bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Kings 2
2 Kings 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 3 →
1
Omukama bwe yali ali kumpi okutwala Eliya mu ggulu mu mpewo ey'akazimu, Eliya ne Elisa baali batambula bombi nga bava e Gilugali.
2
Eliya n'agamba Elisa nti: “Sigala wano, kubanga Omukama ansindise e Beteli.” Elisa n'amugamba nti: “Mazima Omukama nga mulamu, naawe ggwe ng'oli mulamu, sijja kukuvaako.” Ne baserengeta e Beteli.
3
Bannakibiina ky'abalanzi ab'omu Beteli ne basemberera Elisa, ne bamugamba nti: “Omanyi ng'olwa leero Omukama ajja kusitula mukama wo amukuggyeko?” N'ayanukula nti: “Yee, mmanyi, naye mukisirikire.”
4
Eliya n'amugamba nti: “Sigala wano, kubanga Omukama ansindise e Yeriko.” Elisa n'amugamba nti: “Mazima Omukama nga mulamu, naawe ggwe ng'oli mulamu, sijja kukuvaako.” Ne bagenda e Yeriko.
5
Bannakibiina ky'abalanzi abali mu Yeriko ne basemberera Elisa ne bamugamba nti: “Omanyi ng'olwa leero Omukama ajja kusitula mukama wo amukuggyeko?” N'ayanukula nti: “Yee, mmanyi, naye mukisirikire.”
6
Eliya n'agamba nti: “Sigala wano, kubanga Omukama ansindise ku Yorudani.” Elisa n'amugamba nti: “Mazima Omukama nga mulamu, naawe ggwe ng'oli mulamu, sijja kukuvaako.” Awo ne bagendera wamu bombi.
7
Bannakibiina ky'abalanzi amakumi ataano be bagenda ne bayimirira nga beesuddeko akabanga nga batunuulidde. Eliya n'Elisa baali bayimiridde ku Yorudani.
8
Eliya n'akwata omunagiro gwe n'aguzingazinga n'akuba amazzi, ne geetemamu wabiri; bombi ne basomoka nga bayita wakalu.
9
Bwe baasomoka, Eliya n'agamba Elisa nti: “Nsaba ky'oyagala nkukolere nga sinnakuggyibwako.” Elisa n'agamba nti: “Nkwegayiridde, mpa nsikire emigabo ebiri ku mwoyo wo.”
10
Ye n'ayanukula nti: “Osabye ekintu ekizibu, naye bw'onooba ondabye nga nkuggyibwako, onookifuna ky'osabye; naye bw'otondabe, nga tookifune.”
11
Baba bagenda batambula nga banyumya, ekigaali ky'omuliro okuli embalaasi ez'omuliro ne kibaawukanya, Eliya n'ayambuka mu ggulu mu mpewo ey'akazimu.
12
Elisa bwe yakiraba, n'aleekaana nti: “Kitange! Kitange! Ebigaali bya Yisirayeli n'abeebagazi!” Teyaddayo kumulaba. Awo n'akwata ebyambalo bye n'abiyuzaamu wabiri.
13
N'asitula omunagiro gwa Eliya ogwali gumuguddeko, n'afunyamu, n'ayimirira ku lubalama lwa Yorudani.
14
N'akwata omunagiro ogwali gugudde ku Eliya, n'akuba amazzi nga bw'agamba nti: “Kati Omukama Katonda wa Eliya ali ludda wa?” N'akuba ku mazzi, ne geetemamu eno n'eri; Elisa n'asomoka.
15
Bannakibiina ky'abalanzi b'omu Yeriko abaali balengera, bwe baalaba ne bagamba nti: “Omwoyo gwa Eliya gusse ku Elisa.” Ne bajja okumusisinkana, ne bamuvunnamira ku ttaka.
16
Ne bamugamba nti: “Wano ffe abaweereza bo tulinawo abasajja abeesobola amakumi ataano. Bano bagende banoonye mukama wo, sikulwa ng'omwoyo gw'Omukama gwamututte ne gumuwummuza ku lumu mu nsozi oba mu kimu ku biwonvu.” N'abagamba nti: “Temubasindika.”
17
Ne bamusindirira okutuusa ng'asobeddwa, n'agamba nti: “Mubasindike.” Ne batuma abasajja amakumi ataano, ne bamunoonyeza ennaku ssatu, ne batamuzuula.
18
Bwe baakomawo gy'ali, olwo ye yali Yeriko, n'abagamba nti: “Saabagambye nti: ‘Temugenda?’ ”
19
Abasajja b'ekibuga ne bagamba Elisa nti: “Ekibuga kino kiri walungi nga naawe bw'olaba, ssebo, naye kyokka amazzi mabi n'ettaka teribaza bintu.”
20
Ye n'agamba nti: “Mundeetere ekibya ekipya, muteekemu omunnyo.” Ne bakireeta.
21
N'afuluma n'alaga ku nsulo y'amazzi, n'ayiwamu omunnyo, n'agamba nti: “Omukama kino ky'agamba: ‘Nnongoosezza amazzi gano; n'okuva kati tegakyaddayo kuleeta kufa oba butabaza bintu.’ ”
22
Amazzi ne galongooka n'okutuusa ku lunaku lwa leero, ng'ekigambo Elisa bwe yakyogera.
23
N'ava eyo n'ayambuka e Beteli. Bwe yali ng'atambula ng'ayita mu kkubo, abaana abalenzi ne bafuluma mu kibuga, ne bamusekerera nga bayeeya nti: “Kawalaata, yambuka! Kawalaata, yambuka!”
24
N'akebuka n'abalaba, n'abavumirira mu linnya ly'Omukama. N'evaayo eddubu bbiri mu nsiko, mu balenzi ne zitaagulamu amakumi ana mu babiri.
25
Ne yeeyongerayo ku lusozi Karumeli, ate eyo gye yava n'adda mu Samariya.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25