bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Kings 12
2 Kings 12
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 13 →
1
Yowasi yafuuka kabaka nga wa myaka musanvu.
2
Mu mwaka ogwomusanvu ogwa Yewu Yowasi mwe yaliira obwakabaka; yafugira emyaka amakumi ana mu Yeruzaalemu. Nnyina ye yali Zibiya, ng'ava Beeriseba.
3
Yowasi yakola kituufu mu maaso g'Omukama ennaku zonna, kubanga kabona Yoyada yalinga amuyigiriza.
4
Kyokka ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo; abantu baasigala batambirira ku bifo ebigulumivu n'okunyookerezaayo obubaani.
5
Yowasi n'agamba bakabona nti: “Mukuŋŋaanye ssente zonna eziva mu birabo ebitukuvu ebireetebwa mu Kiggwa ky'Omukama, ssente eziva mu misolo, eziweebwa okutuukiriza obweyamo n'ezo ezitonwa kyeyagalire mu Kiggwa.
6
Buli kabona azifune ku bamanyi be, azikozese okuddaabiriza ennyaafa ku Kiggwa buli we ziba zisangiddwa.”
7
Naye nno okutuukira ddala ku mwaka ogw'amakumi abiri mu esatu ogwa kabaka Yowasi bakabona baali tebaddaabirizanga nnyaafa ku Kiggwa.
8
Kabaka Yowasi kwe kuyita Yoyada kabona omukulu ne bakabona abalala n'ababuuza nti: “Lwaki temuddaabiriza nnyaafa ku Kiggwa? Temuddayo nno kutwala ssente z'abamanyi bammwe; muziweeyo ku gw'okuddaabiriza ennyaafa ku Kiggwa.”
9
Bakabona ne bakkiriza obutaddayo kuggya ssente ku bantu era n'obutaba na buvunaanyizibwa obw'okuddaabiriza ennyaafa ku Kiggwa.
10
Yoyada n'addira essanduuku emu n'agisalamu ekituli kungulu n'agissa kumpi n'omwaliiro ku ludda olwa ddyo ng'oyingira mu Kiggwa ky'Omukama. Bakabona abakuumi b'oku mulyango baasuulanga mu ssanduku omwo ssente zonna ezaaleetebwanga mu Kiggwa ky'Omukama.
11
Bwe baalabanga ssente ziweze nnyingi mu ssanduuku, omuwandiisi wa kabaka ne kabona omukulu nga bajja babala ssente ezaalinga zireeteddwa mu Kiggwa ky'Omukama, nga bazisiba mu nsawo.
12
Bwe baamalanga okubalirira, nga baziwaayo eri baffundi abaabanga bakwasiddwa omulimu ku Kiggwa ky'Omukama. Bano baazisasulanga ababazzi n'abakomozi b'amayinja abaakolanga ku Kiggwa ky'Omukama,
13
n'abakomozi b'amayinja, n'abaagaasanga, balyoke bagule emiti n'amayinja gasimibwe olw'okuddaabiriza ennyaafa ku Kiggwa ky'Omukama, n'okusasula byonna ebyali byetaagibwa ku kuddaabiriza Ekiggwa.
14
Kyokka ekinaabirwamu ekya ffeeza eky'Ekiggwa ky'Omukama, makansi, ebibya eby'okumansira amazzi, amakondeere n'ebintu ebirala byonna ebya zaabu n'ebya ffeeza byali tebikolebwa nga baggya ku ssente ezaaleetebwanga mu Kiggwa ky'Omukama.
15
Zonna zaweebwanga baffundi, bo ne bazikozesa okuddaabiriza Ekiggwa.
16
Abaaweebwanga ssente okusasula abakozi tebaabasabanga kulaga nkozesa yaazo, kubanga baakolanga na bwesigwa.
17
Ssente ezaavanga mu bitone eby'ekitambiro olw'omusango ne mu byonzira olw'ekitambiro olw'ekibi tezaaweerezebwanga mu Kiggwa kya Mukama, kubanga zaabeeranga za bakabona.
18
Mu budde obwo Kazayeli kabaka wa Aramu n'ajja okulumba Gati, n'akiwamba; ate n'akyusa okulumba Yeruzaalemu.
19
Yowasi kabaka wa Yuda kwe kuggyayo ebintu byonna ebitukuvu bajjajjaabe Yosafati, Yoramu, ne Akaziya, bakabaka ba Yuda, bye baali basinzeeyo, naye yennyini bye yali asinzeeyo, ne zaabu yenna eyasangibwa mu nkuluze y'Ekiggwa ky'Omukama ne mu lubiri lwa kabaka, n'abiweereza Kazayeli kabaka wa Aramu; Kazayeli kwe kusimbula n'ava ku Yeruzaalemu.
20
Ebirala mu bifaayo bya Yowasi na byonna bye yakola byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yuda.
21
Abakungu be beekoba ne bamuttira e Beti-Millo ng'oserengeta e Silla.
22
Abakungu be Yozabadi mutabani wa Simewati ne Yozabadi mutabani wa Someri baamukuba n'afa, n'aziikibwa wamu ne bajjajjaabe mu Kibuga kya Dawudi. Amaziya mutabani we n'amusikira ku bwa kabaka.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25