bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Kings 9
2 Kings 9
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 10 →
1
Elisa omulanzi yayita omu ku bannakibiina ky'abalanzi, n'amugamba nti: “Weesibe ekimyu mu kiwato, otwale ensale y'omuzigo eno, ogende mu Ramoti-Gileyaadi.
2
Bw'onootuukayo, noonya Yewu mutabani wa Yosafati, mutabani wa Nimusi; bw'oyingira, muggyeewo mu banne omuyingize mu kisenge munda.
3
Awo ojja kukwata ensale y'omuzigo oguyiwe ku mutwe gwe, ng'ogamba nti: ‘Omukama kino ky'agamba: Nkusiize omuzigo, obeere kabaka mu Yisirayeli.’ Olumala ggula oluggi odduke; tobandaalayo.”
4
Omuvubuka n'agenda e Ramoti-Gileyaadi.
5
Bwe yayingira yasanga abagabe batudde wamu, n'agamba nti: “Mugabe, ndiko kye nkugamba.” Yewu n'agamba nti: “Ani ku ffe?” N'amuddamu nti: “Ggwe, ssebo mugabe.”
6
Yewu n'asituka n'ayingira mu nnyumba. Omulanzi n'ayiwa omuzigo ku mutwe gwa Yewu, n'agamba nti: “Kino ky'agamba Omukama Katonda wa Yisirayeli: ‘Nkusiize omuzigo obeere kabaka w'abantu b'Omukama Yisirayeli.
7
Olizikiriza ennyumba ya Akabu mukama wo, bwe ntyo mpoolere eggwanga olw'omusaayi gw'abalanzi bange n'omusaayi gw'abaweereza b'Omukama bonna Yezebeli be yatta.
8
Ennyumba ya Akabu yonna ejja kusaanawo, era nzija kukutulako buli ayitibwa omusajja mu Yisirayeli akyasigaddewo mu nnyumba ya Akabu, ka abeere muddu oba mwana wa ddembe.
9
Ennyumba ya Akabu nzija kugifuula nga bwe nakola ennyumba ya Yerobowamu mutabani wa Nebati, n'ennyumba ya Baasa mutabani wa Akiya.
10
Ne Yezebeli embwa zirimukavvulira mu nnimiro y'e Yezureeli; tewaliba amuziika.’ ” N'aggulawo oluggi n'adduka.
11
Yewu n'afuluma, n'addayo eri abagabe ba mukama we; omu ku bo n'amubuuza nti: “Byonna biri bulungi? Omulalu oyo kiki ekimuleese gy'oli?” N'abagamba nti: “Nammwe omuntu oyo mumumanyi, mumanyi ne byamala googera.”
12
Bo ne bamwanukula nti: “Ekyo si kituufu; tubuulire.” N'abagamba nti: “Bino na bino by'aŋŋambye; aŋŋambye nti: ‘Omukama kino ky'agamba: Nkusiize omuzigo, obeere kabaka wa Yisirayeli.’ ”
13
Ne bagenda bunnambiro, buli omu n'akwata omunagiro gwe, ne bagyaliira wansi w'ebigere bye ku madaala ku ttaka. Ne bafuuwa eŋŋombe nga bwe balangirira nti: “Yewu ye kabaka.”
14
Bw'atyo Yewu mutabani wa Yosafati, mutabani wa Nimusi, ne yeekobera Yoramu. Ye Yoramu yali ne Yisirayeli yenna nga bagezaako okutaasa Ramoti-Gileyaadi ku Kazayeli kabaka wa Aramu.
15
Yali akomyewo e Yezureeli ajjanjabibwe ebiwundu Abaaramu bye baali bamutaddeko ng'alwanyisa Kazayeli kabaka wa Aramu. Yewu n'agamba nti: “Oba mmwe mukisiimye, temukkiriza kaawonawo n'omu kufuluma mu kibuga n'agenda abyogera mu Yezureeli.”
16
N'alinnya ekigaali kye, n'agenda e Yezureeli, anti Yoramu eyo gye yali ng'alwadde, ne Akaziya kabaka wa Yuda yali agenzeeyo okumulaba.
17
Omukuumi yali ayimiridde ku munaala gwa Yezureeli, bwe yalengera ekibinja kya Yewu nga kijja, n'agamba nti: “Ndaba ekibinja ekijja.” Yoramu n'agamba nti: “Labayo omwebagazi omusindikeyo okubasisinkana; bw'agenda ababuuze nti: ‘Muzze lwa mirembe?’ ”
18
Awo omwebagazi n'agenda okumusisinkana, n'amugamba nti: “Kabaka kino ky'abuuza: ‘Ozze lwa mirembe?’ ” Yewu n'amugamba nti: “Emirembe ogifaako ki? Kyuka ongoberere.” Omukuumi n'agamba nti: “Omukuumi atuuse gye bali, naye takomawo.”
19
Kabaka n'atuma omwebagazi owookubiri; bwe yabatuukako n'agamba nti: “Kabaka kino ky'agamba: ‘Ozze lwa mirembe?’ ” Yewu n'agamba nti: “Emirembe ogifaako ki? Kyuka ongoberere.”
20
Omukuumi n'agamba nti: “Atuuse gye bali, era naye takomawo. Kyokka engoba y'ekigaali, eringa eya Yewu mutabani wa Nimusi; akigoba ng'omulalu.”
21
Yoramu n'agamba nti: “Tandiika ekigaali.” N'atandiika ekigaali kye. Yoramu kabaka wa Yisirayeli ne Akaziya kabaka wa Yuda, buli omu mu kigaali kye, ne bafuluma okusisinkana Yewu, ne bamusanga mu nnimiro ya Naboti ow'e Yezureeli.
22
Yoramu bwe yalaba Yewu, n'amubuuza nti: “Ozze lwa mirembe, Yewu?” N'ayanukula nti: “Lwa mirembe nnabaki ng'obwamalaaya bwa Yezebeli nnyoko n'obulogo bwe bikyali bingi?”
23
Yoramu n'akyusa ekigaali n'adduka nga bw'agenda aleekaanira Akaziya nti: “Luno lukwe, Akaziya!”
24
Yewu n'aleega omusaale gwe n'akuba Yoramu mu mugongo, akasaale ne kafulumira mu mutima gwe, amangu ago n'agwa wansi mu kigaali kye.
25
Yewu n'agamba Bidukari omugabe ow'oku kigaali nti: “Muggyeewo, omukasuke eri mu nnimiro ya Naboti ow'e Yezureeli. Jjukira nze naawe bwe twali tuvuga naye ebigaali emabega wa Akabu kitaawe, Omukama n'alanga ku ye nti:
26
‘Ekiro kya jjo nalaba omusaayi gwa Naboti n'omusaayi gw'abaana baabwe, mazima, Omukama y'agamba, nzija kuwoolera eggwanga olw'omusaayi ogwo ku ggwe, mu nnimiro eno yennyini.’ Kale nno, muggyeewo omukasuke eri mu nnimiro ng'Omukama bw'agambye.”
27
Akaziya kabaka wa Yuda bwe yalaba ekyo, n'adduka ng'akutte ery'e Beti-Kaggani. Yewu n'amumerako ng'agenda aleekana nti: “N'oyo mumutte.” Ne bamufumitira ku kigaali kye ku kasozi k'e Guru ekiri okumpi ne Yibulewamu, naye n'addukira e Megiddo, n'afiira eyo.
28
Abaweereza be ne bamuteeka ku kigaali kye ne bamutwala e Yeruzaalemu, ne bamuziika mu ntaana wamu ne bajjajjaabe mu Kibuga kya Dawudi.
29
Akaziya yali afuuse kabaka wa Yuda mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu ogwa Yoramu mutabani wa Akabu.
30
Yewu n'agenda e Yezureeli. Yezebeli bwe yawulira n'atona amaaso ge, n'awoomya n'enviiri ze, n'atunula wansi ng'ayima mu ddirisa.
31
Yewu bwe yali ayingira mu mulyango n'amugamba nti: “Zimuri, eyasse mukama we, ozze lwa mirembe?”
32
Yewu n'ayimusa amaaso ku ddirisa, n'agamba nti: “Ani ali nange? Ani?” Abalaawo babiri oba basatu ne batunula wansi gy'ali.
33
N'abagamba nti: “Mumukanyuge wansi.” Ne bamukanyuga. Omusaayi ne gusammukira ekisenge, n'embalaasi nazo ne zimulinnyirira.
34
Yewu n'ayingira n'alya n'anywa. N'agamba nti: “Mufeeyo okulaba ng'omukazi oyo omuvumirire mumuziika, anti yali muwala wa kabaka.”
35
Naye bwe baagenda okumuziika, baasangawo kawanga, bigere na mikono byokka.
36
Ne bakomawo ne babuulira Yewu; n'agamba nti: “Ekyo kye kigambo Omukama kye yayogera ng'ayita mu muweereza we Eliya Omutisube nti: ‘Mu nnimiro ya Yezureeli embwa mwe zirikavvulira ennyama ya Yezebeli.
37
Omulambo gwa Yezebeli guliba ng'obusa ku ttaka mu nnimiro y'e Yezureeli nga tewakyali asobola kugamba nti: “Ono ye Yezebeli.” ’ ”
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25