bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Kings 21
2 Kings 21
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 22 →
1
Manasse yafuuka kabaka nga wa myaka kkumi n'ebiri; yafugira mu Yeruzaalemu emyaka amakumi ataano mu etaano. Nnyina ye yali Kefuziba.
2
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama, ng'okukola ebyenyinyalwa by'amawanga Omukama ge yali agobyewo mu maaso g'Abayisirayeli.
3
Yaddamu n'azimba ebifo ebigulumivu Kezekiya kitaawe bye yali asaanyizzaawo; yassaawo emyaliiro gya Baali, n'akola empagi ya Asera nga Akabu kabaka w'abantu ba Yisirayeli bwe yali akoze. Yavunnamira eggye lyonna ery'emmunyeenye z'eggulu, n'alisinza.
4
Yazimba emyaliiro mu Kiggwa ky'Omukama Omukama kye yali ayogeddeko nti: “Erinnya lyange nzija kulissa mu Yeruzaalemu.”
5
Yazimbira eggye lyonna ery'emmunyeenye z'eggulu emyaliiro mu mpya bbiri ez'Ekiggwa ky'Omukama.
6
Yawonga mutabani we mu muliro; yakolanga eby'obulogo n'okusamira; yasamiranga n'okwebuuza ku mizimu. Yakola ekibi mu maaso g'Omukama n'amunyiiza.
7
Yaddira ekifaananyi kya Asera kye yali akoze n'akissa mu Kiggwa, Omukama kye yayogerako ng'agamba Dawudi ne Solomoni mutabani we nti: “Mu Kiggwa muno ne mu Yeruzaalemu, ekibuga kye nalonda mu bika byonna ebya Yisirayeli, mwe ndissa erinnya lyange emirembe gyonna,
8
era siriganya kigere kya Yisirayeli kuddamu kuwaba n'ava mu nsi gye nawa bajjajjaabwe, singa balikwata byonna bye nabalagira, ne batuusa etteeka lyonna omuweereza wange Musa lye yabalagira.”
9
Naye bo tebaawulira; Manasse yabawubisa ne bayonoona n'okusinga amawanga Omukama ge yazikiriza mu maaso g'Abayisirayeli.
10
Era Omukama n'agamba ng'ayita mu baweereza be abalanzi nti:
11
“Manasse kabaka wa Yuda akoze ebyenyinyalwa; ayonoonye n'okukira Abaamori abaamukulembera bye baakola, aleetedde ne Yuda okugwa mu kibi n'ebifaananyi bye ebya balubaale.
12
Olw'ekyo Omukama Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: ‘Ŋŋenda kuleetera Yeruzaalemu ne Yuda akabi, buli yenna alikawulirako amatu ge galimuwaawaala.
13
Era nzija kukuba olukoba olupima ku Yeruzaalemu n'olukoba olupima lwe nakuba ku Samariya, era mmupime n'akaliiso akaapimwa ku nnyumba ya Akabu; nzija kusiimuulawo Yeruzaalemu ng'oli bw'asiimuula ekibya, n'akisiimuula n'akikyusa ne kungulu.
14
Nzija kwabulira abakyasigaddewo ab'obusika bwange, mbaweeyo mu mikono gy'abalabe baabwe. Balifuuka kya kwenyagira n'okwaya eri abalabe baabwe,
15
kubanga baakola ekibi mu maaso gange, ne bannyiiza okuva luli bajjajjaabwe lwe baava mu Misiri n'okutuusa ku lunaku lwa leero.’ ”
16
N'ekirala Manasse yayiwa nnyo omusaayi ogutaliiko musango okutuusa Yeruzaalemu lwe kyajjula ne kibooga okuva ku nsonda emu okutuuka ku ndala, nga tobaze bibi bye yaleetera Yuda okugwamu, n'akola ekibi mu maaso g'Omukama.
17
Ebirala mu bifaayo bya Manasse, bye yakola, n'ekibi kye yakola byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yuda.
18
Manasse n'agalamira ne bajjajjaabe, n'aziikibwa mu nnimiro y'olubiri lwe, mu nnimiro ya Wuzza; Amoni mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
19
Amoni yafuuka kabaka nga wa myaka amakumi abiri mu ebiri; yafugira emyaka ebiri mu Yeruzaalemu. Nnyina ye yali Mesullemeti muwala wa Karuzi ow'e Yotuba.
20
Naye yakola ekibi mu maaso g'Omukama nga kitaawe Manasse bwe yakola.
21
Yatambulira mu makubo gonna aga kitaawe, yaweereza ebifaananyi bya balubaale kitaawe bye yali aweereza, n'abivunnamira.
22
Yava ku Mukama Katonda wa bajjajjaabe, n'atatambulira mu kkubo lya Mukama.
23
Abakungu ba Amoni ne bamwekobera, ne battira kabaka mu lubiri lwe.
24
Bannansi ne batta bonna abeekobera kabaka Amoni; mu kifo kye ne bassaawo Yosiya mutabani we amusikire.
25
Ebirala mu bifaayo bya Amoni bye yakola byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yuda.
26
Baamuziika mu ntaana ye mu nnimiro ya Wuzza, mutabani we Yosiya n'amusikira ku bwakabaka.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25