bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Kings 6
2 Kings 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 7 →
1
Bannakibiina ky'abalanzi ne bagamba Elisa nti: “Laba, ekifo we tusula naawe kitufundiridde.
2
Tugende ku Yorudani, buli omu atemeyo empagi, twezimbire ekifo we tunaasula.” N'abagamba nti: “Mugende.”
3
Omu ku bo n'agamba nti: “Naawe mala gatukkiriza ojje wamu n'abaweereza bo.” N'ayanukula nti: “Nzija kujja.”
4
N'agenda nabo. Ne bagenda ku Yorudani, ne batema emiti.
5
Omu bwe yali atema omuti, omutwe gw'embazzi ne gugwa mu mazzi, n'aleekaana nti: “Ndabye, mukama wange! Eno ebadde neeyazike.”
6
Omuntu wa Katonda n'agamba nti: “Egudde wa?” N'amulaga ekifo. Elisa n'atema akati, n'akakasukayo, omutwe gw'embazzi ne gubbulukuka.
7
Elisa n'amugamba nti: “Kwata, oguggyeyo.” Omusajja n'agolola omukono n'agukwata.
8
Kabaka wa Aramu yali alwana ne Yisirayeli, n'ateesa n'abaweereza be n'agamba nti: “Tusiisire mu kifo ekimu.”
9
Omuntu wa Katonda n'atumira kabaka wa Yisirayeli n'agamba nti: “Wekkaanye, toyita mu kifo ekyo, kubanga Abaaramu gye bakkirira.”
10
Kabaka wa Yisirayeli n'asindika abasajja mu kifo omuntu wa Katonda kye yali amugambye. Elisa yalabulanga kabaka ntakera, kabaka n'abanga mwetegefu.
11
Omutima gwa kabaka wa Aramu ne gutabuka olw'ekyo; n'ayita abaweereza be, n'agamba nti: “Lwaki temumbuulira oyo mu ffe akolagana ne kabaka wa Yisirayeli?”
12
Omu ku baweereza be n'amugamba nti: “Mu ffe temuli n'omu, mukama wange kabaka, wabula Elisa omulanzi ali mu Yisirayeli y'abuulira kabaka wa Yisirayeli ebigambo byonna by'oba oyogeredde mu kisenge mw'osula.”
13
N'agamba nti: “Mugende, muzuule w'ali, nsindikeyo abasajja bamukwate.” Ne bimutuuka nti: “Ali mu Dotani.”
14
N'asindikayo embalaasi, ebigaali n'eggye ery'amaanyi. Ne bajja ekiro, ne beetooloola ekibuga.
15
Mu matulutulu omuweereza w'omuntu wa Katonda bwe yazuukuka n'alaba eggye, embalaasi n'ebigaali nga bizinze ekibuga, n'agamba nti: “Kitalo, mukama wange! Tunaakola ki?”
16
Ye n'amwanukula nti: “Leka kutya; abali naffe bangi okusinga abali ne bali.”
17
Elisa ne yeegayirira Katonda, n'agamba nti: “Ayi Mukama, zibula amaaso ge alabe.” Omukama n'azibula amaaso g'omuweereza, n'alaba olusozi nga lujjudde embalaasi n'ebigaali eby'omuliro nga byebunguludde Elisa.
18
Abalabe ne baserengeta gy'ali. Elisa ne yeegayirira Omukama nti: “Nkwegayiridde, abantu bano bazibe amaaso.” Omukama n'abaziba amaaso nga Elisa bwe yasaba.
19
Elisa n'abagamba nti: “Lino si lye kkubo, na kino si kye kibuga. Mungoberere, nzija kubatwala eri omusajja gwe munoonya.” N'abatwala mu Samariya.
20
Bwe baayingira mu Samariya, Elisa n'agamba nti: “Ayi Mukama, zibula amaaso gaabwe balabe.” Omukama n'azibula amaaso gaabwe, ne balaba nga bali mu Samariya.
21
Kabaka wa Yisirayeli bwe yabalaba, n'agamba Elisa nti: “Mbatte? Kitange, mbatte?”
22
N'addamu nti: “Totta. Wandisse abantu b'owambye n'akasaale ko n'omutego gwo? Bawe omugaati n'amazzi, balye, banywe, baddeyo ewa mukama waabwe.”
23
Ne babategekera embaga nnene ddala, ne balya, ne banywa, n'abasiibula, ne baddayo ewa mukama waabwe. Ebikwanga by'Abaaramu tebyaddayo mulundi mulala kunyaga mu nsi ya Yisirayeli.
24
Oluvannyuma, Beni-Adadi kabaka wa Aramu n'akuŋŋaanya eggye lye lyonna, n'agenda okuzinda Samariya.
25
Abazinda ekibuga olw'obutasegukako, enjala ddekabusa n'egwa mu Samariya, omutwe gw'endogoyi ne gutuuka okugula sekeli kinaana eza ffeeza, ate ekitundu kimu ekyokuna ekya kabu y'ensigo z'obutungulu obumererezi nga kigula sekeli za ffeeza ttaano.
26
Kabaka wa Yisirayeli bwe yali ayita kumpi n'ekisenge ky'ekibuga, omukazi n'aleekaana n'amugamba nti: “Ayi mukama wange kabaka, njuna.”
27
N'agamba nti: “Nedda, Omukama y'anaakujuna. Nnyinza kukujuna na ki? Nnaakiggya mu gguuliro, oba mu ssogolero lya vviini?”
28
Kabaka n'amubuuza nti: “Oyagala nkukolere ki?” N'ayanukula nti: “Omukazi ono yaŋŋambye nti: ‘Leeta mutabani wo tumulye olwa leero, mutabani wange tunaamulya enkeera.’
29
Bwe tutyo ne tufumba mutabani wange ne tumulya. Enkeera ne mmugamba nti: ‘Leeta mutabani wo, tumulye;’ naye mutabani we yakwese mukweke.”
30
Kabaka bwe yawulira ebigambo by'omukazi, n'ayuza ebyambalo bye; bwe yagenda ayitaayita ku bbugwe, abantu ne balaba nga munda ku mubiri ayambaliddeko ekikutiya.
31
N'agamba nti: “Omukama ankole bw'atyo, ate asinze nawo, singa omutwe gwa Elisa mutabani wa Safati gusigala ku nsingo ye olwa leero.”
32
Elisa yali atudde mu nnyumba ye, n'abakadde nga bali naye. Kabaka n'asoosaayo omubaka. Naye omubaka yali tannaba kutuuka, Elisa n'agamba abakadde nti: “Mumanyi ng'omutemu asindise wano omuntu antemeko omutwe? Kale nno omubaka bw'ajja, muggaleewo oluggi, mulunyigirize aleme kuyingira; enswagiro y'ebigere bya mukama we yiiyo emuvaako emabega.”
33
Aba akyayogera nabo omubaka n'atuuka w'ali. Kabaka n'agamba nti: “Akabenje kano kavudde wa Mukama; nkyalindira ki Omukama?”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25