bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Kings 14
2 Kings 14
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 15 →
1
Mu mwaka ogwokubiri ogwa Yowasi mutabani wa Yowakazi kabaka wa Yisirayeli, Amaziya mutabani wa Yowasi kabaka wa Yuda n'afuuka kabaka.
2
We yafuukira kabaka nga wa myaka amakumi abiri mu etaano; yafugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yeruzaalemu. Nnyina yali ayitibwa Yowaddini, ng'asibuka Yeruzaalemu.
3
Yakola ekituufu mu maaso g'Omukama, naye si nga kitaawe Dawudi. Ku buli kintu yakola nga kitaawe Yowasi bwe yali akoze.
4
Kyokka ebifo ebigulumivu tebyaggyibwawo; abantu baali bakyatambira n'okunyookeza obubaani mu bifo ebigulumivu.
5
Obwakabaka bwe bwamala okunywera mu mikono gye, n'atta mu bakungu be abo abaali basse kabaka kitaawe;
6
kyokka batabani b'abatemu teyabatta, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo ky'Etteeka lya Musa, Omukama w'aweerera ekiragiro nti: “Bakitaabwe ba baana si ba kuttibwanga olw'abaana baabwe, n'abaana si ba kuttibwanga olwa bakitaabwe; buli omu anaafanga lwa kibi kye.”
7
Ye yakuba Abeedomu omutwalo gumu mu Kiwonvu ky'Omunnyo, n'awamba Sera mu lutalo olwo, n'akituuma Yokuteeli n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
8
Awo Amaziya n'atuma ababaka ewa Yowasi mutabani wa Yowakazi, mutabani wa Yewu kabaka wa Yisirayeli, ng'agamba nti: “Jjangu tugasimbagane.”
9
Yowasi kabaka wa Yisirayeli n'atuma ewa Amaziya kabaka wa Yuda ng'agamba nti: “Ettovu ly'oku Lebanoni lyatuma eri entolookyo y'oku Lebanoni ne ligamba nti: ‘Muwala wo muwe mutabani wange abeere mukazi we.’ Ne wabaawo ekisolo eky'ettale ekyayitawo ne kirinnyirira ettovu.
10
Kituufu wawangula Edomu, omutima gwo kwe kwetumbula. Weetende, naye weesigalire mu nnyumba yo. Lwaki weewakulira emitawaana, ogwe ne Yuda naye agwe?”
11
Naye Amaziya teyawuliriza, bw'atyo Yowasi kabaka wa Yisirayeli n'akola olulumba. Ye ne Amaziya kabaka wa Yuda ne bambalaganira e Beti-Semesi ekya Yuda,
12
Yuda n'afufuggazibwa Yisirayeli, ne badduka buli omu n'adda mu weema ye.
13
Yowasi kabaka wa Yisirayeli n'awamba Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yowasi, mutabani wa Akaziya, e Beti-Semesi, n'amuleeta mu Yeruzaalemu. N'amenya bbugwe wa Yeruzaalemu okuva ku Mulyango Efurayimu okutuuka ku Mulyango gw'Ensonda, obuwanvu bwa mikono ebikumi bina.
14
N'atwala zaabu yenna ne ffeeza n'ebintu byonna ebyasangibwa mu Kiggwa ky'Omukama ne mu nkuluze ya kabaka n'abawambe, n'addayo mu Samariya.
15
Ebirala mu bifaayo bya Yowasi, bye yakola, obuzira bwe, n'eby'olutalo lwe ne Amaziya kabaka wa Yuda, byonna byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yisirayeli.
16
Yowasi n'agalamira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu Samariya awamu ne bakabaka ba Yisirayeli, Yerobowamu mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
17
Yowasi mutabani wa Yowakazi kabaka wa Yisirayeli bwe yamala okufa, Amaziya mutabani wa Yowasi kabaka wa Yuda yawangaalayo emyaka kkumi n'etaano.
18
Ebirala mu bifaayo bya Amaziya byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yuda.
19
Mu Yeruzaalemu baamukolera olukwe, ye n'addukira e Lakisi; naye baasindika abasajja ne bamuwondera, ne bamuttira eyo.
20
Yakomezebwawo ku mbalaasi, n'aziikibwa mu Yeruzaalemu wamu ne bajjajjaabe mu Kibuga kya Dawudi.
21
Abantu bonna aba Yuda ne baddira Azariya, eyali ow'emyaka ekkumi n'omukaaga, ne bamussa ku nnamulondo, asikire Amaziya kitaawe.
22
Ye oyo eyazimba Elati n'akiddiza Yuda, kabaka ng'amaze okugalamira ne bajjajjaabe.
23
Mu mwaka ogw'ekkumi n'etaano ogwa Amaziya mutabani wa Yowasi kabaka wa Yuda, Yerobowamu mutabani wa Yowasi kabaka wa Yisirayeli n'afuuka kabaka mu Samariya; yafugira emyaka amakumi ana mu gumu.
24
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama; teyava ku bibi byonna ebya Yerobowamu mutabani wa Nebati bye yaleetera Yisirayeli okugwamu.
25
Ye yazzaawo ensalo za Yisirayeli okuva ku Lebo-Kamati okutuuka ku nnyanja ya Araba ng'Omukama Katonda wa Yisirayeli bwe yali ayogedde ng'ayita mu muweereza we Yona omulanzi mutabani w'Amittayi eyali asibuka e Gati-Keferi.
26
Omukama yalaba nga buli omu mu Yisirayeli, omuddu n'omwana ow'eddembe, ng'adooba nnyo, sso nga tewali ayamba.
27
Kubanga Omukama yali tayogeranga nti erinnya lya Yisirayeli alirisangulawo wansi w'eggulu, yabanunula ng'ayita mu Yerobowamu mutabani wa Yowasi.
28
Ebirala mu bifaayo bya Yerobowamu na byonna bye yakola, n'obuzira bwe mu kutabaala, nga bwe yalwana okuzza ku Yuda ne Yisirayeli Damasiko ne Kamati ebyalinga ebya Yuda, byonna byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yisirayeli.
29
Yerobowamu n'agalamira ne bajjajjaabe bakabaka ba Yisirayeli; Zakariya mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25