bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Samuel 24
2 Samuel 24
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
1
Awo Mukama era n'asunguwalira nnyo Abayisirayeli, n'akubiriza Dawudi abaleetere akabi ng'amugamba nti: “Genda obale abantu bonna ab'omu Yisirayeli ne Buyudaaya.”
2
Bw'atyo Dawudi n'agamba Yowaabu omuduumizi w'eggye eyali naye nti: “Genda kaakano oyiteeyite mu Bika bya Yisirayeli byonna, okuva e Daani okutuuka e Beruseba, mubale abantu ntegeere bwe benkana obungi.”
3
Yowaabu n'agamba kabaka nti: “Mukama Katonda wo ayaze abantu ba Yisirayeli, beeyongere obungi emirundi kikumi era naawe obeerabireko. Wabula, mukama wange kabaka, lwaki osanyukira ekintu ekyo?”
4
Naye Yowaabu n'abakulu b'eggye ne bawalirizibwa okukola ekyo kabaka kye yalagira. Bw'atyo Yowaabu n'abaduumizi b'eggye ne bava mu maaso ga kabaka, ne bagenda okubala abantu ba Yisirayeli.
5
Ne basomoka omugga Yorudaani ne basiisira mu Aloweri ku ludda olwa ddyo olw'ekibuga ekiri mu makkati g'ekiwonvu kya Gaadi, n'okutuuka e Yazeri.
6
Ne batuuka e Gileyaadi ne mu nsi ey'e Tatimu Hodusi, ne batuuka e Dani-yaani, ne beetooloola okutuuka e Sidoni.
7
Ne batuuka mu kigo ekigumu eky'e Tiiro, ne mu bibuga byonna eby'Abahiivi n'eby'Abakanaani ne bamalira e Beruseba mu bukiikaddyo bwa Buyudaaya.
8
Awo ne baddayo mu Yerusaalemu nga bayise mu kitundu ekyo kyonna, okumala emyezi mwenda n'ennaku amakumi abiri.
9
Awo Yowaabu n'awa kabaka omuwendo gw'abantu be baabala. Mu Yisirayeli mwalimu abasajja emitwalo kinaana abasobola okulwana, ne mu Buyudaaya mwalimu emitwalo amakumi ataano.
10
Awo Dawudi ng'amaze okubala abantu ne yeeraliikirira mu mutima, n'agamba Mukama nti: “Nnyonoonye nnyo olw'ekyo kye nkoze. Naye kaakano, Ayi Mukama nkwegayiridde sonyiwa ekibi kyange nze omuweereza wo. Nkoze kya busirusiru nnyo.”
11
Gaadi omulanzi ye yali omuwi w'amagezi owa Dawudi. Dawudi bwe yazuukuka ku makya, Mukama n'agamba Gaadi nti:
12
“Genda ogambe Dawudi nti: ‘Mukama agamba nti akuteereddewo ebintu bisatu, olondeko kimu ky'aba akukolako.’ ”
13
Gaadi n'agenda eri Dawudi n'amubuulira. N'amugamba nti: “Ku bisatu olondako kiruwa? Enjala okugwa mu nsi yo okumala emyaka musanvu, oba ggwe okumala emyezi esatu ng'odduka abalabe bo abakuyigganya, oba okugwirwa kawumpuli mu nsi yo okumala ennaku ssatu? Lowooza olabe kye nnaddiza oyo antumye.”
14
Dawudi n'agamba Gaadi nti: “Kaakati nsobeddwa nnyo. Wabula ka tubonerezebwe Mukama kubanga ye alina okusaasira kungi, naye nneme kubonerezebwa bantu.”
15
Awo Mukama n'asindika kawumpuli mu Yisirayeli, okuva ku makya ago okutuuka ku kiseera ekyateekebwawo. Ne wafa abantu emitwalo musanvu, okuva e Daani okutuuka e Beruseba.
16
Awo malayika bwe yagolola omukono gwe okuzikiriza Yerusaalemu, Mukama ne yeddamu olw'akabi ako. N'agamba malayika eyali azikiriza abantu nti: “Kinaamala, lekera awo!” Malayika yali mu gguuliro lya Arawuna Omuyebusi.
17
Awo Dawudi bwe yalaba malayika eyali atta abantu, n'agamba Mukama nti: “Nze nnina omusango, nze nakola eby'obubambaavu, naye abantu bano bakoze ki? Nkwegayiridde, bonereza nze n'ab'omu nnyumba ya kitange.”
18
Ku lunaku olwo Gaadi n'agenda eri Dawudi n'amugamba nti: “Genda ozimbire Mukama alutaari mu gguuliro lya Arawuna Omuyebusi.”
19
Awo Dawudi n'agenda nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Gaadi.
20
Awo Arawuna bwe yalengera nga kabaka n'abakungu be bajja gy'ali, n'avaayo n'avuunamira kabaka.
21
N'agamba nti: “Mukama wange kabaka, kiki ekikuleese eri omuweereza wo?” Dawudi n'agamba nti: “Ekindeese njagala onguze egguuliro lyo, nzimbiremu Mukama alutaari, kawumpuli aziyizibwe mu bantu.”
22
Awo Arawuna n'agamba Dawudi nti: “Mukama wange, kabaka, twala oweeyo eri Mukama buli ky'olaba nga kirungi. Ente ziizino, zibe ekiweebwayo ekyokebwa, n'ebiwuula era n'amatandiiko g'ente bibeere enku.
23
Ebyo byonna, ayi kabaka, nze Arawuna mbikuwa.” Arawuna n'ayongera okugamba kabaka nti: “Mukama Katonda wo akkirize ekitambiro ky'onoomuwa.”
24
Kabaka n'agamba Arawuna nti: “Nedda. Nja kubikugulako buguzi, omuwendo gw'onoolamula. Sijja kuwaayo eri Mukama Katonda wange, ebiweebwayo ebyokebwa bye siguze.” Awo Dawudi n'agula egguuliro n'ente ezo ku muwendo gwa bitundu bya ffeeza amakumi ataano.
25
Awo Dawudi n'azimbira Mukama alutaari, n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebiweebwayo olw'okutabagana. Awo Mukama n'awulira Dawudi bye yasabira ensi, kawumpuli n'aziyizibwa mu Yisirayeli.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24