bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Samuel 12
2 Samuel 12
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 13 →
1
Awo Mukama n'atuma Natani eri Dawudi. Natani n'agenda gy'ali n'amugamba nti: “Waaliwo abantu babiri mu kibuga ekimu. Omu yali mugagga, omulala nga mwavu.
2
Omugagga yalina endiga n'ente nnyingi nnyo.
3
Naye omwavu teyalina kantu, okuggyako akaana k'endiga akaluusi ke yagula nga kato, n'akalabirira, ne kakulira mu maka ge wamu n'abaana be. Kaalyanga ku kamere ke, ne kanywa ku kikopo kye, n'akaleranga, nga kali ng'omwana we ow'obuwala.
4
Awo olwatuuka ew'omugagga ne wajja omugenyi eyali yeetambulira eŋŋendo ze. Omugagga n'atayagala kutta emu ku ndiga ze oba ku nte ze afumbire omutambuze oyo azze gy'ali, naye n'akwata omwana gw'endiga ogw'omwavu, n'agufumbira omuntu oyo azze gy'ali”.
5
Dawudi n'asunguwalira nnyo omuntu oyo. N'agamba Natani nti: “Ndayira Katonda omulamu, nti omuntu eyakola ekyo asaanira kufa!
6
Era omwana gw'endiga ogwo aguliwemu endiga nnya, kubanga ekyo kye yakola yakikola nga talina kusaasira.”
7
Natani n'agamba Dawudi nti: “Omuntu oyo, ye ggwe. Era bw'ati Mukama Katonda wa Yisirayeli bw'agamba nti: ‘Nakufukako omuzigo okuba kabaka wa Yisirayeli, ne nkuggya mu mikono gya Sawulo,
8
ne nkuwa ennyumba ya mukama wo, ne bakazi be ne mbakuwa babe babo, ne nkuwa abantu ab'omu nnyumba ya Yisirayeli n'ab'omu ya Yuda. Era singa ebyo bibadde bitono nnyo, nandikwongedde n'ebirala ebisingawo.
9
Kale lwaki onyoomye ekigambo kya Mukama n'okola ebibi mu maaso ge? Watta Wuriya Omuhiiti, Abammoni gwe battira mu lutalo, n'otwala mukazi we okuba mukazi wo.
10
Kale nno olutalo teruubulenga mu nnyumba yo ennaku zonna, kubanga onnyoomye, n'otwala muka Wuriya Omuhiiti okuba mukazi wo.’
11
Mukama agamba nti: ‘Laba, ndireeta akabi mu nnyumba yo, ntwale bakazi bo ng'olaba, mbawe musajja munno yeebake nabo emisana ttuku.
12
Ggwe wakikola mu kyama, naye nze ekyo ndikikola ng'Abayisirayeli bonna balaba, era ng'enjuba eyaka.’ ”
13
Awo Dawudi n'agamba Natani nti: “Nkoze ekibi ne nnyiiza Mukama.” Natani n'agamba Dawudi nti: “Mukama naye aggyeewo ekibi kyo, toofe.
14
Wabula nga bw'owadde abalabe ba Mukama omwagaanya omunene okuvvoola olw'ekikolwa ekyo, omwana akuzaaliddwa ajja kufa.”
15
Natani n'addayo ewuwe. Awo Mukama n'alwaza omwana, muka Wuriya gwe yazaalira Dawudi, omwana oyo n'alwala nnyo.
16
Dawudi kyeyava asabira omwana eri Katonda, Dawudi n'atabaako k'alya. N'ayingira mu nnyumba, n'amala ekiro kyonna ng'agalamidde wansi.
17
Abakungu be ab'omu lubiri, ne bajja w'ali, bamuyimuse ave wansi, n'agaana era n'atakkiriza kulya nabo.
18
Ku lunaku olw'omusanvu omwana n'afa. Abaweereza ba Dawudi ne batya okumubuulira nti omwana afudde, kubanga baagamba nti: “Omwana ng'akyali mulamu Dawudi twayogera naye n'agaana okuwuliriza kye tumugamba, kale tunaamugamba tutya nti omwana afudde! Taanakuwale nnyo?”
19
Kyokka Dawudi bwe yalaba ng'abaweereza be boogera mu bwama, n'ategeera nti omwana afudde. Awo Dawudi n'ababuuza nti: “Omwana afudde?” Ne bamuddamu nti: “Afudde.”
20
Awo Dawudi n'ava wansi, n'anaaba, ne yeesiiga omuzigo, n'ayambala ebyambalo ebirala, n'agenda mu Ssinzizo, n'asinza. Awo n'alyoka addayo mu nnyumba ye, n'asaba emmere, ne bagimuleetera n'alya.
21
Awo abaweereza be ne bamugamba nti: “Kiki kino ky'okoze? Wasiiba n'okaabira omwana wo nga tannafa, naye omwana bw'afudde ogolokose n'olya emmere.”
22
Dawudi n'abaddamu nti: “Omwana bwe yali ng'akyali mulamu, nasiiba ne nkaaba, kubanga nalowooza nti oboolyawo Mukama ayinza okunkwatirwa ekisa, omwana n'atafa.
23
Naye kaakano ng'amaze okufa, kiki ekinsiibya? Nkyasobola okumuzza? Nze ndigenda gy'ali, wabula ye takyadda gye ndi.”
24
Awo Dawudi n'akubagiza mukazi we Batuseba. N'agenda gy'ali ne yeebaka naye, n'azaala omwana ow'obulenzi, Dawudi n'amutuuma erinnya Solomooni. Mukama n'ayagala nnyo omwana,
25
era n'alagira omulanzi Natani omwana amutuume erinnya Yedidiya, kubanga Mukama yamwagala.
26
Awo Yowaabu n'alumba Rabba, ekibuga ekikulu eky'Abammoni, n'akiwamba.
27
Yowaabu n'atuma ababaka eri Dawudi, n'amugamba nti: “Nnumbye Rabba ne mpamba ekifo ekirimu amazzi.
28
Kale nno kuŋŋaanya abantu bonna abasigaddewo ozingize ekibuga okiwambe, sikulwa nga nze nkiwamba ne kiyitibwa erinnya lyange.”
29
Awo Dawudi n'akuŋŋaanya wamu abantu bonna n'agenda e Rabba, n'akirwanyisa, n'akiwamba.
30
Dawudi n'aggya engule ku mutwe gwa kabaka waabwe, n'agiteeka ku mutwe gwe. Engule eyo yali ya zaabu n'amayinja ag'omuwendo, ng'ezitowa kilo nga amakumi asatu mu ttaano. Dawudi n'anyaga n'ebitundu ebirala bingi nnyo mu kibuga.
31
Abantu baamu n'abaggyamu, n'abakozesa emirimu nga bakozesa emisumeeno, n'ensuuluulu, n'embazzi, era n'abakozesa mu kwokya amatoffaali. Era bw'atyo bwe yakola abantu bonna mu bibuga by'Abammoni. Awo Dawudi n'abantu be bonna ne baddayo e Yerusaalemu.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24