bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Kings 11
2 Kings 11
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 12 →
1
Ataliya, nnyina wa Akaziya, yalaba mutabani we afudde, n'asituka asaanyeewo ezzadde lya kabaka lyonna.
2
Naye Yoseba muwala wa kabaka Yoramu, mwannyina wa Akaziya, yakwata Yowasi mutabani wa Akaziya n'amubbayo mu baana ba kabaka abaali bagenda okuttibwa. Yamussa mu kisenge ekisulwamu wamu n'omujjanjabi we, ne bamukweka Ataliya. Bw'atyo n'atattibwa.
3
Yabeeranga omwo mu Kiggwa ky'Omukama mu kyama wamu n'omujjanjabi we okumala emyaka mukaaga, eno Ataliya ng'afuga ensi.
4
Mu mwaka ogwomusanvu Yoyada n'atumya abagabe b'ekikumi Abakari n'abakuumi, n'abayingiza gy'ali mu kiggwa ky'Omukama. Yakola nabo endagaano, n'abalayiza mu Kiggwa ky'Omukama, n'alyoka abalaga mutabani wa kabaka.
5
N'abalagira n'agamba nti: “Kino kye muteekwa okukola: Ekyokusatu kyammwe mmwe abakuuma ku Sabbaato muli ba kukuuma olubiri lwa kabaka.
6
Ekyokusatu ekirala kya kubeera ku mulyango Suuru, ate ekyokusatu ekisembayo kya kubeera ku mulyango oguli emmanju w'abakuumi, nga mukuuma Ekiggwa mu mpalo.
7
Ebibinja byammwe ebibiri ebyandibadde bimala oluwalo lwabyo ku sabbaato eyo bijja kusigala nga bikuuma Ekiggwa ky'Omukama olw'okubeera kabaka.
8
Mujja kwebungulula kabaka nga buli omu akutte ebyokulwanyisa bye. Buli omu agezaako okutuukirira ennyiriri zammwe wa kutta; mujja kubeera ne kabaka buli w'anaalaga.”
9
Abagabe b'ekikumi ne bakola byonna nga Yoyada kabona bwe yali abalagidde; buli omu n'atwala basajja be, abaali batandika oluwalo lwabwe ku Sabbaato wamu n'abo abaali bamaliriza olwabwe ku olwo, ne bajja ewa Yoyada kabona.
10
Abagabe b'ebikumi n'abawa amafumu n'engabo ebyabanga ebya kabaka Dawudi ebyabanga mu Kiggwa ky'Omukama.
11
Abakuumi, buli omu ng'akutte ebyokulwanyisa bye, ne beesimba nga beebunguludde kabaka okuva ku ludda olw'emaserengeta olw'Ekiggwa okutuuka ku ludda olw'emambuka nga beebunguludde omwaliiro n'Ekiggwa.
12
N'afulumya mutabani wa kabaka, n'amutikkira engule, n'amuwa n'ekitabo ky'Endagaano, ne bamulangirira ku bwakabaka, ne baamusiiga omuzigo, abantu ne bakuba mu ngalo, ne bayoogaana nti: “Kabaka awangaale!”
13
Ataliya bwe yawulira oluyoogaano lw'abakuumi n'abantu, n'agenda gye bali ku Kiggwa ky'Omukama.
14
Laba, nga ku kabaka ono ayimiridde kumpi n'empagi, ng'empisa bwe yabanga, abagabe n'abantu nga bamuyimiridde awo ko n'abafuuwa amakondeere, abantu bonna ab'omu ggwanga nga basanyuka, bafuuwa amakondeere. Ataliya n'ayuza ebyambalo bye, n'aleekaana nti: “ Luno lukwe! Luno lukwe!”
15
Yoyada kabona n'alagira abagabe b'ekikumi, n'abagamba nti: “Mumufulumye mumuggye mu nnyiriri; buli yenna anaamugoberera mumutte n'ekitala.” Anti kabona yali agambye nti: “Tattirwa mu Kiggwa ky'Omukama.”
16
Ne bamukwata ng'atuuse ku wankaaki w'Omulyango gw'Embalaasi ogw'olubiri; awo we yattirwa.
17
Yoyada n'akola endagaano n'Omukama ne kabaka n'abantu nti banaabeeranga bantu ba Mukama. Era yakola endagaano n'abantu ne kabaka.
18
Abantu bonna ab'omu ggwanga ne bayiikira ekiggwa kya Baali, ne bakiyiwa ku ttaka; baamenyaamenya obulere emyaliiro n'ebifaananyi bye, ne Mattani kabona wa Baali ne bamuttira mu maaso g'emyaliiro. Kabona n'assa abakuumi ku Kiggwa ky'Omukama,
19
n'atwala abagabe b'ebikumi, Abakari, abakuumi n'abantu bonna ab'omu ggwanga ne baggyayo kabaka mu Kiggwa ky'Omukama, ne bamutwala mu lubiri nga bayitira mu mulyango gw'abakuumi. Kabaka n'atuula ku nnamulondo ya bakabaka.
20
Abantu bonna mu ggwanga ne basanyuka; ekibuga ne kitebenkera, kubanga Ataliya yali amaze okuttibwa n'ekitala mu lubiri lwa kabaka.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25