bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Kings 18
2 Kings 18
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 19 →
1
Mu mwaka ogwokusatu ogwa Ozeya mutabani wa Ela kabaka wa Yisirayeli, Kezekiya mutabani wa Akazi kabaka wa Yuda n'afuuka kabaka.
2
Yali wa myaka amakumi abiri mu etaano we yafuukira kabaka; yafugira emyaka abiri mu mwenda mu Yeruzaalemu. Nnyina ye yali Abi, muwala wa Zakariya.
3
Yakola ekituufu mu maaso g'Omukama nga jjajjaawe Dawudi bwe yali akoze.
4
Yamalawo ebifo ebigulumivu, n'ayasaayasa amayinja amawonge, n'atemawo empagi za Asera. N'ayasaayasa omusota ogw'ekikomo Musa gwe yali akoze; n'okutuusa olwo abantu ba Yisirayeli baali bakyagunyookeza obubaani; gwayitibwanga Nekusutani.
5
Kezekiya yeesiga Omukama Katonda wa Yisirayeli. Oyo bwe yavaawo tewaali mulala amufaanana mu bakabaka ba Yuda bonna, mu baamusooka ne mu baamuddirira.
6
Yanywerera ku Mukama era teyava ku bisinde bye; yatuusa ebiragiro Katonda bye yali alagidde Musa.
7
Omukama yali naye; yalinanga omukisa mu byonna bye yassangako engalo. Yajeemera kabaka wa Assuri n'atamuweereza.
8
Yawangula Abafilisitiini, n'abasindiikiriza okutuuka e Gaza, ekitundu kyabwe n'akireka matongo okuva ku munaala ogw'abakuumi okutuuka ku kibuga okuli ekigo.
9
Mu mwaka ogwokuna ogwa kabaka Kezekiya, gwe gwali omwaka ogwomusanvu ogwa Ozeya mutabani wa Ela kabaka wa Yisirayeli, Salumaneeseri kabaka wa Assuri n'alumba Samariya n'akizinda.
10
Oluvannyuma lw'emyaka esatu n'akiwamba; gwe mwaka ogwomukaaga ogwa Kezekiya, kwe kugamba nti gwe gwomwenda ogwa Ozeya kabaka wa Yisirayeli; Samariya ne kiwambibwa.
11
Kabaka wa Assuri n'awaŋŋangusiriza abantu ba Yisirayeli mu Assuri, n'abateeka mu Kala ne Kabori, eky'omugga Gozani, ne mu bibuga by'Abamedi,
12
Kino kyagwaawo kubanga tebaawulira Mukama Katonda waabwe, ne batyoboola endagaano ye - byonna Musa omuweereza w'Omukama bye yali alagidde. Tebaawuliriza biragiro era tebaabissa mu nkola.
13
Mu mwaka ogw'ekkumi n'ena ogwa kabaka Kezekiya, Sennakeribu kabaka wa Assuri yalumba ebibuga byonna ebya Yuda okuli n'ebigo, n'abiwamba.
14
Kezekiya kabaka wa Yuda n'atuma ababaka ewa kabaka wa Assuri e Lakisi, n'agamba nti: “Nnyonoonye; nviira; kyonna ky'onooba onsalidde nnaakigumiikiriza.” Kabaka wa Assuri n'asalira Kezekiya kabaka wa Yuda talenta eza ffeeza ebikumi bisatu, ne talenta za zaabu amakumi asatu.
15
Kezekiya n'awaayo ffeeza yenna eyasangibwawo mu Kiggwa ky'Omukama ne mu nkuluze y'olubiri lwa kabaka.
16
Mu budde obwo Kezekiya yakalakatako zaabu yenna gwe yali asiize ku nzigi ne ku myango eby'Ekiggwa ky'Omukama, n'amuwa kabaka wa Assuri.
17
Kabaka wa Assuri yasindika okuva e Lakisi omuduumizi ow'oku ntikko, omukulu w'abalaawo n'omusenero omukulu nga bali n'eggye ddene, n'abatuma ewa Kezekiya mu Yeruzaalemu. Bajja e Yeruzaalemu ne bayimirira okumpi n'olusalosalo lw'amazzi olw'Ekidiba eky'Engulu ekiri ku kkubo eriraga ku Nnimiro y'Omwozi.
18
Ne bayita kabaka; Eliyakimu mutabani wa Kilukiya katikkiro w'olubiri, Sebuna omuwandiisi ne Yowa akuuma ebyafaayo, mutabani wa Asafu, ne bafuluma okubasisinkana.
19
Omusenero omukulu n'abagamba nti: “Mugambe Kezekiya nti: Kabaka omukulu, kabaka wa Assuri kino ky'agamba: ‘Weesiga ki ekyo ekikuyinula?
20
Obukodyo n'amaanyi eby'okulwana by'olowooza nti obirina, ebyo bigambo bugambo bya ku mumwa. Weesiga ani okuguma n'onjeemera?
21
Laba kati mbu weesiga Misiri, oyo omuggo ogw'olumuli olusasambuse, olusala omukono gw'omuntu ne lumufumita singa alwesigamako. Ne Faraawo kabaka w'e Misiri bw'ali ku bonna abamwesiga.
22
Bwe munaagamba nti: “Twesiga Mukama Katonda waffe,” si ye oyo Kezekiya gwe yaggyirawo ebifo ebigulumivu n'emyaliiro gye, n'alagira Yuda ne Yeruzaalemu nti: “Ku mwaliiro guno kwe munaasinzizanga mu Yeruzaalemu”?
23
Kale nno genda osingewo ne mukama wange kabaka wa Assuri. Nzija kukuwa embalaasi enkumi bbiri singa ggwe oneezuulira abanaazeebagala.
24
Osobola otya okuwangula yadde omugabe asingayo obutene mu baweereza ba mukama wange abasembayo, newandibadde nga weeyinula Misiri olw'ebigaali n'abeebagazi?
25
Olowooza nze okujja mu kifo kino nkisaanyeewo, Omukama tamaze kuŋŋamba? Omukama yennyini y'aŋŋambye nnumbe ensi eno ngisaanyeewo.’ ”
26
Eliyakimu mutabani wa Kilukiya, Sebuna ne Yowa ne bagamba omusenero omukulu nti: “Tukwegayiridde, yogera n'abaweereza bo mu Lwarami, kasita tulutegeera; toyogera naffe mu Luyudaaya ng'abantu abali ku bbugwe bawulira.”
27
Omusenero omukulu n'abaanukula nti: “Olowooza mukama wange yantumye njogere ebigambo bino eri mukama wo n'eri ggwe wekka? Teyantumye n'eri abasajja abatudde waggulu ku bbugwe, okufaanana nga ggwe aboolekedde okulya obubi bwabwe n'okunywa omusulo gwabwe?”
28
Omusenero omukulu n'ayimirira, n'aleekaana n'eddoboozi eddene mu Luyudaaya n'agamba nti: “Muwulire ebigambo bya kabaka omukulu, kabaka wa Assuri.
29
Kabaka kino ky'agamba: ‘Kezekiya aleme kubawubisa; tasobola kubawonya mu mukono gwange.
30
Aleme na kubakkirizisa kwesiga Mukama ng'agamba nti: “Omukama mazima anaatuwonya; n'ekibuga kino tekijja kuweebwayo mu mikono gya kabaka wa Assuri.”
31
Muleke kuwuliriza Kezekiya.’ Kabaka wa Assuri kino ky'agamba: ‘Mukkaanye, muveeyo mujje gye ndi; olwo buli omu ajja kulya ku muzabbibu gwe ne ku mukunyu gwe, anywe amazzi ng'agaggya mu luzzi lwe,
32
okutuusa lwe najja ne mbaggyawo ne mbatwala mu nsi efaanana n'eyammwe; ensi ey'eŋŋano n'evviini; ensi ey'emigaati n'ennimiro z'emizabbibu; ensi ey'omuzigo gwa oliva n'omubisi gw'enjuki; mulondeewo obulamu, olwo temuufe. Muleke kuwuliriza Kezekiya oyo abalimbalimba ng'agamba nti: “Omukama anaatulokola.”
33
Waali wabaddewo lubaale w'eggwanga lino oba liri eyali awonyezza abantu be mu mikono gya kabaka wa Assuri?
34
Balubaale b'e Kamati ne Arupadi bali ludda wa? Balubaale b'e Sefaruvayimu, Ena ne Yivva bali ludda wa? Balubaale b'omu Samariya bali ludda wa? Samariya baakiwonya mu mikono gyange?
35
Baluwa balubaale b'ensi eno abaali baggye ensi yaabwe mu mikono gyange? Olwo nno n'Omukama lw'anaggya Yeruzaalemu mu mikono gyange?’ ”
36
Naye abantu ne basirika busirisi, tebaayanukula kantu, kubanga kabaka yali abalagidde nti: “Temumunyega.”
37
Eliyakimu mutabani wa Kilukiya katikkiro w'olubiri, Sebuna omuwandiisi ne Yowa akuuma ebyafaayo, mutabani wa Asafu, ne bagenda ewa Kezekiya ng'ebyambalo babiyuzizza, ne bamubuulira omusenero omukulu by'agambye.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25