bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Kings 17
2 Kings 17
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 18 →
1
Mu mwaka ogw'ekkumi ogwa Akazi kabaka wa Yuda, Ozeya mutabani wa Ela yafuuka kabaka wa Yisirayeli mu Samariya; yafugira emyaka mwenda.
2
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama, naye teyenkana bakabaka ba Yisirayeli abaali bamukulembedde.
3
Salumaneeseri kabaka wa Assuri yajja okulumba Ozeya; Ozeya n'afuuka muweereza we, n'amusasulanga n'omusolo.
4
Naye kabaka wa Assuri n'azuula nga Ozeya wa nkwe, kubanga yali atumye ababaka ewa So Kabaka w'e Misiri, ate nga takyawa na musolo kabaka wa Assuri nga bwe yali amanyidde okukola buli mwaka. Kwe kumukwata n'amusiba mu kkomera.
5
Kabaka wa Assuri yazinda ensi yonna, n'agenda e Samariya n'akizingiza okumala emyaka esatu.
6
Mu mwaka ogwomwenda ogwa Ozeya, kabaka wa Assuri n'awamba Samariya; abantu ba Yisirayeli n'abawaŋŋangusiriza mu Assuri. Yabateeka mu Kala, ku Kabori, eky'omugga gw'e Gozani, ne mu bibuga by'Abamedi.
7
Kino kyagwawo kubanga abantu ba Yisirayeli baayonoona ew'Omukama Katonda waabwe eyali abaggye mu nsi y'e Misiri mu mikono gya Faraawo kabaka w'Abamisiri. Baasinza balubaale,
8
ne bakoppa empisa z'amawanga Omukama be yali agobyewo mu maaso g'abantu ba Yisirayeli, n'empisa za bakabaka baabwe ze baayisaangamu.
9
Mu nkiso baakola ebintu ebitali bituufu ku Mukama Katonda waabwe. Beezimbira ebifo ebigulumivu mu bibuga byabwe okuva ku munaala gw'abakuumi okutuuka ku kibuga okuli ekigo.
10
Baasimba empagi emponge, n'empagi za Asera ku buli kasozi akawanvu na buli wansi wa muti oguggumizza.
11
Baanyookezanga obubaani ku buli kifo kigulumivu ng'ab'amawanga Omukama be yali agobyewo mu maaso gaabwe bwe baali bakola. Baakola ebibi ebyanyiiza Omukama.
12
Baasinza ebifaananyi bya balubaale Omukama bye yali abaweereddeko ekiragiro nti: “Ekyo temukikolanga.”
13
Omukama yali alabulidde ddala Yisirayeli ne Yuda ng'ayita mu balanzi bonna ne mu balabi bonna nti: “Mukomeewo, muve mu makubo gammwe amabi, mukwate ebiragiro byange n'amateeka gange, nga bwe biri mu Tteeka lyonna lye nalagira bajjajjammwe baliwulire, era lye natuma gye muli nga mpita mu baweereza bange abalanzi.”
14
Bo tebaawulira, wabula baakakanyaza ensingo zaabwe nga bajjajjaabwe bwe baakola abaagaana okwesiga Omukama Katonda waabwe.
15
Baasambajja amateeka n'endagaano gye yakola ne bajjajjaabwe, n'okulabula kwe yabalabulangamu. Baagoberera ebifaananyi bya balubaale omutali kantu nabo ne baggwaamu ensa. Baagoberera ab'amawanga ababeetoolodde, newandibadde nga Omukama yali abagambye nti: “Temukola nga bwe bakola;” naye bo ne bakola Omukama bye yali abagaanyi okukola.
16
Baaleka ebiragiro byonna eby'Omukama Katonda waabwe, ne beekolera ebifaananyi bibiri eby'obuyana obusaanuuse n'empagi za Asera. Baavunnamira eggye ly'emmunyeenye z'eggulu, ne basinza Baali.
17
Baawonga mu muliro batabani baabwe ne bawala baabwe; baakolanga eby'obulaguzi n'eby'obulogo, ne beetunda mu kukola ekibi mu maaso g'Omukama, bwe batyo ne bamunyiiza.
18
Omukama n'asunguwalira nnyo Yisirayeli, n'abaggyawo mu maaso ge; tewaasigalawo n'omu, mpozzi ekika kya Yuda kyokka.
19
Kyokka ne Yuda yennyini teyakwata biragiro bya Mukama Katonda we; baagoberera empisa za Yisirayeli ze yayisanga.
20
Omukama n'asuula eri eggwanga lya Yisirayeli lyonna, n'ababonyaabonya, n'abawaayo mu mikono gy'abanyazi, okutuusa lwe yabaggyawo mu maaso ge.
21
Luli Yisirayeli lwe yeekutula ku nnyumba ya Dawudi, ne bafuula Yerobowamu mutabani wa Nebati kabaka waabwe, Yerobowamu yaggya Yisirayeli ku Mukama n'abaleetera okugwa mu kibi ekinene.
22
abantu ba Yisirayeli baagugubira mu bibi bya Yerobowamu; byonna tebaabireka.
23
Okutuusa Omukama lwe yaggyawo Yisirayeli mu maaso ge, nga bwe yali ayogedde ng'ayita mu baweereza be bonna abalanzi. Bw'atyo Yisirayeli n'agenda mu buwaŋŋanguse okuva mu nsi ye, n'atwalibwa mu Assuri, gy'ali n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
24
Kabaka wa Assuri n'aggya abantu mu Babiloni, Kuta, Avva, Kamati ne mu Sefaruvayimu, n'abasenza mu bibuga bya Samariya mu kifo ky'abantu ba Yisirayeli, ne bezza ebibuga bya Samariya, ne babeera mu bibuga byabwe.
25
We baasookera okubeerayo baali tebasinza Mukama, Omukama n'abasindikira empologoma, ne zibattamu abamu.
26
Kabaka wa Assuri ne bamubuulira nti: “Ab'amawanga be wasengula n'obatwala mu bibuga bya Samariya, tebamanyi mpisa za lubaale wa nsi eyo. Yabasindikira empologoma, ziiziri zibatta, kubanga tebamanyi mpisa za lubaale wa nsi eyo.”
27
Kabaka wa Assuri n'alagira nti: “Mutwaleeyo omu ku bakabona be mwasiba okuva mu Samariya agende abeere nabo, abayigirize okusinza lubaale w'ensi eyo.”
28
Omu ku bakabona abaggyibwa mu Samariya n'addayo n'abeeranga e Beteli, n'abayigirizanga okusinza Omukama.
29
Naye era buli ggwanga lyakola lubaale waalyo, ne babateeka mu biggwa Abasamariya bye baali bakoze ku bifo ebigulumivu mu bibuga mwe baabeeranga.
30
Abantu b'e Babiloni baakola Sukkoti-Benoti, ab'e Kuta baakola Nerugali, abaava e Kamati baakola Asima,
31
Abavvi baakola Nibukazi ne Tarutaki, n'abaali bavudde e Sefaruvayimu baayokeranga Adurameleki ne Anammeleki balubaale b'e Sefaruvayimu abaana baabwe mu muliro.
32
Omukama naye baamusinzanga, era beerondangamu bakabona okumala gava wano na wali mu bantu baabwe ab'okuweerezanga mu biggwa ku bifo ebigulumivu.
33
Eno baasinzanga Omukama, eri nga bwe baweereza ne balubaale baabwe nga bagoberera empisa z'amawanga gye baali baggyiddwa okuleetebwa.
34
Empisa ezo ez'edda bakyazigoberera n'okutuusa ku lunaku lwa leero; tebatya Mukama yadde okutuukiriza empisa ze, ennamula ye, etteeka n'ebiragiro Omukama bye yawa abazzukulu ba Yakobo, gwe yatuuma Yisirayeli.
35
Bwe yakola nabo endagaano, yabalagira nti: “Temusinzanga balubaale, temubavunnamiranga, temubaweerezanga, temubatambiriranga,
36
wabula musinzanga Mukama yekka eyabaggya mu nsi y'e Misiri n'amaanyi amangi n'omukono omugolole; oyo gwe muba musinzanga, gwe muba mutambiriranga.
37
Amateeka, ennamula, enkola n'ebiragiro bye yabawandiikira mubikwatenga butiribiri ennaku zonna; temusinzanga balubaale.
38
Temwerabiranga endagaano gye nakuba nammwe, era temusinzanga balubaale,
39
wabula musinzenga Omukama Katonda wammwe, oyo y'alibaggya mu mikono gy'abalabe bammwe bonna.”
40
Era bo tebaawulira, bakyeyisa ng'empisa zaabwe ez'edda.
41
Ab'amawanga bano bwe baabanga basinza Omukama, eno ate nga bwe basinza ebifaananyi bya balubaale. N'okutuusa ku lunaku lwa leero abaana baabwe n'abazzukulu bakyakola nga bajjajjaabwe bwe baakolanga.
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25