma ababaka eri Yisiboseti mutabani wa Sawulo ng'agamba nti: “Mpa mukazi wange Mikali gwe nasasulira ensusu ekikumi ez'Abafilistiya.”
15
Awo Yisiboseti n'atumya Mikali, n'amuggya ku bba Palutiyeli mutabani wa Layisi.
16
Palutiyeli n'agenda ng'akaaba, n'awondera Mikali okutuuka mu kibuga Bahurimu. Abuneeri n'agamba Palutiyeli nti: “Genda, ddayo eka.” Awo n'addayo.
17
Awo Abuneeri n'ayogera n'abakulembeze ba Yisirayeli ng'agamba nti: “Mumaze ebbanga nga mwagala Dawudi afuuke kabaka wammwe.
18
Kale kaakano mukituukirize, kubanga Mukama yayogera ku Dawudi nti: ‘Ŋŋenda kukozesa omuddu wange Dawudi okununula abantu bange Abayisirayeli mu mikono gy'Abafilistiya n'egy'abalabe baabwe bonna.’ ”
19
Abuneeri era n'ayogera n'Ababenyamiini, n'alyoka agenda mu Heburooni okutegeeza Dawudi, Ababenyamiini n'Abayisirayeli bonna kye basazeewo okukola.
20
Awo Abuneeri, ng'ali n'abasajja amakumi abiri, bwe yatuuka ewa Dawudi mu Heburooni, Dawudi n'abafumbira ekijjulo.
21
Awo Abuneeri n'agamba Dawudi nti: “Nja kusituka ŋŋende nkuŋŋaanyize Abayisirayeli bonna gy'oli mukama wange kabaka, bakole naawe endagaano, olyoke ofuge bonna nga bwe wayagala.” Awo Dawudi n'asiibula Abuneeri, Abuneeri n'agenda mirembe.
22
Mu kaseera ako, Yowaabu n'abaweereza ba Dawudi abalala, ne bakomawo okuva mu kikwekweto nga bazze n'omunyago mungi. Kyokka baasanga Abuneeri takyali na Dawudi mu Heburooni, kubanga Dawudi yali amusiibudde, era Abuneeri ng'agenze mirembe.
23
Awo Yowaabu bwe yatuuka awamu n'eggye lyonna eryali naye, ne bamubuulira nti Abuneeri mutabani wa Neeri, yazze ewa kabaka Dawudi era Dawudi n'amusiibula n'agenda mirembe.
24
Awo Yowaabu n'agenda ewa kabaka Dawudi n'amugamba nti: “Okoze ki! Abuneeri okujja gy'oli n'omuleka n'agenda?
25
Omanyi bulungi nga Abuneeri mutabani wa Neeri yazze kukulimbalimba amanye byonna by'okola n'amakubo g'okwata?”
26
Awo Yowaabu bwe yava ewa Dawudi n'atuma ababaka bawondere Abuneeri, era ne bamukomyawo okuva ku luzzi lwe Siira, naye kino Dawudi teyakimanya.
27
Abuneeri bwe yakomawo mu Heburooni, Yowaabu n'amuzza ku bbali w'omulyango, n'aba ng'ayagala okumukuba akaama. Bwe baali bali awo, n'amufumita mu lubuto n'amutta, kubanga Abuneeri yali asse Asayeeli muganda we.
28
Awo oluvannyuma Dawudi bwe yakiwulira, n'agamba nti: “Ennaku zonna mu maaso ga Mukama, nze n'ab'omu bwakabaka bwange tetuubengako musango ogw'okutta Abuneeri mutabani wa Neeri.
29
Gubeerenga ku Yowaabu n'ab'ennyumba ya kitaawe yonna! Era mu buli mulembe gwonna, mu nnyumba ya Yowaabu mubengamu omulwadde w'enziku, oba ow'ebigenge, oba omulema, oba attirwa mu lutalo, oba abulwa emmere.”
30
Yowaabu ne muganda we Abisaayi bwe batyo bwe batta Abuneeri, kubanga yali asse muganda waabwe Asayeeli mu lutalo lwe Gibiyoni.
31
Awo Dawudi n'alagira Yowaabu ne basajja be bonna abaali naye, bayuze ebyambalo byabwe, bambale ebikutiya, bakungubagire Abuneeri. Kabaka Dawudi yennyini n'avaako emabega w'akatanda okusituliddwa omulambo nga bagenda okuguziika.
32
Abuneeri n'aziikibwa mu Heburooni, kabaka n'atemera omulanga ku ntaana ya Abuneeri, n'akaaba amaziga, n'abantu bonna ne bakaaba.
33
Kabaka n'akungubagira Abuneeri ng'agamba nti: “Abuneeri yandifudde ng'omusirusiru bw'afa?
34
Emikono gyo tegyabadde misibe, n'ebigere byo tebyabadde mu masamba. Wafudde ng'omuntu attiddwa abantu ababi.” Abantu bonna ne baddamu okukaabira Abuneeri.
35
Olunaku olwo lwonna abantu bonna ne beegayirira Dawudi alye ku mmere, kyokka ye n'alayira nti: “Katonda ankube nfe singa nkomba ku mmere oba ekyokulya kyonna ng'obudde tebunnaziba!”
36
Kino abantu bonna ne bakitegeera, ne kibasanyusa. Era byonna kabaka Dawudi bye yakolanga, abantu baabisiimanga.
37
Abantu ba Dawudi bonna n'abantu ba Yisirayeli bonna, ne bakitegeera ku lunaku olwo nti tekyava eri kabaka okutta Abuneeri, mutabani wa Neeri.
38
Kabaka n'agamba abaweereza be nti: “Temumanyi nti omukulembeze ow'amaanyi era oweekitiibwa mu Yisirayeli afudde olwaleero?
39
Newaakubadde nga nafukibwako omuzigo okuba kabaka, olwaleero mpulira nga sirina maanyi. Batabani ba Zeruyiya bano bayitiridde okuba abakakanyavu gye ndi. Akoze ekibi ekyo, Mukama amusasule ekimugwanira.”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24