bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Samuel 14
2 Samuel 14
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 15 →
1
Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'amanya nga kabaka alumirwa Abusaalomu.
2
Bw'atyo Yowaabu n'atumya omukazi omugezi e Tekowa. Bwe yatuuka n'amugamba nti: “Weefuule afiiriddwa, oyambale ebyambalo eby'okukungubaga, era teweesiiga wadde akazigo, obeere ng'amaze ebbanga eddene ng'okungubagira omufu.
3
Awo olyoke ogende eri kabaka omugambe bye nnaakugamba okwogera.” Awo Yowaabu n'amugamba by'anaayogera.
4
Awo omukazi ow'e Tekowa n'agenda eri kabaka, n'avuunama okumuwa ekitiibwa. N'amugamba nti: “Ayi Ssaabasajja, nnyamba!”
5
Kabaka n'amubuuza nti: “Obadde otya?” Omukazi n'amuddamu nti: “Zansanga dda! Ndi mukazi nnamwandu, baze yafa. Nze omuweereza wo
6
nalina batabani bange babiri, ne balwanira ku ttale nga tewali abataasa, omu n'akuba munne n'amutta.
7
Kaakano ab'ekika bonna bannyimukiddemu nze omuweereza wo. Baŋŋamba nti: ‘Waayo oyo eyatta muganda we, tumutte olw'okutta muganda we, bwe tutyo tutte n'omusika.’ Kale bwe banaamutta, nnaaba nsigaliddewo nga sirina mwana, era banaaba bazikirizza erinnya lya baze, nga talinaawo zzadde lisigaddewo ku nsi.”
8
Kabaka n'agamba omukazi oyo nti: “Ddayo ewuwo, nja kulagira, ensonga zo zikolebweko.”
9
Omukazi oyo ow'e Tekowa n'agamba kabaka nti: “Mukama wange, ayi kabaka, omusango gubeere ku nze ne ku b'ennyumba ya kitange. Ggwe, ayi kabaka, n'entebe yo ey'obwakabaka, obe nga toliiko musango.”
10
Kabaka n'amuddamu nti: “Buli akutiisatiisa mundeetere, tagenda kuddamu kukutawaanya.”
11
Omukazi n'agamba nti: “Nkwegayiridde, ayi kabaka, ojjukire Mukama Katonda wo, omuntu oyo omuwoolezi w'eggwanga ery'okuyiwa omusaayi, aleme okweyongera okuzikiriza, baleme okuzikiriza mutabani wange.” Kabaka n'agamba nti: “Mukama nga bw'ali omulamu, tewaliba wadde oluviiri n'olumu olwa mutabani wo, oluligwa wansi.”
12
Omukazi n'amugamba nti: “Mukama wange, kabaka, nkwegayiridde nzikiriza nze omuweereza wo, mbeeko ekirala kye nkubuulira.” Kabaka n'amugamba nti: “Yogera.”
13
Omukazi n'agamba nti: “Kale lwaki wateeseza abantu ba Katonda ekintu ekifaanana bwe kityo? Weesingisa wekka omusango mu ekyo ky'ova okwogera, ayi kabaka, bw'ogaana okukomyaawo mutabani wo eyagobebwa.
14
Ffenna tuli ba kufa, era tuli ng'amazzi agayiise ku ttaka agatayinza kuyoolebwa. Era ne Katonda, omuntu bw'afa, tamukomyawo mu bulamu. Kyokka kabaka asobola okusala amagezi n'akomyawo oyo eyagobebwa, aleme okusigala mu buwaŋŋanguse.
15
Kale nno, Mukama wange kabaka, kubanga abantu bantiisizzatiisizza kyenvudde nzija nze omuweereza wo njogereko naawe, nga nsuubira nti ayi kabaka, nze omuweereza wo, ononkolera kye nkusaba.
16
Ddala ayi kabaka, ojja kuwulira, omponye oyo ayagala okunzikiriza nze ne mutabani wange, atuggye mu butaka bwaffe Katonda bwe yatuwa.
17
Awo nze omuweereza wo ne ŋŋamba nti ekigambo kyo mukama wange kabaka, kinampa emirembe, kubanga ggwe kabaka oli nga malayika wa Katonda, asobola okwawula ekirungi n'ekibi. Mukama Katonda wo abeere naawe!”
18
Awo kabaka, n'agamba omukazi nti: “Tobaako ky'onkisa ku kye ŋŋenda okukubuuza.” Omukazi n'agamba nti: “Mukama wange kabaka, mbuuza.”
19
Kabaka n'amubuuza nti: “Yowaabu yateesezza naawe mu bino byonna?” Omukazi n'addamu nti: “Nga bw'oli omulamu, ayi mukama wange kabaka, tewali ayinza kubuzaabuza okweggya ku ekyo, ayi mukama wange kabaka ky'oyogedde, kubanga omuweereza wo Yowaabu ye yandagidde era ye yaŋŋambye ebyo byonna bye njogedde nze omuweereza wo.
20
Olw'okwagala okukyusa ebiriwo, omuweereza wo Yowaabu kye yavudde akola bw'atyo. Era ggwe Mukama wange, oli mugezi nga malayika wa Katonda, okumanya byonna ebiri mu nsi.”
21
Awo kabaka n'agamba Yowaabu nti: “Kaakano nzikirizza. Genda okomyewo omuvubuka oyo Abusaalomu.”
22
Awo Yowaabu n'avuunama okussaamu kabaka ekitiibwa, n'amwebaza ng'agamba nti: “Kaakano nze omuweereza wo ntegedde ng'onjagala ayi mukama wange kabaka, kubanga ayi kabaka okkirizza nze omuweereza wo kye nkusabye.”
23
Yowaabu n'asituka n'agenda e Gesuri, n'akomyawo Abusaalomu mu Yerusaalemu.
24
Awo kabaka n'agamba nti: “Agende mu nnyumba eyiye, era aleme okujjanga mu maaso gange.” Awo Abusaalomu n'abeera mu nnyumba eyiye, n'atajjanga mu maaso ga kabaka.
25
Mu Yisirayeli yonna, temwali muntu mulungi mu ndabika ye nga Abusaalomu. Okuva wansi ku bigere bye okutuuka ku mutwe gwe ku bwetikkiro, teyaliiko kamogo.
26
Buli nkomerero ya mwaka, Abusaalomu yasalanga enviiri ku mutwe gwe, kubanga zaamuzitoowereranga. Bwe yazisalanga, n'azipima, zaawezanga kilo bbiri mu bipimo bya kabaka.
27
Abusaalomu yalina batabani be basatu ne muwala we omu gwe bayita Tamari eyali omukazi omulungi ennyo mu ndabika ye.
28
Awo Abusaalomu n'amala emyaka ebiri mu Yerusaalemu, nga talabaganye na kabaka.
29
Awo Abusaalomu n'atumira Yowaabu, amutume eri kabaka, kyokka Yowaabu n'atakkiriza kujja gy'ali. Abusaalomu n'amutumya omulundi ogwokubiri, era Yowaabu n'agaana okujja.
30
Awo Abusaalomu n'agamba abaweereza be nti: “Mugende mwokye omusiri gwa Yowaabu ogw'eŋŋaano oguliraanye n'ogwange.” Ne bagenda ne bagwokya.
31
Awo Yowaabu n'asituka n'agenda ewa Abusaalomu, n'amubuuza nti: “Lwaki abaweereza bo bookezza omusiri gwange?”
32
Abusaalomu n'addamu Yowaabu nti: “Laba nakutumira nga ŋŋamba nti: ‘Jjangu wano, nkutume eri kabaka okumubuuza nti naviira ki e Gesuri? Waakiri nandisigadde eyo n'okutuusa kati. Kale kaakano ka ŋŋende ndabe kabaka. Era oba nga nnina omusango, anzite.’ ”
33
Awo Yowaabu n'agenda eri kabaka n'amubuulira. Abusaalomu n'ajja eri kabaka, n'avuunama mu maaso ge. Kabaka n'anywegera Abusaalomu.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24