bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Kings 25
2 Kings 25
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
1
Awo mu mwaka ogwomwenda ogw'obwakabaka bwe, mu mwezi ogw'ekkumi, ku lunaku olw'ekkumi, Nebukadunezzari kabaka w'e Babiloni yalumba Yeruzaalemu n'eggye lye lyonna. N'asiisira ebweru wakyo ne bazimba ekikomera okukyetooloola.
2
Ekibuga ne bakizingiza okutuusa mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu ogw'obwakabaka bwa Zedekiya.
3
Ku lwomwenda olw'omwezi ogwokuna enjala mu kibuga n'ekanya, abantu mu nsi nga tebakyalina kaakulya.
4
Bbugwe w'ekibuga ne bamubomola, abasajja bonna abatabaazi ne batoloka mu kibuga ekiro nga bayitira mu muzigo oguli wakati w'ebisenge ebibiri ng'olaga ku nnimiro ya kabaka, newandibadde nga Abakaludeya baali bakitaayizza. Ne bakwata ekkubo eriraga mu Araba.
5
Eggye ly'Abakaludeya ne liwondera kabaka ne limukwatira mu lusenyi lwa Yeriko, eggye lye lyonna ne limwabulira, ne libuna emiwabo.
6
Kabaka ne bamuwamba, ne bamutwala ewa kabaka w'e Babiloni e Ribula, n'amusalira omusango.
7
Batabani ba Zedekiya ne babattira awo mu maaso ge. Amaaso ga Zedekiya n'agatungulamu, n'amusiba n'enjegere ez'ekikomo, n'amutwala e Babiloni.
8
Mu mwezi ogwokutaano, ku lunaku olwomusanvu, mu mwaka ogw'ekkumi n'omwenda ogwa Nebukadunezzari kabaka w'e Babiloni, Nebuzaradani omukulu w'abakuumi ba kabaka w'e Babiloni yajja e Yeruzaalemu.
9
N'ayokya Ekiggwa ky'Omukama n'olubiri lwa kabaka n'ennyumba zonna mu Yeruzaalemu; buli kizimbe ekyegasa n'akyokya omuliro.
10
Eggye lyonna ery'Abakaludeya eryali n'omukulu w'abakuumi ba kabaka ne limenyawo bbugwe wa Yeruzaalemu ku njuyi zonna.
11
Nebuzaradani omukulu w'abakuumi ba kabaka n'atwala abantu abalala abaali bakyasigadde mu kibuga, n'abaali beegasse ku kabaka w'e Babiloni, n'abantu abalala bonna aba bulijjo.
12
Naye omukulu w'abakuumi ba kabaka yalekamu abasinga obwavu mu ggwanga ng'abakozi mu mizabbibu n'ennimiro.
13
Abakaludeya baamenya empagi ez'ekikomo ezaali mu Kiggwa ky'Omukama, obutandaalo n'Ennyanja ey'ekikomo ebyali mu Kiggwa ky'Omukama, n'ekikomo kyabyo kyonna ne bakitwala mu Babiloni.
14
Baatwala n'entamu, ebitiiyo, makansi, ebijiiko n'ebintu byonna eby'ekikomo ebyeyambisibwanga mu kuweereza.
15
Omukulu w'abakuumi ba kabaka era yatwala ebyoterezo n'ebibya eby'okumansira, byonna ebyali ebya zaabu n'ebya ffeeza.
16
Ekikomo ekyava mu mpagi ebbiri, Ennyanja n'obutandaalo Solomoni bye yali akoledde e Kiggwa ky'Omukama, ekikomo ekyava mu bintu bino byonna, kyalema empima.
17
Empagi emu ng'eriko emikono kkumi na munaana mu buwanvu, ate enkata ey'ekikomo ku ntwe y'empagi emu nga ya mikono etaano obuwanvu; yali etoneddwa n'akatimba n'amakomamawanga okwetooloola entwe nga byonna bya kikomo; n'empagi eyookubiri ko n'akatimba kaakwo byali bikoleddwa mu ngeri yeemu.
18
Omukulu w'abakuumi ba kabaka yatwala Seraaya kabona omukulu, Zefaniya kabona owookubiri n'abakuumi b'oku mulyango abasatu.
19
Okuva mu kibuga yatwalamu omugabe omu eyali omukulu w'abatabaazi, abasajja bataano mikwano gya kabaka be yasangiriza mu kibuga, n'omuwandiisi w'omukulu w'eggye eyawandiisanga abayingira eggye ly'eggwanga, n'abasajja nkaaga ab'eggye ly'eggwanga abaali basangiddwa mu kibuga.
20
Bonna abo Nebuzaradani omukulu w'abakuumi ba kabaka yabatwala ewa kabaka w'e Babiloni mu Ribula.
21
Kabaka w'e Babiloni n'abakuba n'abattira mu Ribula mu nsi y'e Kamati. Bw'atyo Yuda n'aggyibwa mu nsi ye n'agenda mu buwaŋŋanguse.
22
Nebukadunezzari kabaka w'e Babiloni yassa Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani afuge abantu abaalekebwa mu nsi ya Yuda.
23
Abagabe bonna ab'eggye bwe baawulira nga kabaka w'e Babiloni ataddewo Gedaliya ng'omufuzi, bonna n'abasajja baabwe abali nabo ne bajja ewa Gedaliya mu Mizupa; baali Yisimayeli mutabani wa Netaniya, Yokanani mutabani wa Kareya, Seraaya mutabani wa Tanukumeti Omunetofa, ne Yaazaniya Omumaaka.
24
Gedaliya n'abalayirira, bo n'abantu baabwe bwe baali, nti: “Temutya bakungu ba Bakaludeya; mukkalire mu nsi, muweereze kabaka w'e Babiloni, olwo mugenda kubeera bulungi.”
25
Olumu mu mwezi ogwomusanvu Yisimayeli mutabani wa Netaniya, mutabani wa Elisama, asibuka mu kabaka, yajja n'abasajja kkumi, ne bakuba Gedaliya n'afa, ne batta n'Abayudaaya n'Abakaludeya abaali naye mu Mizupa.
26
Olwo abantu bonna, okuva ku muto okutuuka ku mukulu n'abagabe b'eggye ne baddukira mu Misiri olw'okutya Abakaludeya.
27
Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omusanvu ogw'okuwaŋŋangusibwa kwa Yoyakini kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri, ku lunaku olwabiri mu olumu, Evili-Merodaki kabaka w'e Babiloni, mu mwaka mwe yafuukira kabaka, yakwatirwa ekisa Yoyakini kabaka wa Yuda n'amusumulula mu kkomera.
28
Yayogeranga naye bulungi; n'amuwa entebe ey'ekitiibwa eyali esukkulumye ku ntebe za bakabaka banne abaali naye mu Babiloni.
29
Yoyakini n'akyusa ebyambalo by'obusibe, era yaliiranga bulijjo ku mmeeza ya kabaka ebbanga lyonna ery'obulamu bwe.
30
Ku kulabirirwa, yaweebwanga ensako ye bulijjo okuva ewa kabaka buli lunaku ebbanga lyonna ery'obulamu bwe.
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25