bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Kings 4
2 Kings 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 5 →
1
Omu ku bakazi ba bannakibiina ky'abalanzi yawanjagira Elisa nti: “Omuweereza wo baze wange yafa; naawe omanyi nti omuweereza wo yali atya Omukama. Kati omuwozi wuuno azze atwale batabani bange bagende babe baddu be.”
2
Elisa n'amugamba nti: “Oyagala nkukolere ki? Mbuulira. Mu nnyumba yo olinayo kiki?” N'ayanukula nti: “Muzaana wo, mu nnyumba sirinaamu kantu wabula akasumbi k'omuzigo.”
3
N'amugamba nti: “Genda mu baliraanwa bo weeyazikeyo ensumbi zonna z'osobola okufuna. Tosaba ntono.
4
Olwo oyingire ne batabani bo mweggalire munda; ttululira mu nsumbi zonna, ejjula ng'ogiteeka ebbali.”
5
Omukazi n'ava w'ali, n'agenda ne yeggalira ne batabani be; bo baaleetanga ensumbi ye ng'azijjuza.
6
Bwe zaamala okujjula, n'agamba mutabani we nti: “Yongera endala.” N'ayanukula nti: “Tekyaliyo nsumbi ndala.” Omuzigo ne gulekera awo okujja.
7
Omukazi n'agenda n'ategeeza omuntu wa Katonda. Elisa n'amugamba nti: “Genda otunde omuzigo osasule akubanja. Ogusigaddewo ggwe ne batabani bo kwe munaggyanga eky'okubabeezaawo.”
8
Olumu Elisa yagenda e Sunemu. Waaliyo omukazi ow'ekitiibwa eyamwegayirira alye ewuwe emmere. Buli lwe yabanga ayise eyo, yakyamanga alye emmere.
9
Omukazi n'agamba bba nti: “Nekkaanyizza, ono omusajja atera okuyita wano ewaffe muntu wa Katonda mutuukirivu.
10
Tukoleyo ekisenge ekya waggulu mu kasolya, tumuteeremu ekitanda, emmeeza, entebe n'akatawaaza; bw'anajjanga wano, ng'abeera omwo.”
11
Olumu Elisa bwe yajja, n'ayambuka mu kisenge ekya waggulu, n'awummula.
12
N'agamba Gekazi omuweereza we nti: “Yita omukazi oyo Omusunemu.” N'amuyita; naye n'ayimirira awo mu maaso ge.
13
Elisa n'agamba omuweereza nti: “Mugambe nti: ‘Wuuno otutawaanidde okutulabirira mu byonna, oyagala nkukolere ki? Olina ekizibu kyonna kye wandyagadde nkwogerereyo ewa kabaka oba ew'omuduumizi w'eggye?’ ” N'ayanukula nti: “Amaka gange gali wakati mu bantu bange.”
14
N'amubuuza nti: “Awo nno tuyinza kumukolera ki?” Gekazi n'agamba nti: “Ndaba talina mwana, ne bba mukadde.”
15
Elisa n'agamba nti: “Muyite.” N'amuyita; omukazi n'ayimirira ku mulyango.
16
Elisa n'amugamba nti: “Mu budde nga buno mu mwaka ogujja oliba olera omwana wa bulenzi.” Ye n'ayanukula nti: “Mukama wange, muntu wa Katonda, nkwegayiridde, leka kulimba muzaana wo.”
17
Omukazi n'aba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi mu budde obwo bwennyini mu mwaka ogwaddirira, nga Elisa bwe yali agambye.
18
Omwana n'asuumuka. Olumu yagenda eri kitaawe gye yali n'abakesa,
19
n'akaabirira kitaawe nti: “Omutwe! Omutwe!” Kitaawe n'agamba omuweereza nti: “Mutwale ewa nnyina.”
20
Omuweereza n'amutwala, n'amutuusa ewa nnyina. N'atuula ku mubiri gwa nnyina okutuusa mu ttuntu, n'afa.
21
Nnyina n'ayambuka, n'amussa ku buliri bw'omuntu wa Katonda, n'aggalawo oluggi n'afuluma.
22
N'ayita bba n'amugamba nti: “Nkwegayiridde, mpa omu ku baweereza n'endogoyi, nzirukaneko ew'omuntu wa Katonda nkomewo.”
23
Bba n'amubuuza nti: “Ekikutwala gy'ali olwa leero kiki? Si lunaku lwa Kuboneka kwa Mwezi yadde Sabbaato.” N'ayanukula nti: “Tofaayo.”
24
N'atandiika endogoyi, n'alagira omuweereza we nti: “Goba endogoyi, genda; tobaako w'onnyimiriza, wabula nga nkulagidde.”
25
N'agenda, n'atuuka awali omuntu wa Katonda ku lusozi Karumeli. Omuntu wa Katonda n'amulengerera walako ng'ajja, n'agamba Gekazi omuweereza we nti: “Oyo si ye mukazi Omusunemu?
26
Yanguwako omusisinkane, omubuuze nti: ‘Oli bulungi? Balo mulungi? Omwana ali bulungi?’ ” N'addamu nti: “Bulungi.”
27
Bwe yatuuka awaali omuntu wa Katonda ku lusozi, n'amuvumbagira ebigere. Gekazi n'ajja okumusikawo; omuntu wa Katonda n'amugamba nti: “Muleke; omutima gwe gulimu ennyiike, ate Omukama ankisizza, tantegeezezza.”
28
Omukazi n'agamba nti: “Nze nasaba mukama wange omwana? Saakugamba nti: ‘Tonnimbalimba?’ ”
29
Elisa n'agamba Gekazi nti: “Weesibe ekimyu mu kiwato; kwata omuggo gwange mu mukono gwo ogende. Bwe wabaawo omuntu akusisinkana, tomubuuza; bwe wabaawo akulamusa, ggwe tomwanukula. Ojja kussa omuggo ggwange ku kyenyi ky'omwana.”
30
Nnyina w'omwana n'agamba nti: “Mazima Omukama nga mulamu, naawe ggwe ng'oli mulamu, sijja kukuta.” Elisa n'asituka n'amugoberera.
31
Gekazi yali yabasooseeyo dda, ng'amaze n'okussa omuggo mu kyenyi ky'omwana; kyokka tewaali ddoboozi yadde akanyego. N'akomawo okumusisinkana, n'amubuulira nti: “Omwana tazuukuse.”
32
Elisa n'ayingira mu nnyumba; omwana yali afudde ng'agalamiziddwa awo ku buliri bwe.
33
N'ayingira, ne yeggalira munda n'omwana, ne yeegayirira Omukama.
34
N'alinnya ku kitanda, n'agalamira ku mwana bulambalamba, n'assa omumwa gwe ku gw'omwana, amaaso ge ku maaso g'omwana, n'emikono gye ku mikono gy'omwana. Bwe yeevuunika ku mwana, omubiri gw'omwana n'egubuguma.
35
Elisa n'amuvaako, n'atambulatambula mu kisenge, nga bw'agenda bw'adda, oluvannyuma n'addako ku kitanda, n'agalamira ku mwana. Omwana n'ayasimula emirundi musanvu, n'azibula amaaso.
36
N'ayita Gekazi n'amugamba nti: “Yita omukazi Omusunemu.” N'amuyita. Bwe yayingira n'amugamba nti: “Kwako mutabani wo.”
37
N'ayingira, n'agwa ku bigere by'omulanzi, n'avunnama ku ttaka; n'akwata omwana we n'afuluma.
38
Elisa n'addayo e Gilugali. Ekitundu ekyo kyali kiguddemu enjala. Bannakibiina ky'abalanzi baali bakuŋŋaanidde w'ali. N'agamba omuweereza we nti: “Ssaako entamu ennene ofumbire bannakibiina ky'abalanzi enva.”
39
Omu n'afuluma n'alaga ku ttale anogeyo ebivaavava; n'asangayo omuzabbibu ogw'ettale, n'anogako entengo, n'ajjuza ekikondoolo kye. Bwe yakomawo n'asalaasalira mu ntamu y'enva. Baali tebabitegedde.
40
Ne basenera bannaabwe balye. Bwe baalyako ku nva, ne baleekaana nti: “Muntu wa Katonda, mu gutamu mulimu olumbe.” Enva ne zibalema okulya.
41
Elisa n'agamba nti: “Muleeteeyo obuwunga.” N'abuyiwa mu ntamu, n'agamba nti: “Senera abantu balye.” Mu ntamu mwali temukyali butwa na kamu.
42
Omusajja omu yava e Baali-Salisa ng'aleetedde omuntu wa Katonda emigaati amakumi abiri egya sayiri, n'empeke z'ebibala ebibereberye, ng'abitadde mu nsawo ye. Elisa n'amugamba nti: “Wa abantu balye.”
43
Omuweereza we n'amwanukula nti: “Nsobola ntya gino gyokka okugigabira abasajja ekikumi?” N'addamu n'amugamba nti: “Wa abantu balye. Kubanga Omukama kino ky'agamba: ‘Bajja kulya n'okulemwa balemwe.’ ”
44
N'agibagabira; baalya ne balemwa n'okulemwa, ng'Omukama bwe yali agambye.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25