bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Kings 15
2 Kings 15
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 16 →
1
Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu omusanvu ogwa Yerobowamu kabaka wa Yisirayeli, Azariya mutabani wa Amaziya, kabaka wa Yuda, n'afuuka kabaka.
2
We yafuukira kabaka nga wa myaka kkumi na mukaaga; yafugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yeruzaalemu. Nnyina yali ayitibwa Yekoliya, ng'asibuka mu Yeruzaalemu.
3
Yakola ekituufu mu maaso g'Omukama nga kitaawe Amaziya bwe yakola.
4
Kyokka ebifo ebigulumivu tebyaggyibwawo, abantu baasigala batambiririra n'okunyookeza obubaani mu bifo ebigulumivu
5
Omukama yabonereza kabaka n'ekigenge ekyamusigalako okutuusa ku kufa; yasulanga mu nnyumba njawufu yekka. Yotamu mutabani wa kabaka ye yafuganga olubiri, era ye yalamulanga n'abantu b'omu nsi.
6
Ebirala mu bifaayo bya Azariya ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yuda.
7
Azariya n'agalamira ne bajjajjaabe, ne bamuziika wamu nabo mu Kibuga kya Dawudi; Yotamu mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
8
Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omunaana ogwa Azariya kabaka wa Yuda, Zakariya mutabani wa Yerobowamu n'afuuka kabaka wa Yisirayeli mu Samariya; yafugira emyezi mukaaga.
9
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama, nga bajjajjaabe bwe baali bakoze; teyava mu bibi bya Yerobowamu mutabani wa Nebati bye yaleetera Yisirayeli okugwamu.
10
Sallumu mutabani wa Yabesi yamwekobera, n'amulumba n'amuttira e Yibulewamu, n'amusikira ku bwakabaka.
11
Ebirala mu bifaayo bya Zakariya byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yisirayeli.
12
Bwe kityo ekigambo ky'Omukama ne kituukirira kye yagamba Yewu nti: “Abaana bo bajja kutuula ku nnamulondo ya Yisirayeli okutuusa ku zzadde eryokuna.”
13
Sallumu mutabani wa Yabesi yafuuka kabaka mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omwenda ogwa Wuzziya kabaka wa Yuda; yafugira omwezi gumu mu Samariya.
14
Menakemu mutabani wa Gaadi yava e Tiruza n'agenda e Samariya n'alumba Sallumu mutabani wa Yabesi mu Samariya n'amutta, n'amusikira ku bwakabaka.
15
Ebirala mu bifaayo bya Sallumu n'olukwe lwe yakola byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yisirayeli.
16
Oluvannyuma Menakemu yava e Tiruza n'alumba Tifusa, na bonna abaakirimu n'ebitundu byakyo byonna ebikyetoolodde, kubanga baagaana okumuggulirawo emiryango gy'ekibuga. Abakazi bonna abaali embuto abaalimu n'ababaaga.
17
Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omwenda ogwa Azariya kabaka wa Yuda, Menakemu mutabani wa Gaadi yafuuka kabaka wa Yisirayeli; yafugira emyaka kkumi mu Samariya.
18
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama; ebbanga lyonna lye yafugira teyava mu bibi bya Yerobowamu mutabani wa Nebati bye yaleetera Yisirayeli okugwamu.
19
Mu nnaku ezo Pulu kabaka wa Assuri yazinda ensi; Menakemu n'awa Pulu talenta za ffeeza lukumi amuwe obuwagizi era amuyambe okumunywereza obwakabaka mu mikono gye.
20
Menakemu ssente yaziggya mu Yisirayeli; buli mugagga ng'awa sekeli za ffeeza amakumi ataano ziweebwe kabaka wa Assuri. Kabaka wa Assuri n'aseguukulukuka; teyasigala mu nsi.
21
Ebirala mu bifaayo bya Menakemu ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yisirayeli.
22
Menakemu n'agalamira ne bajjajjaabe; Pekakiya mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
23
Mu mwaka ogw'amakumi ana ogwa Azariya kabaka wa Yuda, Pekakiya, mutabani wa Menakemu n'afuuka kabaka wa Yisirayeli mu Samariya; yafugira emyaka ebiri.
24
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama, teyava mu bibi bya Yerobowamu mutabani wa Nebati bye yaleetera Yisirayeli okugwamu.
25
Peka mutabani wa Remaliya, omu ku bagabe be ab'oku bigaali abakulu, yamwekobera. Yagenda n'abasajja amakumi ataano Abagileyaadi, n'amuttira mu Samariya mu munaala gw'olubiri lwa kabaka, n'amusikira ku bwakabaka.
26
Ebirala mu bifaayo bya Pekakiya ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yisirayeli.
27
Mu mwaka ogw'amakumi ataano mu ebiri ogw'Azariya kabaka wa Yuda Peka mutabani wa Remaliya n'afuuka kabaka wa Yisirayeli mu Samariya; yafugira emyaka amakumi abiri.
28
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama; teyava mu bibi bya Yerobowamu mutabani wa Nebati bye yaleetera Yisirayeli okugwamu.
29
Mu budde bwa Peka kabaka wa Yisirayeli Tigulati-Pileeseri kabaka wa Assuri yalumba n'awamba Yiyoni, Abeli-Beti-Maaka, Yanowa, Kedesi, Kazori, Gileyaadi, Galilaaya yonna n'ensi ya Nafutali, abantu bonna n'abawaŋŋangusiza mu Assuri.
30
Ozeya mutabani wa Ela ne yeekobera Peka mutabani wa Remaliya; yamulumba, n'amutta n'amusikira ku bwakabaka mu mwaka ogw'amakumi abiri ogwa Yotamu mutabani wa Wuzziya.
31
Ebirala mu bifaayo bya Peka ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yisirayeli.
32
Mu mwaka ogwokubiri ogwa Peka mutabani wa Remaliya kabaka wa Yisirayeli Yotamu mutabani wa Wuzziya kabaka wa Yuda n'afuuka kabaka.
33
Yafuuka kabaka nga wa myaka abiri mu etaano. Yafugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yeruzaalemu. Nnyina ye yali Yerusa, muwala wa Zadoki.
34
Yakola ekituufu mu maaso g'Omukama nga Wuzziya kitaawe bwe yakola.
35
Kyokka ebifo ebigulumivu tebyaggyibwawo, abantu ne bongera okutambira n'okunyookeza obubaani mu bifo ebigulumivu. Yotamu ye yazimba Omulyango ogwa Waggulu ogw'Ekiggwa ky'Omukama.
36
Ebirala mu bifaayo bya Yotamu na byonna bye yakola byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yuda.
37
Mu budde obwo Omukama yatandika okusindika mu Yuda Rezini kabaka wa Aramu ne Peka mutabani wa Remaliya okulwanyisa Yisirayeli.
38
Yotamu n'agalamira ne bajjajjaabe, n'aziikibwa wamu nabo mu Kibuga kya Dawudi, ekibuga kya kitaawe; mutabani we Akazi n'amusikira ku bwakabaka.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25