bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Kings 8
2 Kings 8
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 9 →
1
Elisa yali agambye omukazi gwe yawonyeza mutabani we nti: “Situka, ogende n'ennyumba yo, mulage yonna gye munaayagala, kubanga Omukama alangiridde enjala; ejja kugwa mu nsi emale emyaka musanvu.”
2
N'asituka, n'akola omuntu wa Katonda kye yagamba, n'agenda n'ennyumba ye yonna, n'asenga mu nsi y'Abafilisitiini, n'amalayo emyaka musanvu.
3
Emyaka omusanvu bwe gyaggwaako, omukazi n'ava mu nsi y'Abafilisitiini n'akomawo, n'agenda ewa kabaka okuwanjaga addizibwe ennyumba ye n'obutaka bwe.
4
Kabaka yali ayogera ne Gekazi omuweereza w'omuntu wa Katonda, nga yaakamugamba nti: “Nnyumiza ku bikuuno byonna Elisa bye yakola.”
5
Aba akyamunyumiza nga Elisa bwe yazuukiza omufu, n'omukazi nnyini mwana gwe yali azuukizza n'atuuka, n'awanjaga ewa kabaka amuwe ennyumba ye n'obutaka bwe. Gekazi n'agamba nti: “Mukama wange kabaka, oyo ye mukazi, n'ono ye mutabani we Elisa gwe yazuukizza.”
6
Kabaka n'abuuza omukazi ku ekyo, n'omukazi n'amunyumiza. Kabaka n'amukwasa omukungu omu, n'amugamba nti: “Muddize byonna ebyali ebibye, n'amagoba gonna ku butaka bwe okuva lwe yava mu nsi n'okutuusa kati.”
7
Awo Elisa n'agenda e Damasiko; Beni-Adadi kabaka wa Aramu yali mulwadde. Kabaka ne bamubuulira nti: “Omuntu wa Katonda n'eno atuuse, wuuno azze.”
8
Kabaka n'agamba Kazayeli nti: “Kwatayo ekirabo, ogende osisinkane omuntu wa Katonda. Weebuuze ew'Omukama ng'oyita mu ye, omubuuze nti ‘Navvuunuka obulwadde bwange buno?’ ”
9
Kazayeli n'agenda okumusisinkana ng'alina eŋŋamiya amakumi ana ezeetisse ebirabo omwali buli kirungi kyonna ekya Damasiko. N'agenda n'ayimirira mu maaso ge, n'amugamba nti: “Mutabani wo, Beni-Adadi kabaka wa Aramu antumye gy'oli ng'abuuza nti: ‘Navvuunuka obulwadde buno?’ ”
10
Elisa n'amugamba nti: “Genda, mugambe nti: ‘Kituufu ojja kuwona,’ naye Omukama andaze nti kwo okufa ajja kufa.”
11
Omuntu wa Katonda n'asimba Kazayeli amaaso okutuusa ng'asobeddwa; omuntu wa Katonda n'akaaba.
12
Kazayeli n'amugamba nti: “Lwaki mukama wange akaaba?” N'ayanukula nti: “Kubanga mmanyi ebibi by'onookola abantu ba Yisirayeli: Ebibuga byabwe okuli n'ebigo ojja kubyokya omuliro, abavubuka baabwe obasanjage n'ekitala, obwana bwabwe obuto obuseseggule ku ttaka, abali embuto obabaage.”
13
Kazayeli n'agamba nti: “Leero nze omuweereza wo embwa obubwa, ne nkola eky'obuzira ng'ekyo?” Elisa n'agamba nti: “Omukama andaze nti ggwe onoofuuka kabaka wa Aramu.”
14
N'avaayo ewa Elisa, n'ajja ewa mukama we. Beni-Adadi n'amubuuza nti: “Elisa yakugambye ki?” N'ayanukula nti: “Yaŋŋambye nti: ‘Ojja kuwona.’ ”
15
Naye enkeera Kazayeli yaddira ekigoye ekigumu n'akinnyika mu mazzi n'akimubikka ku maaso, n'afa. Kazayeli n'amusikira ku bwakabaka.
16
Mu mwaka ogwokutaano ogwa Yoramu mutabani wa Akabu kabaka wa Yisirayeli, nga Yosafati ye kabaka wa Yuda, Yoramu mutabani wa Yosafati n'atandika okufuga Yuda.
17
We yafuukira kabaka nga wa myaka amakumi asatu mu ebiri; yafugira emyaka munaana mu Yeruzaalemu.
18
Yatambulira mu makubo ga bakabaka ba Yisirayeli, ng'ennyumba ya Akabu bwe yali ekoze, kubanga yali awasizza muwala wa Akabu. Yakola ekibi mu maaso g'Omukama.
19
Naye olw'okubeera omuweereza we Dawudi, Omukama n'atayagala kuzikiriza Yuda. Anti yali asuubizza okulekerawo Dawudi n'ezzadde lye omumuli ennaku zonna.
20
Mu budde bwa Yoramu Edomu yajeemera Yuda, ne yessizaawo kabaka.
21
Yoramu n'agenda e Zayiri, ng'ali n'ebigaali bye byonna. Ekiro Abeedomu ne bamuzingiza n'abagabe b'ebigaali, kyokka n'asituka n'awaguza; eggye ne lidduka, ne badda mu weema zaabwe.
22
Okuva ku olwo Edomu n'ajeemera Yuda n'okutuusa ku lunaku lwa leero. Mu budde obwo ne Libuna n'ajeema.
23
Ebirala mu bifaayo bya Yoramu ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yuda.
24
Yoramu n'agalamira ne bajjajjaabe, n'aziikibwa wamu nabo mu Kibuga kya Dawudi; mutabani we Akaziya n'amusikira ku bwakabaka.
25
Mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri ogwa Yoramu mutabani wa Akabu kabaka wa Yisirayeli Akaziya, mutabani wa Yoramu kabaka wa Yuda n'afuuka kabaka.
26
Akaziya yafuuka kabaka nga wa myaka amakumi abiri mu ebiri; yafugira omwaka gumu mu Yeruzaalemu. Nnyina ye yali Ataliya muzzukulu wa Omuri kabaka wa Yisirayeli.
27
Yatambulira mu makubo g'ennyumba ya Akabu. Yakola ebibi mu maaso g'Omukama, ng'ennyumba ya Akabu bwe yakola, anti mu nnyumba ya Akabu yali muko.
28
Era yagenda ne Yoramu mutabani wa Akabu okulwanyisa Kazayeli kabaka wa Aramu mu Ramoti-Gileyaadi, Abaaramu ne bafumita Yoramu.
29
Kabaka Yoramu n'akomawo e Yezureeli ajjanjabibwe ebiwundu Abaaramu bye baamufumita mu Rama ng'alwana ne Kazayeli kabaka wa Aramu. Akaziya mutabani wa Yoramu kabaka wa Yuda n'aserengeta e Yezureeli alabe ku Yoramu mutabani wa Akabu kubanga yali afunye obuvune.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25