bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Kings 10
2 Kings 10
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 11 →
1
Mu Samariya mwalimu abaana nsanvu ab'omu nnyumba ya Akabu. Yewu n'awandiika ebbaluwa n'aziweereza mu Samariya eri abakungu ba Yezureeli, eri abakadde, n'eri abakuza ba batabani ba Akabu. Yali esoma bw'eti:
2
“Ebbaluwa eno bw'ebatuukako, mmwe abalina batabani ba mukama wammwe, ebigaali, embalaasi, ekibuga ekiriko ekigo, n'ebyokulwanyisa,
3
mulondemu asingamu obulungi n'okusaanira mu baana ba mukama wammwe, mumuteeke ku nnamulondo ya kitaawe. Olwo mulwanirire ennyumba ya mukama wammwe.”
4
Ne bamutya nnyo nnyo; ne bagamba nti: “Bakabaka ababiri we bataasobolera kumugumira, ffe tunaasobola tutya?”
5
Ne basindika ewa Yewu katikkiro w'olubiri, omukulu w'ekibuga, abakadde n'abakuza b'abaana, ne bagamba nti: “Tuli baweereza bo; kyonna ky'onoolagira tujja kukikola. Tetujja kussaawo kabaka; ggwe kyonna ky'oyagala ky'oba okola.”
6
N'abawandiikirayo ebbaluwa eyookubiri ng'esoma nti: “Oba muli bange n'okumpulira nga mujja kumpulira, mukwate emitwe gy'abasajja batabani ba mukama wammwe, mujje gye ndi enkya mu Yezureeli ku ssaawa ng'eno.” Batabani ba kabaka, abasajja nsanvu, baabeeranga wa bakuza baabwe, abaali abantu abamanyifu mu kibuga.
7
Ebbaluwa bwe yabaatuukako, ne baddira batabani ba kabaka, abasajja nsanvu, ne babasanjaga; emitwe gyabwe ne bagiteeka mu bisero, ne bagiweereza ewa Yewu mu Yezureeli.
8
Omubaka n'ajja n'ategeeza kabaka nti: “Baleese emitwe gya batabani ba kabaka.” N'abagamba nti: “Mugituume entuumu bbiri eri ku muzigo gwa wankaaki w'ekibuga okutuusa enkya.”
9
Bwe bwakya, Yewu n'afuluma, n'ayimirira n'agamba abantu bonna nti: “Mmwe temuliiko musango; nze neekobera mukama wange ne mmutta; naye ani yasse bano bonna?
10
Mutegeere nno nti byonna Omukama bye yayogera ku nnyumba ya Akabu mpaawo kinaagwa butaka; Omukama akoze kye yayogera ng'ayita mu muweereza we Eliya.”
11
Yewu bw'atyo n'atta bonna abaali bakyasigaddewo mu Yezureeli ab'ennyumba ya Akabu, abakungu be bonna, mikwano gye ne bakabona, n'atamulekerawo muntu n'omu yawonawo.
12
Yewu n'asituka, n'agenda, n'alaga mu Samariya. Bwe yatuuka e Beti-Ekedi Aloyimu,
13
n'asanga ab'oluganda lwa Akaziya kabaka wa Yuda, n'ababuuza nti: “Mmwe b'ani?” Bo ne baanukula nti: “Baganda ba Akaziya; tuserengeta kubuuza ku baana ba kabaka ne nnamasole.”
14
N'alagira nti: “Mubakwate nga balamu.” Bwe baamala okubakwata nga balamu, ne babasanjagira kumpi n'ekidiba ky'e Beti-Ekedi, abasajja amakumi ana; teyatalizaawo n'omu.
15
Bwe yava eyo, n'asanga Yonadabu, mutabani wa Rekabu eyali ajja okumusisinkana. Yamulamusa n'amubuuza nti: “Omutima gwo mwesimbu gye ndi ng'ogwange bwe guli omwesimbu?” Yonadabu n'addamu nti: “Bwe guli.” N'amugamba nti: “Oba bwe guli, mpeereza omukono gwo.” N'agumuweereza. Yewu n'amulinnyisa mu kigaali.
16
N'amugamba nti: “Jjangu nange, olabe nga bwe ntakabanira Omukama.” N'amutwalako ku kigaali kye.
17
Bwe baatuuka mu Samariya, n'atta ab'ennyumba ya Akabu bonna abaali bakyasigadde mu Samariya, n'abasanyaawo, ng'ekigambo ky'Omukama kye yali agambye Eliya.
18
Yewu n'akuŋŋaanya abantu bonna n'abagamba nti: “Akabu yagulumiza katono Baali, Yewu ajja kusinzaawo.
19
Kale nno muyite abalanzi ba Baali bonna, abaweereza be ne bakabona be bonna, buli omu ajje gye ndi; tewabulawo n'omu, kubanga ntegese okuweereza Baali ekitambiro ekinene. Buli anaabulawo tajja kulama.” Yewu yali abakolera lukwe ng'ayagala kuzikiriza bonna abaweereza Baali.
20
N'agamba nti: “Musseewo olukuŋŋaana olw'ekitiibwa okugulumiza Baali.” Ne balulangirira.
21
Yewu n'atumya wonna mu Yisirayeli, abaweereza ba Baali bonna ne bajja; tewali yasigalayo. Ne bayingira mu kiggwa kya Baali, ne kijjula okuva ku nsonda emu okutuuka ku ndala.
22
Yewu yagamba eyali akuuma etterekero ly'ebyambalo nti: “Abaweereza ba Baali bonna baleetere ebyambalo.” N'abaleetera ebyambalo.
23
Yewu n'ayingira mu kiggwa kya Baali wamu ne Yonadabu mutabani wa Rekabu, n'agamba abaweereza ba Baali nti: “Muyiseeyise amaaso mulabe nti temuli muweereza wa Mukama abegasseeko; abaweereza ba Baali be baba babeeramu bokka.”
24
Awo ne bayingira okuweereza ebitambiro ebyokye n'ebitone. Yewu ebweru yali ategeseeyo abasajja kinaana ng'abagambye nti: “Buli anaaleka omu ku bantu bano be ntadde mu mikono gyammwe n'adduka, obulamu bwe bwe bunaasasulira obw'oli.”
25
Bwe yamala ati okuweereza ekitambiro ekyokye, Yewu n'alagira abakuumi be n'abagabe ab'oku bigaali nti: “Muyingire mubatte; tewaba avaamu.” Abakuumi n'abagabe ne babassa ebitala ebyogi, ne babakasuka ebweru. Awo ne bayingira mu kisenge eky'omunda mu kiggwa kya Baali.
26
Eyo baggyayo empagi mu kiggwa kya Baali ne bagyokya.
27
Baayasaayasa empagi ya Baali n'ekiggwa kye ne bakyabya, ne bakikolamu ekiyigo ekikyamirwamu; bwe kikyali n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
28
Yewu bw'atyo n'azikiriza Baali mu Yisirayeli.
29
Kyokka Yewu teyava ku bibi bya Yerobowamu mutabani wa Nebati bye yaleetera Yisirayeli okugwamu, yadde okuggyawo obuyana obwa zaabu obwali mu Beteli ne mu Daani.
30
Naye Omukama n'agamba Yewu nti: “Kubanga okoze bulungi n'otuukiriza ekituufu mu maaso gange, n'okola ennyumba ya Akabu byonna bye mbadde nteesa okugikola, abaana bo bajja kutuula ku nnamulondo ya Yisirayeli okutuusa ku zzadde eryokuna.”
31
Kyoka Yewu teyeekuuma kutuukiriza tteeka lya Mukama Katonda wa Yisirayeli na mutima gwe gwonna, kubanga teyava ku bibi bya Yerobowamu bye yaleetera Yisirayeli okugwamu.
32
Mu nnaku ezo Omukama n'asooka okutema ku Yisirayeli. Kazayeli n'abawangula mu bitundu byabwe byonna,
33
ebuvanjuba wa Yorudani mu bitundu byonna ebya Gileyaadi, kwe kugamba, ebya Gaadi, Rubeni ne Manasse, okuva ku Aroweri ekiri mu Kiwonvu Arunoni, Gileyaadi ne Basani.
34
Ebirala mu bifaayo bya Yewu na byonna bye yakola, obuzira bwe, byonna byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yisirayeli.
35
Yewu n'agalamira ne bajjajjaabe, ne bamuziika mu Samariya; mutabani wa Yowakazi n'amusikira ku bwakabaka.
36
Ebbanga Yewu lye yamala ku bwakabaka bwa Yisirayeli mu Samariya gyali emyaka amakumi abiri mu munaana.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25