bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Kings 13
2 Kings 13
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 14 →
1
Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu esatu ogwa Yowasi mutabani wa Akaziya kabaka wa Yuda, Yowakazi mutabani wa Yewu yafuuka kabaka wa Yisirayeli mu Samariya; yafugira emyaka kkumi na musanvu.
2
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama ng'agoberera ebibi bya Yerobowamu mutabani wa Nebati bye yaleetera Yisirayeli okugwamu; naye yennyini teyakireka.
3
Obusungu bw'Omukama ne bweserera ku Yisirayeli, n'abawaayo mu mikono gya Kazayeli, kabaka wa Aramu ne mu mikono gya Beni-Adadi mutabani wa Kazayeli.
4
Yowakazi n'awanjagira Omukama abasaasire, Omukama n'amuwulira, kubanga yalaba engeri kabaka wa Aramu gye yali anyigirizaamu Yisirayeli,
5
Omukama n'awa Yisirayeli omununuzi, ne bawona effugabbi lya Aramu, abantu ba Yisirayeli ne baddamu okusula mu weema zaabwe nga bwe baakolanga mu kusooka.
6
Sso era tebaava mu bibi bya nnyumba ya Yerobowamu bye yaleetera Yisirayeli okugwamu; baabyongera mu maaso; anti n'empagi ya Asera yasigala yeesimbye mu Samariya.
7
Yowakazi yasigala kumpi talina ggye, wabula ng'alinawo abeebagazi amakumi ataano, ebigaali kkumi n'abatabaazi ab'ebigere omutwalo gumu; kabaka wa Aramu yali abasse, ng'abasedde ng'enfuufu y'omu gguuliro.
8
Ebirala mu bifaayo bya Yowakazi, byonna bye yakola, n'obuzira bwe, byonna byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yisirayeli.
9
Yowakazi n'agalamira ne bajjajjaabe, ne bamuziika mu Samariya; Yowasi mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
10
Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omusanvu ogwa Yowasi kabaka wa Yuda, Yowasi mutabani wa Yowakazi n'afuuka kabaka wa Yisirayeli mu Samariya; yafugira emyaka kkumi na mukaaga.
11
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama; teyeewala bibi byonna ebya Yerobowamu mutabani wa Nebati bye yaleetera Yisirayeli okugwamu; yayongera kubitambuliramu.
12
Ebirala mu bifaayo bya Yowasi na byonna bye yakola, obuzira bwe, n'entalo ze ng'alwanyisa Amaziya kabaka wa Yuda, byonna byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yisirayeli.
13
Yowasi n'agalamira ne bajjajjaabe; Yerobowamu n'atuula ku nnamulondo ye. Yowasi yaziikibwa mu Samariya wamu ne bakabaka ba Yisirayeli.
14
Elisa yalwala obulwadde obwamuviiramu n'okufa. Yowasi kabaka wa Yisirayeli n'agendayo okumulabako, n'amukaabira nga bw'agamba nti: “Kitange! Kitange! Ebigaali n'abeebagazi ba Yisirayeli!”
15
Elisa n'amugamba nti: “Leeta omutego n'obusaale.” N'amuleetera omutego n'obusaale.
16
Elisa n'agamba kabaka wa Yisirayeli nti: “Teeka omukono gwo ku mutego.” N'ateekako omukono gwe; Elisa n'assa emikono gye ku mikono gya kabaka.
17
N'amugamba nti: “Ggula eddirisa ery'ebuvanjuba.” N'aliggula. Elisa n'amulagira nti: “Lasa akasaale.” N'alasa. Elisa n'agamba nti: “Busaale bwa buwanguzi bw'Omukama, obusaale obuliwangula Aramu. Aramu ojja kumuwangula omusaanyeewo e Afeki.”
18
N'agamba nti: “Kwata obusaale.” N'abukwata. Elisa n'ayongera okumugamba nti: “Kuba akasaale ku ttaka.” Yakuba emirundi esatu, n'alekera awo.
19
Omuntu wa Katonda n'amusunguwalira, n'agamba nti: “Wandikubye emirundi etaano oba mukaaga, olwo Aramu wandimuwangudde okutuusa okumumalirawo ddala; naye kati ojja kumugoba emirundi esatu gyokka.”
20
Awo Elisa n'afa, ne bamuziika. Abanyazi baateranga okuva mu Mowabu ne bajja mu nsi ku buli ntandikwa ya mwaka.
21
Olumu Abayisirayeli baali baziika omuntu, gye baakuba amaaso nga ku kikwanga ky'abanyazi. Ne bakasuka omulambo mu ntaana ya Elisa ne badduka. Omulambo olwakoona ku magumba ga Elisa, omuntu n'addamu obulamu n'ayimirira ku bigere bye.
22
Kazayeli kabaka wa Aramu yabonyaabonya Yisirayeli ennaku zonna eza Yowakazi.
23
Naye Omukama n'abajuna, n'abasaasira, n'abasuulira omwoyo olw'okubeera endagaano ye gye yakola ne Yibrayimu Yizaake ne Yakobo; n'okutuusa kati tannayagala kubazikiririza na kubasuulira ddala eri.
24
Kazayeli kabaka wa Aramu n'afa, Beni-Adadi mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
25
Naye Yowasi mutabani wa Yowakazi n'akwata ebibuga ku Beni-Adadi mutabani wa Kazayeli, bye yali awambye ku kitaawe lwe yamutabaala. Yowasi yamuwangula emirundi esatu n'anunulayo ebibuga bya Yisirayeli.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25