bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Samuel 7
2 Samuel 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 8 →
1
Awo olwatuuka Dawudi n'akkalira mu lubiri lwe, era Mukama n'amuwonya okutawaanyizibwa abalabe be bonna abamwetoolodde.
2
Dawudi n'agamba omulanzi Natani nti: “Laba nze nsula mu nnyumba ey'emivule, naye Essanduuko ya Katonda ebeera mu weema!”
3
Awo Natani n'agamba kabaka nti: “Genda okole ekikuli ku mutima, kubanga Mukama ali wamu naawe.”
4
Naye ekiro ekyo Mukama n'agamba Natani nti:
5
“Genda ogambe omuweereza wange Dawudi nti: ‘Mukama agamba nti: Si ggwe ogenda okunzimbira ennyumba mwe nnaabeeranga.
6
Okuviira ddala ku lunaku lwe naggya Abayisirayeli mu Misiri n'okutuusa kati, sibeerangako mu nnyumba, wabula natambuliranga mu weema.
7
Mu bifo byonna mwe natambulira n'Abayisirayeli bonna, ssaabuuzaako kika na kimu ekya Yisirayeli kye nalonda okulabirira abantu bange Abayisirayeli nti lwaki tebanzimbira nnyumba ya mivule.’
8
“Kale nno gamba omuweereza wange Dawudi nti: Nze Mukama Nnannyinimagye mmugamba nti: ‘Nakuggya ku gw'okulundanga endiga mu ttale, ne nkufuula omukulembeze w'abantu bange Abayisirayeli.
9
Era nabanga naawe buli gye wagendanga yonna, ne nsaanyaawo abalabe bo bonna ng'olaba. Era ndikufuula wa ttutumu ng'abafuzi abatutumufu ennyo mu nsi.
10
Ntegekedde abantu bange Abayisirayeli ekifo, ne mbateekamu, babeerenga omwo nga kyabwe, balemenga kuddamu kutawaanyizibwa, era ng'abantu ababi tebakyababonyaabonya
11
nga bwe gwali we nateekerawo abalamuzi okufuganga abantu bange Abayisirayeli. Era ndikuwonya okutawaanyizibwa abalabe bo bonna. N'ekirala Nze Mukama nkugamba nti: ndikwaliza ezzadde.
12
Ennaku zo bwe ziriggwaako, n'ogenda eri bajjajjaabo, omu ku baana bo be weezaalira, ndimussaawo okuba kabaka, era ndinyweza obwakabaka bwe.
13
Oyo ye alinzimbira ennyumba, era ndinyweza entebe ye ey'obwakabaka emirembe gyonna.
14
Ndiba kitaawe, ye n'aba mwana wange. Bw'anaakolanga ekitali kituufu, nnaamukangavvulanga ng'omuzadde bw'akangavvula omwana we,
15
kyokka siirekengayo kumukwatirwa kisa, nga bwe nalekayo okukikwatirwa Sawulo, gwe naggyawo, ggwe olyoke ofuuke kabaka.
16
Ezzadde lyo n'obwakabaka bwo birifuuka bya nkalakkalira emirembe gyonna, mu maaso gange, n'entebe yo ey'obwakabaka erinywezebwa ennaku zonna.’ ”
17
Awo Natani n'abuulira Dawudi byonna nga Mukama bwe yabimugamba, era nga bwe yabimulaga.
18
Awo kabaka Dawudi n'ayingira mu Weema, n'atuula mu maaso ga Mukama, n'agamba nti: “Ayi Mukama Katonda, nze n'ab'ennyumba yange tetusaanidde bino byonna bye wankolera.
19
Naye n'ekyo, ayi Mukama Katonda, kikyali kitono mu maaso go, kubanga era osuubizza bingi ezzadde lyange ery'omu maaso. Kale ekyo okimanyisa omuntu, ayi Mukama Katonda!
20
Ate kiki ekirala nze Dawudi kye nnyinza okukugamba? Ommanyi nze omuweereza wo Ayi Mukama Katonda.
21
Okoze ekintu kikulu okumanyisa nze omuweereza wo, ekyo ky'osuubiza ng'okiggya mu mutima gwo.
22
N'olwekyo oli mukulu, ayi Mukama Katonda! Tetuwulirangako nga waliwo akwenkana, era oba nti waliwo Katonda omulala okuggyako ggwe.
23
Era ggwanga ki eddala ku nsi eriri ng'ery'abantu bo Abayisirayeli, ggwe Katonda be wanunula okuba abantu bo! Ebintu ebikulu n'ebyewuunyo bye wabakolera, byayatiikiriza erinnya lyo mu nsi yonna. Wagoba ab'amawanga amalala ne balubaale baabwe, ne basegulira abantu be weenunulira okuva e Misiri.
24
Abayisirayeli wabafuula abantu bo emirembe gyonna, era naawe Mukama n'ofuuka Katonda waabwe.
25
“Era kaakano, ayi Mukama Katonda, nywezanga ennaku zonna ky'osuubizza nze omuweereza wo n'ab'ennyumba yange, era okole nga bw'ogambye.
26
Ogulumizibwe emirembe gyonna, nga bagamba nti: ‘Mukama Nnannyinimagye ye Katonda afuga Yisirayeli.’ Era onyweze ab'ennyumba yange emirembe gyonna,
27
Ayi Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, nze omuweereza wo ŋŋumye okukusinza bwe nti, kubanga ombikkulidde bino byonna, n'oŋŋamba nti bazzukulu bange olibafuula bakabaka.
28
“Era kaakano, Mukama, Afugabyonna, ggwe Katonda; ebigambo byo bya mazima, era osuubizza nze omuweereza wo ebintu ebirungi.
29
Nkusaba owe omukisa ab'ennyumba yange nze omuweereza wo, balyoke beeyongere okuganja mu maaso go ennaku zonna. Ayi Mukama Katonda, ab'ennyumba yange obawenga omukisa gwo emirembe gyonna, kubanga kino ggwe okisuubizza.”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24