bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Samuel 2
2 Samuel 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 3 →
1
Ebyo bwe byaggwa, Dawudi n'abuuza Mukama nti: “Ŋŋende mbeere mu kimu ku bibuga bya Yuda?” Mukama n'addamu nti: “Genda.” Dawudi n'abuuza nti: “Mu kibuga ki?” Mukama n'addamu nti: “Mu Heburooni.”
2
Awo Dawudi n'agenda mu Heburooni wamu ne bakazi be bombi: Ahinowamu gwe yaggya e Yezireeli, ne Abigayili nnamwandu wa Nabali, ow'e Karumeeli.
3
Dawudi n'atwala basajja be wamu n'abantu baabwe ne babeera mu bibuga ebyetoolodde Heburooni.
4
Awo abasajja b'omu Kika kya Yuda ne bajja mu Heburooni, ne bafuka omuzigo ku Dawudi okuba kabaka waabwe. Ne babuulira Dawudi nti ab'omu Yabesi eky'omu Gileyaadi be baaziika Sawulo.
5
Awo Dawudi n'abatumira ababaka ng'agamba nti: “Mukama abawe omukisa, olw'ekikolwa eky'ekisa kye mwakolera mukama wammwe Sawulo okumuziika.
6
Era nno Mukama abakwatirwenga ekisa era abe wa mazima gye muli. Era nange ŋŋenda kubayisa bulungi olw'ekyo kye mwakola.
7
Kale mugume era mube bazira, kubanga newaakubadde mukama wammwe Sawulo afudde, naye ab'omu Kika kya Yuda banfuseeko omuzigo okuba kabaka waabwe.”
8
Abuneeri mutabani wa Neeri omuduumizi w'eggye lya Sawulo yali adduse ne mutabani wa Sawulo gwe bayita Yisiboseti, nga bagenze e Mahanayimu, emitala w'omugga Yorudaani.
9
Eyo Abuneeri gye yafuulira Yisiboseti kabaka wa Gileyaadi, owa Abasuuri, owa Yezireeli, owa Efurayimu, owa Benyamiini era owa Yisirayeli yonna.
10
Yisiboseti mutabani wa Sawulo yali aweza emyaka amakumi ana we yafuulirwa kabaka wa Yisirayeli, era yafugira emyaka ebiri. Naye ab'Ekika kya Yuda ne baagoberera Dawudi.
11
Dawudi n'afugira mu Heburooni ab'Ekika kya Yuda okumala emyaka musanvu n'ekitundu.
12
Awo Abuneeri mutabani wa Neeri, n'abaweereza ba Yisiboseti mutabani wa Sawulo, ne bava e Mahanayimu ne bagenda e Gibiyoni.
13
Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'abaweereza ba Dawudi abalala, ne babasisinkana ku kidiba ky'e Gibiyoni. Ebibinja byombi ne batuula, ekimu ku ludda olumu olw'ekidiba, n'ekirala ku ludda olulala.
14
Abuneeri n'agamba Yowaabu nti: “Ka abavubuka bajje okuva ku buli ludda, balwanire mu maaso gaffe.” Yowaabu n'addamu nti: “Kale bajje.”
15
Awo ne beesowolayo abavubuka kkumi na babiri aba Yisiboseti mutabani wa Sawulo ab'Ekika kya Benyamiini, n'abavubuka kkumi na babiri aba Dawudi.
16
Buli omu n'akwata ow'oku ludda olulala ku mutwe, n'amufumita ekitala mu mbiriizi, ne bagwira wamu. Awo ekifo ekyo ekiri mu Gibiyoni kyebaava bakiyita, “Ennimiro y'Ebitala.”
17
Awo olutalo olw'amaanyi ne lubalukawo ku lunaku olwo, basajja ba Dawudi ne bawangula Abuneeri n'Abayisirayeli.
18
Batabani ba Zeruyiya abasatu: Yowaabu, Abisaayi, ne Asayeeli, nabo baaliyo. Asayeeli eyaddukanga embiro ng'empeewo,
19
n'asituka n'awondera Abuneeri awatali kuwunjawunja.
20
Abuneeri bwe yatunula emabega n'agamba nti: “Asayeeli ggwe wuuyo?” Asayeeli n'amuddamu nti: “Nze nzuuno.”
21
Abuneeri n'agamba nti: “Lekera awo okumpondera! Kyukira ku mukono gwo ogwa ddyo oba ogwa kkono okwate omu ku bavubuka, weenyagire by'alina.” Naye Asayeeli n'ayongera bwongezi okumuwondera.
22
Abuneeri n'addamu nate okugamba Asayeeli nti: “Lekera awo okumpondera! Lwaki ompaliriza okukutta? Nnaalabika ntya mu maaso ga muganda wo Yowaabu nga nkusse?”
23
Naye Asayeeli era n'ayongera okumuwondera. Awo Abuneeri n'afumita Asayeeli omuwunda gw'effumu lye, ne limuyita mu lubuto ne ligguka emabega. Asayeeli n'agwa n'afiirawo amangwago. Awo buli muntu eyatuukanga mu kifo ekyo Asayeeli mwe yafiira ng'ayimirira.
24
Naye Yowaabu ne Abisaayi ne bawondera Abuneeri. Awo enjuba ng'egolooba, ne batuuka ku lusozi lw'e Amma oluli mu maaso ga Giya, ku luguudo olugenda mu ddungu ly'e Gibiyoni.
25
Awo Ababenyamiini ne bakuŋŋaanira awali Abuneeri, ne bongera okwenyweza nga bali wamu ku ntikko y'olusozi.
26
Abuneeri n'akoowoola Yowaabu n'amugamba nti: “Tunaalwana kutuusa ddi? Tomanyi nga ku nkomerero tewali kirungi kinaavaamu, okuggyako obulumi obwereere? Tuli bannansi bannammwe, oliragira ddi basajja bo okukoma okutuwondera?”
27
Yowaabu n'addamu nti: “Mu mazima ga Katonda omulamu, singa towanjaze, basajja bange babadde bakyakuwondera okutuusa enkeera.”
28
Awo Yowaabu n'afuuwa ekkondeere okulabula basajja be ne balekera awo okuwondera Abayisirayeli. Awo olutalo ne lulyoka luggwa.
29
Abuneeri ne basajja be ne batambula ekiro kyonna nga bayita mu kiwonvu kya Yorudaani, ne basomoka Omugga Yorudaani, ne batambula mu budde obw'enkya bwonna ne bagguka nate e Mahanayimu.
30
Awo Yowaabu bwe yakomawo ng'ava okuwondera Abuneeri, n'akuŋŋaanya basajja be bonna, n'asanga nga kubulako kkumi na mwenda nga tobaliddeemu Asayeeli.
31
Abaweereza ba Dawudi batta ebikumi bisatu mu nkaaga ku ba Abuneeri, abasibuka mu Kika kya Benyamiini.
32
Yowaabu ne basajja be, ne batwala omulambo gwa Asayeeli, ne baguziika ku kiggya ky'ewaabwe e Betilehemu. Yowaabu ne basajja be ne batambula ekiro kyonna, era obudde okukya nga batuuse mu Heburooni.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24