bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Kings 20
2 Kings 20
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 21 →
1
Mu nnaku ezo Kezekiya yalwala, n'ajula okufa. Yisaaya omulanzi, mutabani wa Amozi n'ajja gy'ali n'amugamba nti: “Omukama kino ky'agamba: ‘Tereeza eby'ennyumba yo kubanga ojja kufa, tojja kulama.’ ”
2
Kezekiya n'akyukira eri ekisenge ne yeegayirira Omukama nti:
3
“Nkwegayiridde, ayi Mukama, jjukira nga bwe natambulira mu maaso go mu butuufu n'omutima ogukwemalizza, nga nkola ekyo kyokka ekikusanyusa.” Kezekiya n'akaaba nnyo.
4
Yisaaya yali tannamalako luggya, ekigambo ky'Omukama ne kijja gy'ali nga kigamba nti:
5
“Ddayo ogambe Kezekiya omukulembeze w'abantu bange nti: ‘Kino ky'agamba Omukama Katonda wa jjajjaawo Dawudi: Mpulidde essaala yo, ndabye n'amaziga go; kale nno nzija kukuwonya. Ku lunaku olwokusatu ojja kwambuka mu Kiggwa ky'Omukama.
6
Ku bulamu bwo nzija kwongerako emyaka kkumi n'etaano. Ggwe n'ekibuga kino nzija kubawonya mu mikono gya kabaka wa Assuri. Nzija kutaasa ekibuga kino ku lwange ne ku lwa Dawudi omuweereza wange.’ ”
7
Yisaaya n'agamba nti: “Muleete ekitole ky'entontogolo z'omukunyu empotose.” Bwe baakireeta, ne bakissa ku bbwa lye, n'awona.
8
Kezekiya yali abuuzizza Yisaaya nti: “Kabonero ki kwe nnaalabira ne nkakasa nti Omukama anamponya, nti ne ku lunaku olwokusatu ndyambuka mu Kiggwa ky'Omukama?”
9
Yisaaya yamugamba nti: “Kano ke kanaaba akabonero kw'onookakasiza nti Omukama anaatuusa ky'asuubizza. Oyagala ekisiikirize kigende mu maaso amadaala kkumi nandiki kidde emabega amadaala kkumi?”
10
Kezekiya n'agamba nti: “Kyangu ekisiikirize okugenda mu maaso amadaala kkumi; ekyo si kye kiba kibaawo, wabula njagala kidde emabega amadaala kkumi.”
11
Yisaaya n'akoowoola Omukama; Omukama n'azza emabega ekisiikirize amadaala kkumi ge kyali kiserengese ku madaala ga Akazi.
12
Mu budde obwo Merodaki-Balaadani mutabani wa Balaadani kabaka w'e Babiloni yaweereza ebbaluwa n'ekirabo ewa Kezekiya, kubanga yali awulidde nti Kezekiya mulwadde.
13
Kezekiya yayaniriza ababaka, n'abalaga byonna ebyali mu nnyumba ye ey'enkuluze: ffeeza, zaabu, ebirungo, emizigo egy'akaloosa, ennyumba y'ebyokulwanyisa, ne byonna ebyasangibwa mu nkuluze ye. Tewali na kimu mu lubiri lwe oba wonna mu bwakabaka bwe Kezekiya ky'ataabalaga.
14
Yisaaya omulanzi n'ajja ewa kabaka Kezekiya n'amubuuza nti: “Abasajja abo bagambye ki, ye bavudde wa okujja gy'oli?” Kezekiya n'amuddamu nti: “Bavudde mu nsi ya wala, bavudde Babiloni.”
15
Yisaaya n'amubuuza nti: “Balabye ki mu lubiri lwo?” Kezekiya n'amuddamu nti: “Byonna ebiri mu lubiri lwange babirabye; mu nkuluze yange mpaamu kye sibalaze.”
16
Yisaaya kwe kugamba Kezekiya nti: “Wulira Omukama ky'agamba:
17
‘Kale nno ennaku zijja kutuuka, byonna ebiri mu lubiri lwo n'ebyo bajjajjaabo bye baatereka n'okutuusa ku lunaku lwa leero bitwalibwe e Babiloni; tewalisigalawo kantu,’ Omukama y'agamba.
18
‘N'abamu ku zzadde lyo, bennyini abafuluma mu ggwe, be weezaalidde, balitwalibwa ne bafuuka abalaawo mu lubiri lwa kabaka w'e Babiloni.’ ”
19
Kezekiya n'agamba Yisaaya nti: “Ekigambo ky'Omukama ky'oyogedde kirungi.” Anti muli yali agamba nti: “Mu budde bwange teririba ddembe na butebenkevu?”
20
Ebirala mu bifaayo bya Kezekiya, obuzira bwe, ne bwe yakola, ekidiba n'olusalosalo olutwala amazzi mu kibuga, ebyo byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yuda.
21
Kezekiya n'agalamira ne bajjajjaabe; Manasse mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25