bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Kings 22
2 Kings 22
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 23 →
1
Yosiya yafuuka kabaka nga wa myaka munaana; mu Yeruzaalemu yafugiramu emyaka amakumi asatu mu gumu. Nnyina ye yali Yedida muwala wa Adaaya ow'e Bozukati.
2
Yakola ekituufu mu maaso g'Omukama, n'atambulira mu makubo gonna aga Dawudi jjajjaawe; teyawunjukako kudda ku ddyo oba ku kkono.
3
Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogw'obwakabaka bwe, Kabaka Yosiya yatuma Safani omuwandiisi mutabani wa Azaliya, mutabani wa Mesullamu, ku Kiggwa ky'Omukama, n'amugamba nti:
4
“Genda ewa Kilukiya kabona omukulu omugambe asaanuuse ffeeza eyaleetebwa mu Kiggwa ky'Omukama, abakuumi b'oku mulyango gwe basolooza ku bantu,
5
akwasibwe baffundi b'omulimu abaali bakola mu Kiggwa ky'Omukama, bo basasule abo abaddaabiriza ennyaafa ku Kiggwa:
6
ababazzi, n'abazimbi n'abakomozi b'amayinja, era bagule emiti n'amayinja amayole olw'okuddaabiriza Ekiggwa.
7
Tebajja kubuuzibwa nkozesa ya ffeeza abakwasiddwa, kubanga bakola na bwesigwa.”
8
Kilukiya kabona omukulu n'agamba Safani omuwandiisi nti: “Nzudde Ekitabo ky'Etteeka mu Kiggwa ky'Omukama.” Kilukiya ekitabo n'akiwa Safani, n'akisoma.
9
Safani omuwandiisi n'agenda ewa kabaka n'amutegeeza nti: “Abaweereza bo basaanuusizza ffeeza eyazuulibwa mu Kiggwa ne bamukwasa abakozi bannampala b'omulimu mu Kiggwa ky'Omukama.”
10
Safani omuwandiisi n'ategeeza kabaka nti: “Kilukiya kabona yampadde ekitabo.” Safani n'akisoma mu maaso ga kabaka.
11
Kabaka bwe yawulira ebigambo by'Ekitabo ky'Etteeka, n'ayuza ebyambalo bye.
12
N'alagira Kilukiya kabona, Akikamu mutabani wa Safani, Akubori mutabani wa Mikaaya, Safani omuwandiisi ne Asaaya omuweereza wa kabaka, n'abagamba nti:
13
“Mugende mwebuuze ku Mukama ku lwange, ku lw'abantu ne ku Yuda yenna ku bigambo by'ekitabo ekyo ekyazuuliddwa, kubanga obusungu bw'Omukama bungi obutwesereddeko, kubanga bajjajjaffe tebaawulira bigambo bya kitabo kino, tebaakola nga byonna bwe byatuwandiikirwamu.”
14
Kilukiya kabona, Akikamu, Akubori, Safani ne Asaaya ne bagenda ewa Kuluda omulanzi omukazi, muka Sallumu mutabani wa Tikuva mutabani wa Karukasi, eyali akuuma ebyambalo. Yali asula mu Yeruzaalemu mu Gombolola ey'Okubiri. Ne bamwanjulira ensonga zaabwe.
15
N'abaddamu nti: “Omukama Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: ‘Mugambe omusajja abasindise gye ndi nti:
16
Omukama kino ky'agamba: “Ŋŋenda kuzikiriza ekifo kino na bonna abakirimu ng'ebigambo byonna eby'ekitabo kabaka wa Yuda by'asomyeko bwe bigamba.
17
Kubanga nze banvaako ne banyookeza balubaale obubaani, ne bannyiiza n'ebifaananyi byabwe byonna ebya balubaale emikono gyabwe bye gyakola; obusungu bwange bujja kweserera ku kifo kino era tewaliba abuzikiriza.” ’
18
Kabaka wa Yuda eyabasindise okwebuuza ku Mukama mumugambe nti: ‘Omukama Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba ku bigambo by'Ekitabo bye wawulidde:
19
“Kubanga omutima gwo gutengedde ne weetoowaliza Omukama ng'owulidde bye nayogeredde ekifo kino n'abakisulamu, nti bajja kufuuka matongo era ekikolimo, n'oyuza ebyambalo byo n'okaaba mu maaso gange, nange nkuwulidde,” ’ Omukama bw'agamba.
20
‘Kale nzija kukugatta ku bajjajjaabo, oliziikibwa mu ddembe, amaaso go tegaliraba kabenje ke nnaaleetera kifo kino.’ ” Ne bazzaayo ewa kabaka kye yali agambye.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25